Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Abantu abaaliwo mu biseera we baawandiikira Bayibuli baamanyanga batya nti omwezi omupya oba omwaka omupya gutandise?

ABAYUDAAYA we baabeerera mu Nsi Ensuubize, omwaka gwabwe omupya gwatandikanga mu kiseera ky’okuteekateeka ennimiro n’okusiga, era ekyo kyabangawo mu mwezi gwa Ssebutemba oba Okitobba okusinziira ku kalenda y’omu kiseera kino.

Abantu baamanyanga obuwanvu bw’omwezi nga basinziira ku kuboneka kw’omwezi (okubaawo oluvannyuma lw’ennaku 29 oba 30). Ate baamanyanga obuwanvu bw’omwaka nga basinziira ku ntambula y’enjuba. Kyokka omwaka ogwabalibwanga okusinziira ku kuboneka kw’omwezi gwabanga mumpi ku ogwo ogwabalibwanga okusinziira ku ntambula y’enjuba. Bwe kityo, baanoonya enkola ze baali bayinza okukozesa, ennaku mu myaka zibe nga zenkanankana. Ekyo baakikolanga nga mu myezi egimu bongeramu ennaku oba nga buli luvannyuma lwa kiseera bongeramu omwezi gumu mu mwaka, gamba nga ku nkomerero y’omwaka. Bwe baakolanga batyo, kalenda yakwatagananga n’ekiseera ky’okusiga oba eky’amakungula.

Kyokka mu kiseera kya Musa, Katonda yalagira Abayisirayiri nti omwezi gwabwe ogusooka gwandibaddenga Abibu oba Nisaani. (Kuv. 12:2; 13:4) Gwabangawo mu Maaki oba Apuli okusinziira ku kalenda y’omu kiseera kino. Mu mwezi gwa Nisaani Abayisirayiri baabanga n’embaga era ku mbaga eyo baalinanga okuwaayo eri Yakuwa ebibala ebibereberye ebya ssayiri.—Kuv. 23:15, 16.

Mu kitabo kye ekiyitibwa The History of the Jewish People in the Age of Jesus Christ, (175 B.C.–A.D. 135), omwekenneenya wa Bayibuli ayitibwa Emil Schürer, yagamba nti: “Embaga ey’Okuyitako yalinanga okukwatibwa nga Nisaani 14 ng’omwezi gwa ggabogabo, oluvannyuma lw’olunaku olubaawo mu Maaki oba Apuli ng’essaawa zaalwo ez’emisana zenkanankana n’ez’ekiro . . . N’olwekyo, bwe kyamanyibwanga nti embaga ey’Okuyitako ejja kubaawo ng’olunaku olwo terunnatuuka, Abayudaaya baayongerangako omwezi ogw’ekkumi n’esatu ng’omwezi gwa Nisaani tegunnatuuka.”

Abajulirwa ba Yakuwa bakozesa enkola eyo okumanya olunaku kwe banaakwatira omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe, ogubaawo mu Maaki oba mu Apuli era ng’olunaku olwo lukwatagana n’olunaku lwa Nisaani 14, ku kalenda y’Abayudaaya. Ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi bitegeezebwa olunaku olwo nga bukyali. *

Naye, Abayudaaya baamanyanga batya ddi omwezi lwe gwandiweddeko na ddi omwezi omupya lwe gwanditandise? Leero ekyo osobola okukimanya ng’otunula butunuzi ku kalenda yo. Naye bwe kityo si bwe kyali mu biseera eby’edda.

Mu kiseera ky’amataba, omwezi gwatwalibwanga nti gulimu ennaku 30. (Lub. 7:11, 24; 8:3, 4) Naye oluvannyuma Abayudaaya omwezi tebaagubalangamu ennaku 30 zokka. Baakitwalanga nti omwezi omupya gwatandikanga ng’omwezi gwakaboneka. Ekyo kyabangawo oluvannyuma lw’ennaku 29 oba 30, okuva ku ntandikwa y’omwezi ogwabanga guweddeko.

Lumu, Dawudi ne Yonasaani baayogera ku ntandikwa y’omwezi bwe baagamba nti: “Enkya kuboneka kwa mwezi.” (1 Sam. 20:5, 18) N’olwekyo kirabika nti ekyasa ekya 11th E.E.T. we kyatuukira, abantu baali basobola okumanya ennaku ezandibadde mu mwezi nga n’omwezi tegunnatandika. Kati olwo Omuyudaaya owa bulijjo yategeeranga atya obanga omwezi omupya gutandise. Ekitabo ekiyitibwa Mishnah, ekirimu amateeka n’obulombolombo bw’Abayudaaya kiraga engeri gye baamanyangamu. Kigamba nti mu kiseera ng’Abayudaaya bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni, Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya lwe lwasalangawo ku nsonga eyo. Mu myezi omusanvu egyabangamu embaga, olukiiko olwo lwatuulanga ku lunaku olw’asatu olw’omwezi. Abasajja abo be baasalangawo olunaku omwezi omupya lwe gwanditandise. Baasinziiranga ku ki okusalawo?

Abasajja baateekebwanga ku busozi mu bifo eby’enjawulo mu Yerusaalemi okwetegereza ku ggulu okulaba obanga omwezi gubonese. Bwe baalabanga ng’omwezi gubonese, baategeezanga mangu ab’olukiiko olukulu. Ab’olukiiko olwo bwe baafunanga obukakafu obumala nti omwezi gubonese, baalangiriranga nti omwezi omupya gutandise. Watya singa ku ggulu kwabangako ebire oba olufu, ne lulemesa abasajja abo okulaba obanga omwezi gubonese. Omwezi ogwo gwalangirirwanga nti gulina ennaku 30, era omwezi omupya gwabanga gutandise.

Okusobola okulangirira ekyo Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya kye lwabanga lusazeewo, baakumanga omuliro ku Lusozi olw’Emizeyituuni olwali okumpi ne Yerusaalemi. Era omuliro gwakumibwanga ne ku busozi obulala mu Isirayiri mwonna okusobola okusaasaanya amawulire ago. Oluvannyuma, ababaka baatumibwanga. Mu ngeri eyo, Abayudaaya abaabanga mu Yerusaalemi, mu Isirayiri mwonna, ne bitundu ebirala baamanyanga nti omwezi omupya gutandise. Ekyo kyabasobozesanga okukwata embaga ze baalinanga okukwata mu kiseera kye kimu.

Kalenda y’Abayudaaya eragiddwa wammanga esobola okukuyamba okumanya engeri emyezi gye gyabalibwanga, ebiseera, n’embaga Abayisirayiri ze baabanga nazo.

^ Laba Watchtower eya Febwali 15, 1990, lup. 15, ne “Questions From Readers” mu Watchtower eya Jjuuni 15, 1977.