Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekikolwa Kimu eky’Ekisa

Ekikolwa Kimu eky’Ekisa

TAATA wa John yabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa mu 1950 mu kabuga akamu akasangibwa mu ssaza ly’e Gujarat mu Buyindi. John, maama we, ne baganda be ne bannyina abataano baali Bakatuliki bakuukuutivu era baali tebaagala ddiini ya taata waabwe.

Lumu taata wa John yamutuma okutwala ebbaluwa eri ow’oluganda omu. Kyokka ku olwo ku makya, John yeesala engalo bwe yali ng’asumulula omukebe. Naye olw’okuba yali ayagala okugondera kitaawe, yasiba ekiwero ku kiwundu ekyali kitonnya omusaayi n’atwala ebbaluwa.

John bwe yatuuka gye baali bamutumye, yasangayo mukyala w’ow’oluganda oyo naye eyali Omujulirwa wa Yakuwa. Omukyala oyo bwe yali akwata ebbaluwa, yalaba engalo John gye yali asibyeko akawero era n’asalawo okumuyamba. Yaggyayo akabokisi ke akaalimu ebintu ebikozesebwa mu bujjanjabi obusookerwako, n’ayonja ekiwundu, era n’akisibako pulasita. Oluvannyuma yafumbira John caayi era n’ayogera naye bulungi ebikwata ku Bayibuli.

Ekyo kyaleetera John okutandika okukyusa endowooza enkyamu gye yalina ku Bajulirwa ba Yakuwa. Bwe kityo, yabuuza mukyala w’ow’oluganda oyo ebibuuzo ebikwata ku bintu bibiri taata we bye yali akkiriza kyokka nga ye John tabikkiriza. Yamubuuza obanga Yesu Katonda era obanga Abakristaayo basaanidde okusaba Maliyamu. Olw’okuba mwannyinaffe oyo yali ayize olulimi lwa John Olugujalati, yaddamu ebibuuzo bye ng’akozesa Bayibuli era n’amuwa akatabo “Ebigambo Bino Ebirungi eby’Obwakabaka.”

John bwe yasoma akatabo ako yakiraba nti yali azudde amazima. Yagenda eri omukulu w’eddiini ye n’amubuuza ebibuuzo ebyo bye bimu. Omukulu w’eddiini oyo yasunguwala nnyo era n’amukasukira Bayibuli nga bw’amugamba nti: “Ofuuse Sitaani! Ndaga Bayibuli w’egambira nti Yesu si Katonda. Ndaga w’egambira nti tetulina kusinza Maliyamu. Ndaga!” John yeewuunya nnyo olw’engeri omukulu w’eddiini oyo gye yeeyisaamu era n’amugamba nti, “Siriddamu kulinnya ku kkereziya.” Era teyaddayo!

John yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, ne yeewaayo eri Yakuwa, era n’atandika okumuweereza. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, n’ab’eŋŋanda ze abalala nabo baafuuka Bajulirwa ba Yakuwa. John akyalina enkovu ku ngalo gye yasala emyaka 60 emabega. Enkovu eyo emujjukiza ekikolwa ekyo ekimu eky’ekisa ekyamuleetera okuyiga amazima n’atandika okuweereza Yakuwa.—2 Kol. 6:4, 6.