Buuka ogende ku bubaka obulimu

Maliyamu Magudaleena Yali Ani?

Maliyamu Magudaleena Yali Ani?

Bayibuli ky’egamba

 Maliyamu Magudaleena yali mugoberezi wa Yesu Kristo omwesigwa. Erinnya lye, Magudaleena, lirabika litegeeza akabuga Magudala (oboolyawo Magadani), akaali okumpi n’Ennyanja ye Ggaliraaya. Maliyamu ayinza okuba nga yabeerako mu kabuga ako.

 Maliyamu Magudaleena yali omu ku bakazi abawerako abaatambulanga ne Yesu awamu n’abayigirizwa be era baakolanga ku byetaago byabwe eby’omubiri. (Lukka 8:1-3) Yaliwo nga Yesu attibwa era yali omu ku abo abaasooka okumulaba ng’azuukiziddwa.—Makko 15:40; Yokaana 20:11-18.

 Ddala Maliyamu Magudaleena yali malaaya?

 Bayibuli tegamba nti Maliyamu Magudaleena yali malaaya. Kyokka kye mwogera kiri nti Yesu yamugobako dayimooni musanvu.—Lukka 8:2.

 Endowooza egamba nti yali malaaya yava wa? Nga wayiseewo emyaka mingi oluvannyuma lw’okufa kwe, abantu abamu baagamba nti ye mukazi atayogerwa linnya (ayinza okuba nga yali malaaya) eyanaaza ebigere bya Yesu ng’akozesa amaziga ge era n’azikaza ng’akozesa enviiri ze. (Lukka 7:36-38) Kyokka, tewali bukakafu bwonna mu Bayibuli bulaga nti endowooza eyo ntuufu.

 Ddala Maliyamu Magudaleena yali “mutume w’abatume”?

 Nedda. Kkereziya y’Abakatuliki eyita Maliyamu “Maliyamu Magudaleena Omutukuvu” era “omutume w’abatume,” olw’okuba yali omu ku abo abaasooka okuleeta amawulire g’okuzuukira kwa Yesu eri abatume. (Yokaana 20:18) Naye ekyo tekimufuula kuba mutume. Era tewali we kiragibwa mu Byawandiikibwa nti yali mutume.—Lukka 6:12-16.

 Bayibuli yamalirizibwa okuwandiikibwa ng’ekyasa ekyasooka E.E. kinaatera okuggwaako. Kyokka, oluvannyuma lw’emyaka mingi, abakulembeze b’ekkereziya baasalawo okugulumiza Maliyamu Magudaleena ne bamuwa ebitiibwa ebyo. Mu biwandiiko ebyawandiikibwa wakati w’emyaka gye 100 ne 300, abamu ku batume ba Yesu boogerwako ng’abakwatirwa Maliyamu obuggya, naye ebiwandiiko ebyo si kitundu kya Bayibuli. Ezo ngero bugero ezitali mu Byawandiikibwa.

 Ddala Maliyamu Magudaleena yali mukazi wa Yesu Kristo?

 Nedda. Mu butuufu, Bayibuli ekiraga bulungi nti Yesu teyawasa. a

a Laba ekitundu, “Was Jesus Married? Did Jesus Have Siblings?”