Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ZUUKUKA Na. 1 2022 | Ensi Ejjudde Ebizibu​—Oyinza Otya Okubigumira?

Ebizibu byeyongedde nnyo mu nsi era ffenna tutuukibwako ebizibu ebitali bimu, gamba ng’obutyabaga oba ebizibu ebirala abantu bye baleeta. Manya engeri gy’oyinza okugumira ebizibu by’ofuna, era n’engeri ggwe n’ab’omu maka go gye muyinza okwewala okutuukibwako ebizibu ebimu.

 

Ensi Ejjudde Ebizibu—Oyinza Otya Okubigumira?

Akatyabaga bwe kagwawo, fuba okulaba ng’otaasa obulamu bwo n’obw’ab’omu maka go.

1 Kuuma Obulamu Bwo

Bw’ofaayo ku bulamu bwo kikuyamba okwaŋŋanga embeera enzibu.

2 Kozesa Bulungi Ssente Zo

Okukozesa obulungi ssente kiyinza okukuyamba nga waguddewo akatyabaga.

3 Nyweza Enkolagana Yo n’Abalala

Laba ebintu ebiyinza okukuyamba okunyweza obufumbo bwo n’enkolagana gy’olina ne mikwano gyo n’abaana bo.

4 Nyweza Essuubi ly’Olina

Bayibuli etuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo era etuyamba okuba n’essuubi.

Ebiri mu Magazini Eno eya Zuukuka!

Soma ebitundu ebiyinza okukuyamba n’ab’omu maka go okugumira ebizibu ebiri mu nsi.