Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tuyiga Ebikwata ku Katonda Okuyitira mu Bannabbi Be

Tuyiga Ebikwata ku Katonda Okuyitira mu Bannabbi Be

Mu biseera eby’edda, Katonda yategeezanga bannabbi obubaka bwe ne babutuusa ku bantu. Obubaka obwo busobola okutuyamba okumanya engeri gye tusobola okufunamu emikisa gya Katonda. Ka tulabe bye tusobola okuyigira ku bannabbi bano abasatu.

IBULAYIMU

Katonda tasosola era ayagala okuwa abantu bonna emikisa.

Katonda yasuubiza nnabbi Ibulayimu nti “okuyitira mu ggwe ebika byonna eby’oku nsi biriweebwa omukisa.”​—Olubereberye 12:3.

Kiki kye tuyigamu? Katonda atwagala nnyo, era ayagala okuwa emikisa abantu bonna abamugondera, ka babe basajja, bakazi, oba baana.

MUSA

Katonda musaasizi era awa emikisa abo bonna abafuba okumumanya.

Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna yawa nnabbi Musa amaanyi okukola ebyamagero. Wadde kyali kityo, Musa yasaba Katonda nti: “Mmanyisa amakubo go nkumanye, nneeyongere okusiimibwa mu maaso go.” (Okuva 33:13) Ekyo Musa kye yasaba kyasanyusa Katonda era Katonda yamuyamba okweyongera okutegeera amakubo ge n’engeri ze. Ng’ekyokulabirako, Musa yayiga nti Katonda ‘musaasizi era wa kisa.’​—Okuva 34:6, 7.

Kiki kye tuyigamu? Ka tube basajja, bakazi, oba baana, Katonda ajja kutuwa emikisa bwe tufuba okumumanya obulungi. Mu Byawandiikibwa Ebitukuvu atubuulira engeri gy’ayagala tumusinzeemu era nti mwetegefu okutuwa emikisa.

YESU

Yesu yali musaasizi era yawonya abantu endwadde eza buli kika

Tusobola okufuna emikisa gya Katonda emirembe gyonna singa tuyiga ebikwata ku Yesu, bye yakola ne bye yayigiriza.

Ekigambo kya Katonda kirimu ebintu bingi ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’ebyo bye yayigiriza. Katonda yawa Yesu amaanyi okukola ebyamagero, gamba ng’okuwonya bamuzibe, bakiggala, n’abalema. Yazuukiza n’abafu. Ebyamagero bye yakola byalaga ebyo Katonda by’ajja okukolera abantu bonna mu biseera eby’omu maaso. Yesu yatubuulira engeri ffenna gye tusobola okuganyulwa mu ebyo Katonda by’ajja okukolera abantu. Yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”​—Yokaana 17:3.

Yesu yali musaasizi era nga wa kisa. Abasajja n’abakazi, abato n’abakulu, kyabanguyiranga okugenda gy’ali. Yabagamba nti: “Muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, era mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe.” (Matayo 11:29) Obutafaananako bantu balala ab’omu kiseera kye abaayisanga obubi abakazi, Yesu yawanga abakazi ekitiibwa era yabayisanga bulungi.

Kiki kye tuyigamu? Yesu yayagalanga nnyo abantu, era yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ku ngeri gye tusaanidde okuyisaamu bantu bannaffe.

YESU SI YE KATONDA

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu bigamba nti “waliwo Katonda omu” era nti Yesu Kristo yali mubaka wa Katonda. (1 Abakkolinso 8:6) Yesu yagamba nti Katonda amusinga obuyinza, era nti Katonda ye yamutuma ku nsi.​—Yokaana 11:41, 42; 14:28. *

^ lup. 17 Okumanya ebisingawo ebikwata ku Yesu Kristo, laba ekitundu 8 ne 9 eky’akatabo Real Faith​—Your Key to a Happy Life akali ku www.pr418.com.