Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ennamba Ezikozesebwa mu Bayibuli Zirina Makulu Ki? Bayibuli Eyogera Ki ku Balagula nga Bakozesa Ennamba?

Ennamba Ezikozesebwa mu Bayibuli Zirina Makulu Ki? Bayibuli Eyogera Ki ku Balagula nga Bakozesa Ennamba?

Bayibuli ky’egamba

 Mu Bayibuli, ennamba zitera obutaba na makulu makusike, naye oluusi zisobola okuba n’amakulu amakusike oba ag’akabonero. Ennamba bw’eba erina amakulu ag’akabonero, ennyiriri eziriraanyeewo zitera okukiraga. Ka tulabe ezimu ku nnamba eziri mu Bayibuli, oluusi eziba n’amakulu ag’akabonero:

  •   1 Okubeera obumu. Ng’ekyokulabirako, Yesu yasabira abagoberezi be nti: “Bonna basobole okubeera omu, nga ggwe Kitange bw’oli obumu nange, era nga nange bwe ndi obumu naawe.”​—Yokaana 17:21; Matayo 19:6.

  •   2 Bwe waabangawo omusango, abajulizi babiri be baabanga beetaagibwa okukakasa ensonga. (Ekyamateeka 17:6) Mu ngeri y’emu, okwolesebwa oba ebigambo bwe byaddibwangamu emirundi ebiri, kyakakasibwanga nti bituufu era nti birina okutuukirira. Ng’ekyokulabirako, Yusufu bwe yali annyonnyola Falaawo kabaka wa Misiri ekirooto kye, yamugamba nti: “Ekirooto kyaddiddwamu emirundi ebiri eri Falaawo olw’okuba Katonda ow’amazima amaliridde okukola ekintu ekyo era mangu Katonda ow’amazima ajja kukituukiriza.” (Olubereberye 41:32) Mu bunnabbi, “amayembe abiri” gasobola okutegeeza obufuzi obw’emirundi ebiri, ng’obufuzi bwa Bumeedi ne Buperusi nnabbi Danyeri bwe yayogerako.​—Danyeri 8:​20, 21; Okubikkulirwa 13:11.

  •   3 Ng’abajulizi abasatu bwe baakakasanga nti ensonga ntuufu, ensonga bw’eddibwamu emirundi esatu eba ekakasiddwa oba eba eggumiziddwa.​—Ezeekyeri 21:27; Ebikolwa 10:​9-​16; Okubikkulirwa 4:8; 8:​13.

  •   4 Ennamba eno eyinza okutegeeza nti ekintu kituukiridde mu ngeri gye kyakulamu oba engeri gye kikolamu, nga mu bigambo bino: “ku nsonda ennya ez’ensi.”​—Okubikkulirwa 7:1; 21:16; Isaaya 11:12.

  •   6 Olw’okuba ennamba eno ebulako emu okuwera omusanvu, ate nga nnamba musanvu etera okukiikirira ekintu ekijjuvu, mukaaga ekiikirira ekintu ekitali kijjuvu oba ekitatuukiridde oba ekintu ekirina akakwate n’abalabe ba Katonda.​—1 Ebyomumirembe 20:6; Danyeri 3:1; Okubikkulirwa 13:18.

  •   7 Ennamba eno ekozesebwa okukiikirira ekintu ekijjuvu. Ng’ekyokulabirako, Katonda yalagira Abayisirayiri okwetooloola ekibuga Yeriko ennaku musanvu era n’okukyetooloola emirundi musanvu ku lunaku olw’omusanvu. (Yoswa 6:​15) Bayibuli erimu ebyokulabirako ebirala bingi ebikwata ku ngeri nnamba musanvu gye yakozesebwangamu. (Eby’Abaleevi 4:6; 25:8; 26:18; Zabbuli 119:164; Okubikkulirwa 1:​20; 13:1; 17:10) Yesu yagamba omutume Peetero nti ‘alina okusonyiwa muganda emirundi 77, so si emirundi musanvu.’ Enkozesa ya nnamba “musanvu” eraga nti Peetero “teyalina kulekera awo kusonyiwa.”​—Matayo 18:21, 22.

  •   10 Ennamba eno esobola okutegeeza nti ekintu kijjuvu.​—Okuva 34:28; Lukka 19:13; Okubikkulirwa 2:​10.

  •   12 Ennamba eno erabika etegeeza enteekateeka ya Katonda enzijuvu. Ng’ekyokulabirako, mu kwolesebwa okukwata ku ggulu Yokaana kwe yafuna, yalaba ekibuga ekirina amayinja g’omusingi 12, nga gawandiikiddwako amannya 12 ag’abatume.” (Okubikkulirwa 21:14; Olubereberye 49:28) Era n’ennamba z’ogabiramu 12 ne watasigalawo nfissi nazo zisobola okuba n’amakulu ge gamu.​—Okubikkulirwa 4:4; 7:​4-8.

  •   40 Ebbanga eryayitangawo wabeewo okusalirwa omusango oba okubonerezebwa, lyakwataganyizibwanga n’ennamba eno.​—Olubereberye 7:4; Ezeekyeri 29:11, 12.

Abalagula nga bakozesa ennamba

 Amakulu g’ennamba eziri mu Bayibuli si ge gamu n’ennamba abamu ze bakozesa okulagula. Abalagula mu ngeri eno banoonya amakulu agali mu nnamba emu oba eziwerako oba omugatte gwazo. Ng’ekyokulabirako, Abayudaaya abaali bakkiririza mu njigiriza eno beekenneenya ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya (Endagaano Enkadde) nga bakozesa enkola eno basobole okulaba akabonero akali mu nnamba ezo. Okukozesa ennamba mu ngeri eyo kuba kulagula era ekyo Katonda takyagalirako ddala.​—Ekyamateeka 18:10-​12.