Buuka ogende ku bubaka obulimu

EKITUNDU 6

Yobu Akuuma Obugolokofu Bwe

Yobu Akuuma Obugolokofu Bwe

Sitaani abuusabuusa obwesigwa bwa Yobu mu maaso ga Katonda, naye Yobu asigala mwesigwa eri Katonda

WALIWO omuntu yenna asobola okusigala nga mwesigwa eri Katonda ng’agezesebwa, era ng’okusigala nga mwesigwa kirabika ng’ekitavaamu kalungi konna? Ekibuuzo ekyo kyajjawo Yobu bwe yali agezesebwa, era ne kiddibwamu.

Abayisirayiri bwe baali bakyali e Misiri, Yobu, eyalina oluganda ku Ibulayimu, yali abeera mu kitundu kati ekimanyiddwa nga Buwalabu. Lumu, bamalayika baakuŋŋaana mu maaso ga Katonda, era ne Sitaani naye yali wamu nabo. Mu lukuŋŋaana olwo, Yakuwa yakiraga nti yali yeesiga omuweereza we Yobu. Mu butuufu, Yakuwa yagamba nti tewaaliwo muntu mulala yenna ku nsi eyali omwesigwa nga Yobu. Kyokka Sitaani yagamba nti Yobu yali aweereza Katonda olw’okuba Katonda yali amuwadde emikisa mingi n’obukuumi. Sitaani yagamba nti singa Yobu yaggibwako buli kimu kye yalina, yandyegaanye Katonda.

Katonda yakkiriza Sitaani okuggyako Yobu eby’obugagga bye yalina, okutta abaana be, era n’okumulwaza ekirwadde eky’amaanyi. Olw’okuba Yobu yali tamanyi nti Sitaani ye yali emabega w’ebizibu ebyo byonna, yeebuuza ensonga lwaki Katonda yali akkirizza ebizibu ebyo okumutuukako. Wadde kyali kityo, Yobu teyeegaana Katonda.

Abasajja basatu abaali beeyita mikwano gya Yobu baagenda okulaba Yobu. Abasajja abo baayongera ebigambo bingi, nga bagezaako okuleetera Yobu okulowooza nti Katonda yali amubonereza olw’ebibi bye yakola. Ate era baagamba nti Katonda tasiima baweereza be era tabeesiga. Yobu teyakkiriza bigambo eby’obulimba abasajja abo bye baayogera. Yobu yamalirira okukuuma obugolokofu bwe okutuusa okufa!

Naye Yobu yakola ensobi bwe yagezaako okwewolereza. Omuvubuka eyali ayitibwa Eriku, yali atudde awo ku bbali ng’awuliriza abasajja abo nga boogera ne Yobu. Oluvannyuma naye yatandika okwogera. Eriku yanenya Yobu olw’obutakiraba nti okugulumiza obufuzi bwa Yakuwa Katonda kikulu nnyo okusinga okulaga nti omuntu mutuufu. Ate era Eriku yanenya nnyo abasajja abaali beeyita mikwano gya Yobu.

Oluvannyuma, Yakuwa Katonda yayogera ne Yobu n’atereeza endowooza ye. Ng’akozesa ebitonde ebitali bimu, Yakuwa yayigiriza Yobu nti omuntu talina bw’ali bw’omugeraageranya ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Yobu yakkiriza ensobi ze era ne yeenenya. Olw’okuba Yakuwa “alina okwagala kungi era musaasizi,” yawonya Yobu ekirwadde ekyali kimuluma, yamuwa eby’obugagga ebikubisaamu bye yalina emirundi ebiri, era yamuwa n’abaana kkumi. (Yakobo 5:11) Yobu bwe yasigala nga mwesigwa mu kugezesebwa okw’amaanyi, yakiraga nti Sitaani yalimba bwe yagamba nti abantu tebasobola kusigala nga beesigwa eri Katonda nga bagezesebwa.

​—Byesigamiziddwa ku kitabo kya Yobu.