Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli mu Bufunze

Bayibuli mu Bufunze

Mu byafaayo byonna, Bayibuli kye kitabo ekikyasinzeeyo okubunyisibwa, era abantu bangi bagyagala nnyo. Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Ekitabo kino kyogera ku ki?’

Akatabo The Bible—What Is Its Message? mu bufunze kalaga ebiri mu Bayibuli ebiyamba omuntu okutegeera ensonga esinga obukulu eyogerwako mu Bayibuli. Kalaga mu bumpimpi ebyo ebiri mu Bayibuli, okuviira ddala ku kutondebwa kw’ebintu okwogerwako mu kitabo ky’Olubereberye, okutuuka ku bisuubizo bya Katonda ebyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Akatabo kano era kalimu ebipande ebiraga ebiseera ebintu ebitali bimu we byandibeereddewo. Ate era kalimu ebifaananyi ebirungi n’ebibuuzo ebireetera omuntu okufumiitiriza.

Soma akatabo The Bible—What Is Its Message? ku mukutu gwaffe mu Lungereza.