Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lefèvre d’Étaples​—Yayagala Abantu ba Bulijjo Bategeere Ekigambo kya Katonda

Lefèvre d’Étaples​—Yayagala Abantu ba Bulijjo Bategeere Ekigambo kya Katonda

ABANTU b’omu kabuga akayitibwa Meaux, akali okumpi n’ekibuga Paris mu Bufalansa, beewuunya nnyo kye baawulira nga bagenze okusaba mu kkereziya lumu ku Ssande, awo nga mu mwaka gwa 1520. Ku lunaku olwo ebyawandiikibwa ebiri mu bitabo by’Enjiri byasomebwa mu lulimi lwabwe Olufalansa, mu kifo ky’Olulattini!

Jacques Lefèvre Stapulensis ye yavvuunula Ebyawandiikibwa ebyo, era oluvannyuma yawandiikira mukwano gwe n’amugamba nti: “Kyewuunyisa okulaba engeri Katonda gy’ayambamu abantu aba bulijjo mu bitundu ebimu okutegeera ekigambo kye.”

Mu kiseera ekyo abakulembeze b’eddiini y’Ekikatuliki ne bannaddiini abalala mu kibuga Paris baali tebaagalira ddala bantu basome Bayibuli ezavvuunulwa mu nnimi abantu abasinga obungi ze baali bategeera. Kati olwo lwaki Lefèvre yavvuunula Bayibuli mu Lufalansa, era kiki kye yakola okusobola okuyamba abantu aba bulijjo okutegeera Ekigambo kya Katonda?

YAFUBA OKUTEGEERA AMAKULU G’EBYAWANDIIKIBWA

Lefèvre bwe yali tannatandika kuvvuunula Bayibuli, yali amaze ekiseera kiwanvu ng’avvuunula ebiwandiiko eby’edda ebikwata ku bufirosoofo n’eby’eddiini. Yakizuula nti ebiwandiiko eby’edda bingi byali byavvuunulwa bubi era byalimu ensobi nnyingi. Ekyo kyamuleetera okwekenneenya enkyusa ya Bayibuli eyitibwa Latin Vulgate, ng’eyo ye yali Bayibuli entongole Ekkereziya gye yakozesanga.

Lefèvre bwe yeekenneenya Ebyawandiikibwa, yakizuula nti “okusoma Ebyawandiikibwa ebitukuvu kye kyokka ekireeta . . . essanyu erya nnamaddala.” N’olwekyo, yalekera awo okusoma ebitabo ebikwata ku bufirosoofo ne yeemalira ku gw’okuvvuunula Bayibuli.

Mu 1509, yafulumya ekitabo mwe yageraageranyiza enkyusa za mirundi etaano ez’ekitabo kya Zabbuli mu Lulattini, * era n’alaga n’ensobi ze yali atereezezza mu nkyusa ya Latin Vulgate. Obutafaananako bannaddiini ab’omu kiseera kye, yafuba okutegeera amakulu g’Ebyawandiikibwa. Engeri gye yataputangamu Ebyawandiikibwa erina kinene nnyo kye yakola ku bantu abalala abeekenneenyanga Bayibuli.​—Laba akasanduuko, “ Engeri Ebyo Lefèvre Bye Yawandiika Gye Byakwata ku Martin Luther.”

Olukalala lw’ebitiibwa bya Katonda ebiri mu Zabbuli, oluli mu kitabo Fivefold Psalter, ekyakubibwa mu 1513

Lefèvre eyali Omukatuliki okuva mu buto, yakiraba nti ekyandireeseewo enkyukakyuka mu Bukatuliki kwe kuyigiriza abantu amazima agali mu Byawandiikibwa. Naye abantu aba bulijjo banditegedde batya Ebyawandiikibwa ng’ate mu kiseera ekyo Bayibuli ezisinga obungi zaali mu Lulattini?

BAYIBULI ABANTU BONNA GYE BAALI BASOBOLA OKUFUNA

Ebiri mu nnyanjula y’ebitabo by’Enjiri biraga nti Lefèvre yali ayagala nnyo abantu bonna bafune Bayibuli mu lulimi lwabwe

Olw’okuba Lefèvre yali ayagala nnyo Ekigambo kya Katonda, yayagala abantu abasinga obungi bafune Bayibuli. Okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, mu Jjuuni 1523 yafulumya Bayibuli eyalimu ebitabo by’Enjiri mu Lufalansa. Bayibuli eyo yali ya ssente ntono bw’ogigeraageranya ku ssente Bayibuli eyaliwo mu kiseera ekyo ze yali egula, era n’abantu ab’enfuna entono baali basobola okugigula.

Abantu ba bulijjo baasanyuka nnyo! Baali beesunga okusoma ebigambo bya Yesu mu lulimi lwabwe, ne kiba nti mu myezi mitono, kopi za Bayibuli eyo 1,200 ezaasooka okukubibwa zaali ziweddewo.

YALWANIRIRA BAYIBULI

Mu nnyanjula y’Enjiri, Lefèvre yannyonnyola nti yali azivvuunudde mu Lufalansa “abantu aba bulijjo basobole okutegeera amazima agali mu Byawandiikibwa ng’abo abamanyi Olulattini bwe bagategeera.” Naye lwaki Lefèvre yayagala nnyo okuyamba abantu aba bulijjo okutegeera Bayibuli?

Yali akimanyi nti enjigiriza z’abantu n’obufirosoofo byali byonoonye Obukatuliki. (Makko 7:7; Abakkolosaayi 2:8) Yalaba nti ekiseera kyali kituuse Enjiri “erangirirwe mu nsi yonna, abantu balekere awo okubuzaabuzibwa enjigiriza z’abantu.”

Ate era Lefèvre yayanika endowooza enkyamu ez’abo abaali bawakanya eky’okuvvuunula Bayibuli mu Lufalansa. Yabavumirira nti baali bannanfuusi, n’agamba nti: “Banaayigiriza batya abantu ebintu byonna Yesu Kristo bye yalagira nga tebaagala bantu ba bulijjo kulaba era n’okusoma Enjiri ya Katonda mu lulimi lwabwe?”​—Abaruumi 10:14.

Tekyewuunyisa nti bannaddiini ku Yunivasite y’e Paris eyitibwa Sorbonne baagezaako okulemesa Lefèvre. Mu Agusito 1523, baawakanya eky’okuvvuunula Bayibuli n’ebiwandiiko ebiginnyonnyola mu lulimi abantu lwe baali bategeera. Baagamba nti “kyali kya bulabe nnyo eri Ekkereziya.” Singa kabaka wa Bufalansa ayitibwa Francis I teyayingira mu nsonga, Lefèvre yali agenda kuvunaanibwa gwa kujeemera Ekkereziya.

YAMALIRIZA OMULIMU GWE OGW’OKUVVUUNULA

Lefèvre teyakkiriza abo abaali bamuwakanya kumulemesa kuvvuunula Bayibuli. Bwe yamala okuvvuunula Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani (abamu bye bayita Endagaano Empya), yafulumya ekitabo kya Zabbuli mu Lufalansa mu 1524. Yagamba nti ekyo yakikola okuyamba abantu okusaba essaala “eziviira ddala ku mutima.”

Bannaddiini ku yunivasite y’e Sorbonne beekebejja Ebyawandiikibwa Lefèvre bye yali avvuunudde, era ne balagira nti byokebwe mu lujjudde. Ate era waaliwo n’ebiwandiiko ebirala bye baavumirira, nga bagamba nti byali biwagira “obulimba bwa Martin Luther.” Bwe baamuyita yennyonnyoleko, Lefèvre teyabanyega, wabula yaddukira mu kibuga Strasbourg ne yeeyongera okuvvuunula Bayibuli. Wadde ng’abamu baagamba nti ekyo kye yakola kyali kikolwa kya butiitiizi, yakiraba nti ekyo kye yali agwanidde okukola okwewala abo abaali batasiima ebyo bye yali akola.​—Matayo 7:6.

Nga wayiseewo omwaka gumu nga Lefèvre amaze okuddukira mu kibuga Strasbourg, Kabaka Francis I yamuwa obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza mutabani we Charles, eyali ow’emyaka ena. Omulimu ogwo gwamuwa ebiseera ebimala ne kimusobozesa okumaliriza okuvvuunula Bayibuli. Mu 1530, Bayibuli gye yavvuunula yakubibwa mu kyapa mu kibuga Antwerp ekya Bubirigi, era Empula Charles V yamuwagira. *

KYE YALI ASUUBIRA TEKYATUUKIRIRA

Mu bulamu bwe bwonna, Lefèvre yali asuubira nti Ekkereziya yandirekedde awo okuyigiriza obulombolombo bw’abantu n’etandika okuyigiriza ebiri mu Byawandiikibwa. Yali akimanyi nti “buli Mukristaayo alina eddembe n’obuvunaanyizibwa okwesomera Bayibuli ategeere ebigirimu.” Eyo ye nsonga lwaki yafuba nnyo okulaba nti buli muntu afuna Bayibuli. Kyokka, wadde nga kye yali asuubira Ekkereziya okukola tekyatuukirira, Lefèvre ye yakola omulimu gwa ttendo; yayamba abantu aba bulijjo okutegeera Ekigambo kya Katonda.

^ lup. 8 Ekitabo ekyo ekiyitibwa Fivefold Psalter kyalimu enkyusa za mirundi etaano ez’ekitabo kya Zabbuli, nga buli nkyusa eri mu muwaatwa gwayo. Ate era kyalimu n’ekipande ekiraga ebitiibwa bya Katonda eby’enjawulo, awamu n’ennukuta ennya ez’Olwebbulaniya ezikiikirira erinnya lya Katonda eziyitibwa Tetragrammaton.

^ lup. 21 Mu 1535, omuvvuunuzi Omufalansa ayitibwa Olivétan yafulumya enkyusa ya Bayibuli eyali yeesigamiziddwa ku biwandiiko bya Bayibuli ebyali mu nnimi Bayibuli mwe yasookera ddala okuwandiikibwa. Bwe yali avvuunula Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, yeeyambisa nnyo ebyo Lefèvre bye yali avvuunudde.