Buuka ogende ku bubaka obulimu

Olowooza Ki ku Biseera eby’Omu Maaso?

Olowooza Ki ku Biseera eby’Omu Maaso?

Embeera y’ensi . . .

  • eneesigala nga bw’eri?

  • eneeyongera kwonooneka?

  • eneetereera?

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Katonda . . . alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”​—Okubikkulirwa 21:3, 4, Enkyusa ey’Ensi Empya.

OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA EKYO

Ojja kuba n’emirimu emirungi era egimatiza.​—Isaaya 65:21-23.

Tojja kuddamu kulwala wadde okubonaabona.​—Isaaya 25:8; 33:24.

Ojja kuba mu bulamu obw’essanyu ng’oli wamu n’ab’omu maka go ne mikwano gyo emirembe gyonna.​—Zabbuli 37:11, 29.

TUSOBOLA OKUKKIRIZA EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA

Lwa nsonga nga bbiri:

  • Katonda asobola okutuukiriza ekisuubizo ekyo. Mu Bayibuli, Yakuwa Katonda ye yekka ayitibwa “Omuyinza w’Ebintu Byonna” kubanga amaanyi ge tegaliiko kkomo. (Okubikkulirwa 15:3) N’olwekyo, asobola bulungi okutuukiriza ekisuubizo kye eky’okutereeza ensi. Bayibuli egamba, “eri Katonda ebintu byonna bisoboka.”​—Matayo 19:26.

  • Katonda ayagala okutuukiriza ekisuubizo ekyo. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eraga nti Yakuwa ‘ayagala nnyo’ okuzuukiza abaafa.​—Yobu 14:14, 15.

    Ate era Bayibuli ekiraga nti Yesu Omwana wa Katonda, yawonya abalwadde. Lwaki yabawonya? Kubanga yali ayagala okukikola. (Makko 1:40, 41) Okufaananako Kitaawe, Yesu naye ayagala okuyamba abo abali mu bwetaavu.​—Yokaana 14:9.

    N’olwekyo tuli bakakafu nti Yakuwa ne Yesu baagala okutuyamba tube n’obulamu obw’essanyu mu biseera eby’omu maaso!​—Zabbuli 72:12-14; 145:16; 2 Peetero 3:9.

KY’OYINZA OKULOWOOZAAKO

Katonda anaatereeza atya ensi?

Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu MATAYO 6:9, 10 ne DANYERI 2:44.