Buuka ogende ku bubaka obulimu

Biki Ebiyinza Okutuyamba Okutegeera Ebyo Ebiri mu Bayibuli?

Biki Ebiyinza Okutuyamba Okutegeera Ebyo Ebiri mu Bayibuli?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli etubuulira ebintu ebisobola okutuyamba okugitegeera. K’obe nga wakulira mu mbeera ki, osobola okutegeera ebyo ebiri mu Bayibuli. Katonda yagamba Abayisirayiri nti: “Ekiragiro kino kye nkuwa leero si kizibu nnyo gy’oli era tekiri wala.”—Ekyamateeka 30:11.

Ebisobola okukuyamba okutegeera Bayibuli

  1.   Beera n’endowooza ennuŋŋamu. Osaanidde okutwala Bayibuli ng’Ekigambo kya Katonda. Beera mwetoowaze kubanga Katonda aziyiza ab’amalala. (1 Abassessalonika 2:13; Yakobo 4:6) Kyokka, weewale okumala gakkiriza ebyo by’osoma. Katonda ayagala okozese ‘obusobozi bwo obw’okulowooza.’—Abaruumi 12:1, 2.

  2.   Saba Katonda akuwe amagezi. Mu Engero 3:5, Bayibuli egamba nti: “Teweesigamanga ku kutegeera kwo.” Mu kifo ky’ekyo, weeyongere okusaba Katonda akuwe amagezi osobole okutegeera Bayibuli.—Yakobo 1:5.

  3.   Soma Bayibuli obutayosa. Ojja kuganyulwa nnyo mu ebyo ebiri mu Bayibuli singa ogisoma obutayosa, so si lumu na lumu.—Yoswa 1:8.

  4.   Nnoonyereza ku nsonga emu ku emu. Bw’okozesa Bayibuli okunoonyereza ku nsonga emu oluvannyuma n’okwata endala, kikuyamba okutegeera obulungi Ebyawandiikibwa. Tandika n’enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako, oluvannyuma osome ku bintu eby’ebuziba ebiri mu Bayibuli. (Abebbulaniya 6:1, 2) Ojja kukizuula nti ekyawandiikibwa ekimu kikuyamba okutegeera ekyawandiikibwa ekirala, nga mw’otwalidde n’ebyawandiikibwa “ebizibu okutegeera.”—2 Peetero 3:16.

  5.   Saba abalala bakuyambe. Bayibuli etukubiriza okukkiriza abo abagitegeera obulungi okutuyamba okugitegeera. (Ebikolwa 8:30, 31) Abajulirwa ba Yakuwa balina enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere. Okufaananako Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, Abajulirwa ba Yakuwa bakozesa ebitabo ebinnyonnyola Ebyawandiikibwa okuyamba abantu okutegeera ekyo Bayibuli ky’eyigiriza.—Ebikolwa 17:2, 3.

Ebintu by’oteetaaga

  1.   Kuba mugezi nnyo oba kuba na buyigirize bwa waggulu. Abatume ba Yesu 12 baategeera Ebyawandiikibwa era ne babiyigiriza n’abalala wadde ng’abatume abo baali batwalibwa ‘ng’abatali bayigirize era ng’abantu aba bulijjo.’—Ebikolwa 4:13.

  2.   Ssente. Osobola okuyiga ebyo ebiri mu Bayibuli ku bwereere. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.”—Matayo 10:8.