Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Kiki Abayudaaya kye baakolanga ekyaleetera Yesu okugaana abagoberezi be okulayira?

OKUSINZIIRA ku Mateeka ga Musa, waaliwo embeera mwe kyabanga kyetaagisiza omuntu okulayira. Kyokka mu kiseera kya Yesu, Abayudaaya baali bakozesa bubi ebirayiro nga kyenkana balayira ku buli nsonga. Ekyo baakikolanga okukakasa nti ebyo bye baali boogera byali bituufu. Emirundi ebiri Yesu yavumirira omuze ogwo ogw’okumala galayira. Mu kifo ky’ekyo, yagamba abantu nti: “Ekigambo kyammwe ‘Yee,’ kibeerenga yee, n’ekigambo kyammwe ‘Nedda,’ kibeerenga nedda.”—Mat. 5:33-37; 23:16-22.

Ekitabo ekiyitibwa Theological Dictionary of the New Testament, kigamba nti ekitabo ky’Abayudaaya ekiyitibwa Talmud kiraga nti Abayudaaya baalayiranga kumpi ku buli nsonga. Talmud erimu olukalala lw’ebirayiro ebyalinanga okutuukirizibwa n’ebyo omuntu bye yali ayinza obutatuukiriza.

Yesu si ye yekka eyavumirira omuze ogwo. Ng’ekyokulabirako, munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Flavius Josephus yayogera ku kabinja akamu ak’Abayudaaya akaali keewala okulayira. Abantu b’omu kabinja ako baali bakitwala nti okulayira kyali kibi n’okusinga okulimba. Baali bakkiriza nti omuntu bw’aba ng’alina kusooka kulayira okusobola okukakasa nti by’ayogera bituufu, kiba kiraga nti omuntu oyo mulimba. Ekitabo ky’Abayudaaya ekiyitibwa Ecclesiasticus, (23:11) kigamba nti: “Omuntu alina omuze ogw’okulayira aba mubi nnyo.” N’olwekyo tekyewuunyisa nti Yesu yavumirira eky’okumala galayira ne ku nsonga ezitaliimu. Bwe tuba nga twogera amazima buli kiseera, kiba tekitwetaagisa kusooka kulayira abalala basobole okukkiriza nti bye twogera bituufu.