Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 3 2020 | Emikisa egy’Olubeerera Okuva eri Katonda

Birungi ki Katonda by’asuubizza abantu? Osobola okwesiga Ekigambo kye ekyawandiikibwa? Mu katabo kano, ogenda kulaba ebimu ku bintu Katonda bye yasuubiza, ensonga lwaki osaanidde okuba omukakafu nti bijja kutuukirira, era ne ky’osaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu bisuubizo ebyo.

 

Osobola Okufuna Emikisa Okuva eri Katonda

Oyagala okubeera mu nsi omutali entalo, ebikolwa eby’obukambwe, n’endwadde? Ekyo si kirooto bulooto; eyo y’embeera Katonda gye yasuubiza okubaawo ku nsi.

Omutonzi Waffe Atufaako

Katonda atulabirira nga taata alina okwagala bw’alabirira ab’omu maka ge. Mu ngeri ki?

Engeri Omutonzi gy’Atutuusaako Obubaka Bwe

Katonda yakozesa atya bannabbi be okuwandiika obubaka bwe?

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu Byakyusibwa?

Weetegereze abakugu kye baazuula ku Bayibuli gye tulina leero.

Tuyiga Ebikwata ku Katonda Okuyitira mu Bannabbi Be

Bannabbi basatu abatuyamba okuyiga ebikwata ku Katonda n’engeri gye tuyinza okufuna emikisa gye.

Weeyongere Okusaba Katonda

Tusaanidde kusaba tutya okusobola okuwulirwa Katonda n’okufuna emikisa gye?

Emikisa Abo Abagondera Katonda Gye Bajja Okufuna

Weetegereze engeri bbiri okugondera Katonda gye kituyambamu.

Engeri Gye Tuyinza Okulagamu Bantu Bannaffe Okwagala

Si kyangu kulaga balala kwagala, naye kisoboka.

Emikisa Abo Abayamba Abali mu Bwetaavu Gye Bafuna

Mikisa ki gye tufuna bwe tuyamba abali mu bwetaavu?

Osobola Okufuna Emikisa Gya Katonda Emirembe Gyonna

Obulamu buliba butya ku nsi nga Katonda atuukirizza ekyo kye yasuubiza Ibulayimu?

Wali Weebuuzizzaako Ebibuuzo Bino?

Funa eby’okuddamu ebikwata ku bibuuzo ebikulu mu bulamu ne ku Katonda.