Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera Ki ku Kwokya Emirambo?

Bayibuli Eyogera Ki ku Kwokya Emirambo?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli teyogera butereevu ku kwokya mirambo. Ate era Bayibuli teriimu tteeka liragira kuziika oba okwokya emirambo.

 Bayibuli eyogera ku baweereza ba Katonda abaaziika abantu baabwe abaali bafudde. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu yatuuka n’okugula ekibanja eky’okuziikamu mukyala we Saala.—Olubereberye 23:2-20; 49:29-32.

 Ate era Bayibuli eyogera ku baweereza ba Katonda abaayokya ebisigalira by’abantu baabwe abaafa. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Sawulo owa Isirayiri ne batabani be abasatu bwe baafiira mu lutalo, emirambo gyabwe gyasigala mu nsi y’abalabe baabwe, era baajijolonga. Abayisirayiri bwe baakitegeera, baagenda ne bagiggyayo ne bagyokya, era ne baziika evvu. (1 Samwiri 31:8-13) Bayibuli tevumirira ekyo kye baakola.—2 Samwiri 2:4-6.

Endowooza enkyamu ezikwata ku kwokya emirambo

 Endowooza enkyamu: Okwokya omulambo kuba kugutyoboola.

 Ekituufu: Bayibuli egamba nti omuntu bw’afa adda mu nfuufu, era ekyo kye kibaawo omulambo bwe guvunda. (Olubereberye 3:19) Okwokya omulambo ne gufuuka evvu, kigwanguya bwanguya okufuuka enfuufu.

 Endowooza enkyamu: Emirambo gy’abantu abaali batakola Katonda by’ayagala gye gyayokebwanga.

 Ekituufu: Emirambo gy’abantu abamu abataali beesigwa eri Katonda, gamba nga Akani n’ab’omu maka ge, gyayokebwa. (Yoswa 7:25) Kyokka ekyo kyaliwo lwa lumu, naye teryali tteeka. (Ekyamateeka 21:22, 23) Nga bwe tulabye, emirambo gy’abaweereza ba Katonda abamu, gamba ng’ogwa Yonasaani mutabani wa Kabaka Sawulo, gyayokebwa.

 Endowooza enkyamu: Okwokya omulambo gw’omuntu kiremesa Katonda okumuzuukiza.

 Ekituufu: Katonda asobola okuzuukiza omuntu, ka kibe nti omulambo gwe gwaziikibwa, gwayokebwa, gwabulira mu nnyanja, oba gwaliibwa ensolo. (Okubikkulirwa 20:13) Omuyinza w’Ebintu Byonna asobola bulungi okutondera omuntu omubiri omuggya.—1 Abakkolinso 15:35, 38.