Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Abaruumi baali basobola okukkiriza omuntu eyabanga akomereddwa ku muti, nga Yesu bwe yakomererwa, okuziikibwa obulungi?

ABANTU bangi bamanyi ekyo Bayibuli ky’egamba nti Yesu yakomererwa ku muti awamu n’abamenyi b’amateeka babiri. (Mat. 27:35-38) Kyokka abamu bawakanya ekyo Bayibuli ky’egamba nti oluvannyuma omulambo gwa Yesu gwaggibwa ku muti ne guteekebwateekebwa bulungi era ne guteekebwa mu ntaana.—Mak. 15:42-46.

Abamu ku abo abawakanya ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri bagamba nti tekisoboka kuba nti omuntu eyabanga attiddwa ng’omumenyi w’amateeka yaziikibwanga bulungi mu ntaana. Mu kifo ky’ekyo, bagamba nti emirambo gy’abantu ng’abo tegyaziikibwanga ng’egy’abalala. Munnamawulire ayitibwa Ariel Sabar bwe yali awandiika mu magazini eyitibwa Smithsonian yalaga endowooza eyo gye yava. Yawandiika nti: “Okukomerera omuntu kyabanga kibonerezo ekyaweebwanga abantu abaatwalibanga nti babi nnyo era abakugu abamu bawakanya ebyo ebigambibwa nti Abaruumi baali basobola okukkiriza omuntu ng’oyo okuziikibwa mu ngeri ey’ekitiibwa.” Kyo kituufu nti Abaruumi baayagalanga okukola kyonna ekisoboka okuweebuula omumenyi w’amateeka. Bwe kityo, baalekanga omulambo gwe ku muti ne guliibwa ebisolo. Era kirabika oluvannyuma ebisigalira bye baabisuulanga busuuzi mu ntaana.

Kyokka, abayiikuula eby’omu ttaka balina ekintu kye baazuula ekikwata ku bisigalira by’Abayudaaya abamu abattibwa. Mu 1968, amagumba g’omusajja eyattibwa mu kiseera kye kimu Yesu we yabeerera ku nsi gaazuulibwa. Gaazuulibwa mu ntaana ab’omu maka agamu we baaziikanga abantu baabwe okumpi n’e Yerusaalemu. Amagumba ago gaali mu ssanduuko. Eggumba ly’ekisinziiro kye kimu ku ebyo ebyasangibwa mu ssanduuko eyo. Lyali lyakomererwa ku lubaawo nga bakozesa omusumaali gwa inci nnya n’ekitundu. Sabar agamba nti: “Eggumba ly’ekisinziiro, ery’omusajja eyali ayitibwa Yehochanan, lyakakasa nti ebyo ebitabo by’Enjiri bye byogera nti Yesu yaziikibwa mu ntaana bituufu.” N’ekisinga obukulu, “eggumba ly’ekisinziiro kya Yehochanan kyali kyakulabirako eky’omusajja eyakomererwa ku muti mu kiseera kye kimu Yesu we yabeerera ku nsi, Abaruumi gwe bakkiriza okuziikibwa obulungi ng’Abayudaaya bwe baaziikanga.”

Wayinza okuba nga wakyaliwo endowooza za njawulo ku ngeri Yesu gye yakomererwa ku muti okusinziira ku ggumba ly’ekisinziiro eryazuulibwa. Naye ekituufu kiri nti abantu abamu abaakomererwanga ku muti baaziikibwanga bulungi era emirambo gyabwe tegyasuulibwanga busuulibwa. N’olwekyo, ebyo Bayibuli by’egamba nti omulambo gwa Yesu gwateekebwa bulungi mu ntaana byesigika. Obukakafu obwazuulibwa buwagira ekyo Bayibuli ky’egamba.

N’ekisinga obukulu, Yakuwa yali yayogera dda nti Yesu yandiziikiddwa mu ntaana y’omusajja omugagga, era tewali asobola kulemesa Kigambo kya Katonda kutuukirira.—Is. 53:9; 55:11.