Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okwagala kutuleetera okuyamba abali mu bwetaavu

Engeri Gye Tuyinza Okulagamu Bantu Bannaffe Okwagala

Engeri Gye Tuyinza Okulagamu Bantu Bannaffe Okwagala

Olw’okuba ffenna twava mu muntu omu, Adamu, tuli baluganda. Wadde ng’abantu ab’oluganda basuubirwa okuba nga baagalana era nga bawaŋŋana ekitiibwa, si bwe kiri leero. Ekyo Omutonzi waffe si ky’ayagala.

EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU KYE BYOGERA KU KWAGALA

“Oyagalanga [muntu] munno nga bwe weeyagala.”​—EBY’ABALEEVI 19:18.

“Mweyongere okwagala abalabe bammwe.”​—MATAYO 5:44.

KYE KITEGEEZA OKWAGALA BANTU BANNAFFE

Weetegereze engeri okwagala gye kunnyonnyolwamu mu 1 Abakkolinso 13:4-7:

“Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa.”

Kirowoozeeko: Owulira otya abalala bwe bakugumiikiriza, bwe bakulaga ekisa era ne batakusunguwalira ng’okoze ensobi?

“Okwagala tekukwatibwa buggya.”

Kirowoozeeko: Owulira otya abalala bwe baba nga bakwekengera buli kiseera oba nga bakukwatirwa obuggya?

Okwagala “tekwenoonyeza byakwo.”

Kirowoozeeko: Owulira otya abalala bwe baba nga bakuwuliriza bulungi ng’owa endowooza yo era nga tebakalambira ku ndowooza yaabwe?

Okwagala “tekusiba kiruyi.”

Kirowoozeeko: Katonda mwetegefu okusonyiwa abantu ababa beenenyezza. “Taatunoonyengamu nsobi, era taasibenga kiruyi mirembe na mirembe.” (Zabbuli 103:9) Kitusanyusa nnyo singa omuntu gwe tuba tunyiizizza atusonyiwa. N’olwekyo, tusaanidde okusonyiwa abalala.​—Zabbuli 86:5.

Okwagala “tekusanyukira bitali bya butuukirivu.”

Kirowoozeeko: Tekituyisa bulungi abalala bwe basanyuka nga tufunye ebizibu. N’olwekyo, tetusaanidde kusanyuka ng’abalala bafunye ebizibu ne bwe kiba nti baatuyisa bubi.

Okusobola okufuna emikisa gya Katonda, tulina okwagala abantu bonna ka babe ba ggwanga ki oba ba ddiini ki. Emu ku ngeri gye tuyinza okukikolamu kwe kuyamba abali mu bwetaavu.