Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Katonda Yakozesa Enkola ey’Ebintu Okujja nga Bifuukafuuka Okutonda Ebintu eby’Enjawulo?

Ddala Katonda Yakozesa Enkola ey’Ebintu Okujja nga Bifuukafuuka Okutonda Ebintu eby’Enjawulo?

Bayibuli ky’egamba

 Nedda. Bayibuli ekiraga bulungi nti Katonda yatonda abantu, ebisolo, era n’ebimera ‘eby’ebika’ eby’enjawulo. a (Olubereberye 1:12, 21, 25, 27; Okubikkulirwa 4:11) Ate era egamba nti abantu bonna baava mu Adamu ne Kaawa, bazadde baffe abaasooka. (Olubereberye 3:20; 4:1) Bayibuli teraga nti Katonda yatonda obulamu obw’enjawulo ng’akozesa enkola ey’ebintu okujja nga bifuukafuuka. Kyokka, Bayibuli tekontana n’ebyo bannasayansi bye bagamba nti ebiramu ebiri mu kika ekimu bisobola okuba eby’enjawulo ku binaabyo.

 Biki abantu abamu bye bakkiriza?

 Abantu abalowooza nti Katonda yakozesa enkola ey’ebintu okujja nga bifuukafuuka okutonda ebintu ebitali bimu, balina endowooza za njawulo ku ngeri gye yakikolamu. Ekitabo Encyclopædia Britannica kigamba nti, “abantu abamu abalowooza nti okuba nti ekintu ekimu kisobola okumanyiira embeera endala kye kimu ku ebyo Katonda bye yakozesa okukola ebintu ebirala.”

 Abantu abalala balina endowooza zino wammanga:

  •   Ebintu byonna ebiramu byava mu kintu kimu ekyaliwo edda ennyo.

  •   Ekiramu eky’ekika ekimu kisobola okufuukamu ekiramu eky’ekika ekirala.

  •   Enkola ezo zonna Katonda azikozesa.

 Ddala enjigiriza egamba nti ebintu byajja bifuukafuuka ekwatagana n’ekyo Bayibuli ky’eyigiriza?

 Enjigiriza egamba nti ebintu byajja bifuukafuuka eraga nti ebyo ebyogerwako mu Bayibuli mu kitabo ky’Olubereberye ebikwata ku kutonda si bituufu. Kyokka, Yesu yayogera ku ebyo ebyogerwako mu kitabo ky’Olubereberye ng’ebyafaayo ebya ddala. (Olubereberye 1:26, 27; 2:18-24; Matayo 19:4-6) Bayibuli egamba nti Yesu bwe yali tannajja ku nsi, yali abeera mu ggulu ne Katonda era yayambako Katonda mu kutonda “ebintu byonna.” (Yokaana 1:3) N’olwekyo, endowooza egamba nti Katonda yakozesa enkola ey’ebintu okujja nga bifuukafuuka okutonda ebintu ebirala ekontana n’ekyo Bayibuli ky’eyigiriza.

 Ddala obusobozi bw’ebimera n’ebisolo okumanyiira embeera endala kye kimu ku byokulabirako ebiraga nti ebintu byajja bifuukafuuka?

 Bayibuli teraga njawulo yenkana wa eyinza okubaawo wakati w’ebiramu ebiri mu kika ekimu. Ate era tekontana na bukakafu bulaga nti ebika eby’enjawulo eby’ebisolo n’ebimera Katonda bye yatonda, bisobola okuba eby’enjawulo ku binaabyo bwe bigenda byeyongera okwala oba bwe bigenda bimanyiira embeera endala. Wadde ng’abamu balowooza nti ekiramu bwe kimanyiira embeera endala kiba kifuuseemu ekirala, okumanyiira embeera endala tekivaamu kiramu kirala.

a Ebiseera ebimu bannasayansi bayinza okugamba nti ekintu ekimu kifuuse ekintu ekirala, naye ng’ekintu ekyo kyawukanye bwawukanyi ku kirala eky’ekika ekyo nga bwe kiragibwa mu kitabo ky’Olubereberye.