Buuka ogende ku bubaka obulimu

Baani Abawandiikibwa mu “Kitabo ky’Obulamu”?

Baani Abawandiikibwa mu “Kitabo ky’Obulamu”?

Bayibuli ky’egamba

 “Ekitabo ky’obulamu,” era ekiyitibwa “omuzingo ogw’obulamu” oba “ekitabo eky’okujjukiza,” kirimu amannya g’abo abagenda okufuna obulamu obutaggwaawo. (Okubikkulirwa 3:5; 20:12; Malaki 3:16) Katonda y’asalawo abantu abawandiikibwa mu kitabo ekyo ng’asinziira ku bwesigwa bwabwe.​—Yokaana 3:16; 1 Yokaana 5:3.

 Katonda ajjukira buli muweereza we omwesigwa, bw’atyo n’aba ng’eyawandiika amannya gaabwe mu kitabo “okuva ku ntandikwa y’ensi.” (Okubikkulirwa 17:8) Erinnya lya Abbeeri omusajja eyali omwesigwa kirabika lye lyasooka okuwandiikibwa mu kitabo ky’obulamu. (Abebbulaniya 11:4) Yakuwa tawandiika buwandiisi mannya kujjuza lukalala, wabula ekitabo ky’obulamu kiraga nti Yakuwa Katonda alina okwagala kungi era nti “amanyi ababe.”​—2 Timoseewo 2:19; 1 Yokaana 4:8.

Amannya gasobola okusangulwa “mu kitabo ky’obulamu”?

 Yee. Katonda yagamba Abayisirayiri abaali abajeemu nti: “Buli ayonoonye mu maaso gange, gwe nja okusangula mu kitabo kyange.” (Okuva 32:33) Naye bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Katonda, amannya gaffe gajja kusigala mu “muzingo ogw’obulamu.”​—Okubikkulirwa 20:12.