Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ENSI EJJUDDE EBIZIBU

2 Kozesa Bulungi Ssente Zo

2 Kozesa Bulungi Ssente Zo

LWAKI KIKULU?

Abantu bangi balina okukola ennyo okusobola okufuna ebyetaago byabwe ebya buli lunaku. Eky’ennaku, ebizibu ebiri mu nsi biyinza okukifuula ekizibu ennyo okufuna ebyetaago by’obulamu. Lwaki?

  • Ekitundu bwe kibaamu ebizibu, gamba ng’olutalo oba akatyabaga, n’essente ez’okugula emmere oba okupangisa ennyumba zeeyongera.

  • Ate era ebizibu biyinza okuviirako ebbula ly’emirimu okweyongera n’abakozi okusasulwa ssente entono ennyo.

  • Obutyabaga buyinza okusaanyaawo emirimu gy’abantu, amaka gaabwe, n’ebintu byabwe ebirala ne kibaviirako okwavuwala.

Bye Weetaaga Okumanya

  • Bw’onookozesa obulungi ssente zo, kijja kukuyamba nga waguddewo ekizibu.

  • Okuba n’eby’obugagga tekiwa muntu bukuumi bwa lubeerera. Ssente n’ebintu omuntu by’alina biyinza okugwa ebbeeyi.

  • Waliwo ebintu ssente bye zitasobola kugula, gamba ng’essanyu n’amaka agali obumu.

By’Oyinza Okukola Kati

Bayibuli egamba nti: “Bwe tunaabanga n’eby’okulya n’eby’okwambala tunaabanga bamativu n’ebyo.”​—1 Timoseewo 6:8.

Okuba omumativu kizingiramu okukendeeza ku kugula ebintu bye twagala obwagazi wabula ne tuba bamativu singa tuba ne bye twetaaga. Ekyo kikulu nnyo nnaddala ng’enfuna yaffe ekendedde.

Okusobola okuba omumativu, kiyinza okutwetaagisa okuyiga okukozesa ssente ntono. Bw’oyagala okugula ebintu ebitagya mu nfuna yo, oba weeyongerako bweyongezi bizibu.