Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Ng’oggyeeko Bayibuli, bukakafu ki obulala obulaga nti Abayisirayiri baali baddu mu Misiri?

Bayibuli egamba nti oluvannyuma lw’Abamidiyaani okutwala Yusufu e Misiri, Yakobo n’ab’ennyumba ye baava mu Kanani ne bagenda e Misiri. Baabeera mu kitundu ky’e Goseni ekisangibwa awo Omugga Kiyira we gweyawuliramu obugga obw’enjawulo obuyiwa mu Nnyanja Meditereniyani. (Lub. 47:1, 6) Abayisirayiri “beeyongera obungi era ne baba ba maanyi.” Ekyo kyatiisa nnyo Abamisiri, ne bafuula Abayisirayiri abaddu.​—Kuv. 1:7-14.

Abantu abamu leero bagamba nti ebyo Bayibuli by’eyogera ku nsonga eyo lugero bugero. Naye waliwo obukakafu obulaga nti Abaseemu (Semites) * baaliko abaddu mu Misiri.

Ng’ekyokulabirako, abantu abayiikuula ebintu eby’edda, bayiikudde ebifo ebitali bimu mu bukiikakkono bwa Misiri omwabeeranga abantu mu biseera by’edda. Dr. John Bimson agamba nti waliwo ebyalo nga 20 n’okusingawo ebyabeerangamu Abaseemu mu kitundu ekyo eky’omu bukiikakkono bwa Misiri. Ate era James K. Hoffmeier, omu ku beekenneenya ebikwata ku Misiri agamba nti: “Okuva awo nga mu 1800 E.E.T. okutuuka mu 1540 E.E.T., Abaseemu okuva mu bugwanjuba bwa Asiya baasenganga nnyo mu Misiri.” Era agamba nti: “Ekiseera ekyo kikwatagana n’ekiseera Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo we baabeererawo era kikwatagana n’ekiseera awamu n’embeera ebyogerwako mu kitabo ky’Olubereberye.”

Waliwo obukakafu obulala okuva mu bukiikaddyo bwa Misiri. Ekiwandiiko ekimu ekiyinza okuba nga kyawandiikibwa wakati wa 2000 ne 1600 E.E.T. kiriko amannya g’abaddu abaali bakola mu maka agamu mu bukiikaddyo bwa Misiri. Amannya agasukka mu 40 ku mannya ago gaali ga Baseemu. Abaddu oba abaweereza abo baali bakola ng’abafumbi, abalusi, n’emirimu emirala egy’amaanyi. Hoffmeier agamba nti: “Okuva bwe kiri nti mu maka ago agamu obumu agaali gasangibwa mu Thebaid [bukiikaddyo bwa Misiri] mwalimu Abaseemu abasukka 40 abaali bagakoleramu, kiteekwa okuba nti omuwendo gw’Abaseemu mu Misiri yonna naddala mu kitundu Omugga Kiyira we gwegattira ku Nnyanja Meditereniyani gwali munene nnyo.”

David Rohl omu ku bayiikuuzi yagamba nti agamu ku mannya g’abaddu abali ku lukalala olwo “gafaananira ddala amanya agali mu Bayibuli.” Ng’ekyokulabirako, ekiwandiiko ekyo kiriko amannya agafaanana n’amannya nga Isakaali, Aseri, ne Sifira. (Kuv. 1:3, 4, 15) Rohl agamba nti “Buno bukakafu bwennyini obulaga nti Abayisirayiri baali baddu mu Misiri.”

Dr. Bimson agamba nti: “Ekyo Bayibuli ky’eyogera ku Bayisirayiri okubeera mu Misiri n’okuvaayo kwabwe, ebyafaayo bikikakasa.”

^ lup. 4 Erinnya Abaseemu liva mu Seemu, omu ku batabani ba Nuuwa abasatu. Kirabika mu bazzukulu ba Seemu muzingiramu Abeeramu, Abaasuli, Abakaludaaya abaasooka, Abebbulaniya, Abasuuli, n’ebika by’Abawalabu ebitali bimu.