Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Ebibuuzo Bisatu Byakyusa Obulamu Bwange

Ebibuuzo Bisatu Byakyusa Obulamu Bwange
  • YAZAALIBWA: 1949

  • ENSI: AMERIKA

  • EBYAFAAYO: YALI ANOONYA EKIGENDERERWA MU BULAMU

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnakulira mu kabuga Ancram, akali mu bukiikakkono bw’essaza lya New York, mu Amerika. Akabuga ako kaalimu faamu z’ente nnyingi. Mu butuufu, ente zaali nnyingi okusinga abantu abaali bakabeeramu.

Ffenna awaka twasabiranga mu kkereziya emu yokka eyali mu kabuga ako. Buli lwa Ssande ku makya, jjajja omusajja yakubanga engatto zange eddagala ne ŋŋenda okusaba nga nnina ka Bayibuli kange akeeru jjajja omukazi ke yampa. Nze ne bato bange twayigirizibwa okukola ennyo, okuyamba baliraanwa baffe, okubassaamu ekitiibwa, n’okusiima ebirungi bye tulina.

Bwe nnakula, nnava awaka ne nfuuka omusomesa. Nnali nneebuuza ebibuuzo bingi ebikwata ku Katonda ne ku bulamu. Abamu ku bayizi bange baalina ebitone eby’enjawulo. Abalala baali tebalina bitone ng’ebyo naye nga bakozi nnyo. Abamu baaliko obulemu ku mibiri gyabwe, naye ng’abalala balamu bulungi. Nnali mpulira ng’ekyo si kya bwenkanya. Ebiseera ebimu abazadde b’abaana abaliko obulemu baagambanga nti, “Katonda ye yayagala omwana wange abeere bw’ati.” Nneebuuzanga ensonga lwaki Katonda aleka abaana abamu ne bazaalibwa nga baliko obulemu, ate nga tewaba kikyamu kyonna kye baba bakoze.

Ate era nneebuuzanga nti, ‘Kintu ki eky’amakulu kye nsaanidde okukola mu bulamu bwange?’ Wadde nga nnali nkulidde mu maka amalungi, nga nsomedde mu masomero amalungi, era nga nkola omulimu gwe njagala, nnawuliranga nti obulamu bwange si bwa makulu ate nga bw’akaseera buseera. Nnali nsuubira okufumbirwa, tuzimbe ennyumba ennungi, nzaaleyo abaana, era nneeyongere okukola okutuusa lwe nnandiwummudde ku mulimu, n’oluvannyuma ntwalibwe mu kifo gye balabiririra bannamukadde. Nneebuuzanga obanga waliyo ekintu ekirala ekikulu mu bulamu.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Lumu twagenda e Bulaaya okulambula nga ndi ne basomesa bannange. Twalambula Westminster Abbey, Notre-Dame de Paris, Vatican, ne kkereziya endala entonotono. Buli gye nnagenda nnabuuzanga ebibuuzo byange. Bwe nnakomawo ewaka e Sloatsburg, mu New York, nnagenda mu kkereziya eziwerako naye tewali n’omu yaddamu bibuuzo byange mu ngeri ematiza.

Lumu, omu ku bayizi bange ow’emyaka 12 yajja we nnali n’ambuuza ebibuuzo bisatu. Ekisooka, yambuuza obanga nnali nkimanyi nti Mujulirwa wa Yakuwa. Nnamuddamu nti yee. Eky’okubiri, yambuuza obanga nnali njagala okumanya ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa. Era nnamudddamu nti yee. N’eky’okusatu, yambuuza gye nnali mbeera. Bwe nnamubuulira, yaŋŋamba nti tuli baliraanwa. Nnali simanyi nti ebibuuzo ebisatu omuwala oyo omuto bye yambuuza byali bigenda kukyusa obulamu bwange emirembe gyonna.

Oluvannyuma lw’ekiseera, yavuga akagaali ke n’ajja ewange n’atandika okunjigiriza Bayibuli. Nnamubuuza ebibuuzo bye nnabuuzanga abakulembeze b’eddiini abawerako. Okwawukana ku bakulembeze b’eddiini abo, omuwala oyo yandaga eby’okuddamu ebimatiza ng’akozesa Bayibuli yange. Nnali sibisomangako mu Bayibuli!

Bye nnayiga mu Bayibuli byandeetera essanyu lingi n’obumativu. Nneewuunya nnyo bwe nnasoma 1 Yokaana 5:19, awagamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” Nnasanyuka nnyo okukimanya nti Katonda si y’aleeta okubonaabona okuliwo leero wabula nti Sitaani y’akuleeta, era nti Katonda akoze enteekateeka okukuggyawo. (Okubikkulirwa 21:3, 4) Nnakizuula nti Bayibuli etegeerekeka singa ennyonnyolwa bulungi. Wadde ng’Omujulirwa wa Yakuwa eyali anjigiriza yali wa myaka 12 gyokka, nnagambanga nti amazima gaba mazima k’abe ani ayigiriza.

Wadde kyali kityo, nnali njagala okulaba obanga Abajulirwa ba Yakuwa bakolera ku ebyo bye bayigiriza. Ng’ekyokulabirako, omuwala oyo yakikkaatiriza nti Abakristaayo ab’amazima booleka engeri ennungi gamba ng’ekisa n’obugumiikiriza. (Abaggalatiya 5:22, 23) Nnasalawo okumugezesa ndabe obanga ye kennyini ayoleka engeri ezo. Lumu nnasalawo ntuuke kikeerezi mu kiseera kye twasomerangako, ndabe kye yandikoze. Nnali nneebuuza nti: ‘Omuwala ono anaaba akyanninze? Anaaba anyiize olw’okuba ntuuse kikeerezi?’ Bwe nnaweta emmotoka mu kkubo erigenda ku nnyumba yange, nnamulengera ng’ali ku lubalaza lw’ennyumba yange anninze. Yadduka n’ajja ku mmotoka n’aŋŋamba nti: “Mbadde nnaatera okuddayo eka ŋŋambe maama tukube essimu mu malwaliro oba ku poliisi tulabe oba ofunye ekizibu kyonna kubanga totuukangako kikeerezi. Mbadde nneeraliikiridde!”

Ate olulala, nnamubuuza ekibuuzo kye nnali mmanyi nti kiyinza okuzibuwalira omwana ow’emyaka 12 okuddamu. Nnayagala ndabe oba anaanziramu ng’asinziira ku magezi ge. Bwe nnamubuuza ekibuuzo ekyo, yantunuulira n’aŋŋamba nti: “Ekibuuzo ekyo kizibu nnyo. Ka nkiwandiike, nja kukibuuza bazadde bange.” Omulundi ogwaddako, omuwala oyo yaleeta akatabo akayitibwa Omunaala gw’Omukuumi akaalimu eky’okuddamu mu kibuuzo kye nnali mmubuuziizza. Nneeyongera okwagala ennyo Abajulirwa ba Yakuwa olw’okuba ebitabo byabwe byannyamba okufuna eby’okuddamu ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Omuwala oyo yeeyongera okunjigiriza era nga wayiseewo omwaka gumu, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa. *

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Bwe nnafuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnali nneebuuza, nnali njagala okubibuulirako abalala. (Matayo 12:35) Mu kusooka, ab’ewaka tebaasanyukira ebyo bye nnali njize, naye oluvannyuma lw’ekiseera baakyusa endowooza yaabwe. Maama yatandika okuyiga Bayibuli, era wadde yafa nga tannabatizibwa, ndi mukakafu nti yali asazeewo okuweereza Yakuwa.

Mu 1978, nnafumbirwa Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Elias Kazan. Mu 1981, twayitibwa okuweerereza ku Beseri mu Amerika. * Eky’ennaku, twali twakaweereza emyaka ena gyokka, Elias n’afa. Wadde nga nnali nfuuse nnamwandu, nnasigala mpeereza ku Beseri era ekyo kyambudaabuda nnyo kubanga ebirowoozo byange nnabimaliranga ku kuweereza Yakuwa.

Mu 2006, nnafumbirwa Richard Eldred, era nga naye aweerereza ku Beseri. Nze ne Richard tukyaweereza ku Beseri era tugitwala nga nkizo ya maanyi. Bwe nnayiga amazima agakwata ku Katonda, nnafuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnali nneebuuza era ne nfuna n’ekigendererwa mu bulamu. Bino byonna byasoboka olw’ebibuuzo ebisatu omuwala omuto bye yambuuza.

^ lup. 16 Omuwala ono ne bakulu be baayamba abasomesa baabwe bataano okuyiga Bayibuli ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa.

^ lup. 18 Ekigambo “Beseri,” kitegeeza ‘Ennyumba ya Katonda.’ (Olubereberye 28:17, 19) Ofiisi z’Abajulirwa ba Yakuwa mu buli nsi ziyitibwa “Beseri.” Abo abaweerereza ku Beseri bakola emirimu egitali gimu okuwagira omulimu gw’okuyigiriza abantu Bayibuli ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa.