Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ekyawandiikibwa ky’Olunaku

Ekyawandiikibwa ky’Olunaku

Akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku kalimu ebyawandiikibwa okuva mu Bayibuli. Buli lunaku koogera ku kyawandiikibwa eky’enjawulo awamu n’ebigambo ebyogera ku kyawandiikibwa ekyo. Akatabo kano kakuyamba okutandika olunaku ng’olowooza ku bintu ebizzaamu amaanyi okuva mu Bayibuli.

Wadde ng’omuntu asobola okusoma ekyawandiikibwa eky’olunaku n’ebikyogerako ekiseera kyonna mu lunaku, bangi bakirabye nti baganyulwa nnyo bwe bakisoma ku makya. Ekyo kibasobozesa okukifumiitirizaako olunaku lwonna. Bw’oba olina amaka, ojja kuganyulwa nnyo bw’onneekenneenyeza awamu n’ab’omu maka go ekyawandiikibwa eky’olunaku.

Osobola okusomera akatabo ekyawandiikibwa ky’olunaku ku Watchtower ONLINE LIBRARY, oba osobola okuwanula fayilo z’akatabo ako eza PDF ezirimu ebyawandiikibwa eby’omwaka gwonna.