Buuka ogende ku bubaka obulimu

Okubatizibwa Kye Ki?

Okubatizibwa Kye Ki?

Bayibuli ky’egamba

 Okubatizibwa kitegeeza okunnyika omuntu mu mazzi era n’aggibwamu. a Ekyo kituyamba okumanya ensonga lwaki Yesu baamubatiriza mu mugga. (Matayo 3:13, 16) Mu ngeri y’emu, omusajja Omwesiyopiya yasaba okubatizibwa ng’atuuse awaali “amazzi amangi.”​—Ebikolwa 8:36-40.

Amakulu g’Okubatizibwa

 Bayibuli egeraageranya okubatizibwa ku kuziikibwa. (Abaruumi 6:4; Abakkolosaayi 2:12) Omuntu bw’abatizibwa kiba kiraga nti afudde ku bikwata ku bulamu bwe obw’emabega, era nti atandise obulamu obupya ng’Omukristaayo eyeewaddeyo eri Katonda. Omuntu okubatizibwa, n’emitendera gy’ayitamu nga tannabatizibwa, eba nteekateeka ya Katonda ey’okuyamba omuntu oyo okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo okuyitira mu kukkiriza kw’afuna mu ssaddaaka ya Yesu Kristo. (1 Peetero 3:21) Eyo ye nsonga lwaki Yesu yayigiriza nti abayigirizwa be balina okubatizibwa.​—Matayo 28:19, 20.

Okubatizibwa kunaazaako omuntu ekibi?

 Nedda. Bayibuli eyigiriza nti omusaayi gwa Yesu gwokka ogwayiibwa gwe gutunaazaako ekibi. (Abaruumi 5:8, 9; 1 Yokaana 1:7) Naye omuntu okusobola okuganyulwa mu ssaddaaka ya Yesu, alina okukkiririza mu Yesu, okukyusa amakubo ge ne yeeyisa mu ngeri etuukagana n’ebyo Yesu bye yayigiriza, era n’abatizibwa.​—Ebikolwa 2:38; 3:19.

Bayibuli eyigiriza nti abaana abawere balina okubatizibwa?

 Nedda. Bayibuli teraga nti abaana abawere balina okubatizibwa. Amadiini agamu “gabatiza” abaana abawere nga bamansira amazzi ku byenyi byabwe oluvannyuma ne babatuuma amannya. Okubatizibwa okw’Ekikristaayo kw’abo bokka abakulu ekimala era nga basobola okutegeera n’okukkiririza mu ‘mawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda.’ (Ebikolwa 8:12) Okubatizibwa kulina akakwata n’okuwuliriza Ekigambo kya Katonda, okukikkiriza, era n’okwenenya; ebintu omwana omuwere by’atasobola kukola.​—Ebikolwa 2:22, 38, 41.

 Okugatta ku ekyo, Bayibuli eraga nti Katonda atwala abaana b’Abakristaayo abeesigwa gy’ali ng’abatukuvu era abayonjo mu maaso ge. (1 Abakkolinso 7:14) Singa kyali kikkirizibwa mu maaso ga Katonda okubatiza abaana abawere, bandibadde tebabalibwa ng’abatukuvu ku lw’abazadde baabwe. b

Endowooza enkyamu ku kubatizibwa okw’Ekikristaayo

 Endowooza enkyamu: Kikkirizibwa okumansira amazzi ku muntu oba okugamufukako mu kifo ky’okumunnyika mu mazzi.

 Ekituufu: Abantu bonna aboogerwako mu mazzi abaabatizibwa, bannyikibwa mu mazzi amangi. Ng’ekyokulabirako, omuyigirizwa Firipo bwe yali agenda okubatiza omusajja Omwesiyopiya, “bakka mu mazzi” n’amubatiza. Bwe yamala okumubatiza, “baava mu mazzi.”​—Ebikolwa 8:36-39. c

 Endowooza enkyamu: Bayibuli bw’egamba nti ab’omu maka gonna baabatizibwa, kiba kiraga nti n’abaana abato baabatizibwa. Ng’ekyokulabirako, egamba nti omukuumi w’ekkomera ow’omu Firipi bwe yabatizibwa, ‘n’ab’omu nnyumba ye bonna baabatizibwa.’​—Ebikolwa 16:31-34.

 Ekituufu: Bayibuli eraga nti ab’omu nnyumba y’omukuumi w’ekkomera abaabatizibwa baategeera “ekigambo kya Yakuwa” era nti ‘baasanyuka nnyo.’ (Ebikolwa 16:32, 34) Ekyo kiraga nti bwe kiba nti mu nnyumba y’omukuumi w’ekkomera oyo mwalimu abaana abawere, bo tebaabatizibwa, kubanga baali tebasobola kutegeera kigambo kya Yakuwa.

 Endowooza enkyamu: Yesu yali ategeeza nti abaana abato basobola okubatizibwa bwe yayigiriza nti Obwakabaka obw’omu ggulu bwa baana bato.​—Matayo 19:13-15; Makko 10:13-16.

 Ekituufu: Yesu yali tayogera ku kubatizibwa bwe yayogera ebigambo ebyo. Mu kifo ky’ekyo, yali alaga nti abo abaagala okuba mu Bwakabaka bwa Katonda balina okuba ng’abaana abato, kwe kugamba, nga beetoowaze era nga bangu okuyigiriza.​—Matayo 18:4; Lukka 18:16, 17.

a Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okubatiza” kiva mu kigambo ekitegeeza “okunnyika.” Laba Theological Dictionary of the New Testament, Omuzingo I, olupapula 529.

b Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa The International Standard Bible Encyclopedia, “tewali wonna mu Ndagaano Empya we kiragibwa nti abaana abawere balina okubatizibwa.” Okubatiza abaana abawere kyava ku ndowooza enkyamu ekwata ku makulu g’okubatizibwa, kwe kugamba, nti okubatizibwa kunaazaako omuntu ebibi.​—Omuzingo 1, olupapula 416-417.

c Wansi w’omutwe “Okubatizibwa (mu ekitabo ekiyitibwa New Catholic Encyclopedia kigamba nti: “Obukakafu bulaga nti abaabatizibwanga mu kyasa ekyasooka bannyikibwanga mu mazzi.”​—Omuzingo 2, olupapula 59.