Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | ABAVUBUKA

Tossa Bulamu mu Kabi olw’Okwagala Okukolawo eky’Enjawulo

Tossa Bulamu mu Kabi olw’Okwagala Okukolawo eky’Enjawulo

EMBEERA

“Nnayimirira okumpi n’eggaali y’omukka eyali edduka ku sipiidi ey’amaanyi ennyo era bwe yali eyitawo nnawulira bulungi nnyo.”​—Leon. *

“Bwe nnasinziiranga waggulu ku kigulumu ekiwanvu ennyo ne mbuuka ne nnebbika mu mazzi, mu kaseera ako nnawuliranga bulungi nnyo. Emirundi mingi nnanyumirwanga nnyo, naye oluusi nnafunanga ensisi.”​—Larissa.

Okufaananako Leon ne Larissa, abavubuka bangi baagala okwesanyusaamu nga babaako ekintu eky’enjawulo kye bakola era ng’emirundi mingi bassa obulamu bwabwe mu kabi. Naawe owulira ng’oyagala okukolawo ekintu eky’enjawulo? Bwe kiba kityo ekitundu kino kijja kukuyamba nnyo.

KY’OSAANIDDE OKUMANYA

Okwagala okwesanyusaamu ng’okolawo eky’enjawulo guyinza okufuuka omuze. Mu kaseera ako ng’okola ekintu ekyo oyinza okuwulira essanyu lingi, naye bw’omala okukikola owulira ng’oyagala okukola ekisingawo. Marco era naye eyagendanga n’ayimirira okumpi n’eggaali y’omuka agamba nti: “Gwanfuukira omuze. Nnafunanga essanyu mu kaseera ako ng’eggaali y’omukka empitako, naye bwe yamalanga okumpitako nnayagalanga eddemu empiteko.”

Justin eyayambalanga engatto eziriko obupiira ne yeekwata ku mmotoka ezidduka ennyo, agamba nti: “Essanyu lye nnafunanga lyandeeteranga okwagala okuddamu okukola ekintu ekyo buli kiseera. Nnayagalanga abantu bandabe, naye nnasibira mu ddwaliro.”

Okupikirizibwa kuyinza okukuleetera obutalowooza. Omuvubuka ayitibwa Marvin agamba nti: “Mikwano gyange gyampikiriza okulinnya ekizimbe ekiwanvu nga bwe giŋŋamba nti: ‘Linnya. Weeyongere okwambuka. Ojja kumalako.’ Nnali ndaba ng’obulamu bwange buli mu kabi era nnalinnya nkankana.” Larissa ayogeddwako waggulu agamba nti: “Nnagobereranga mikwano gyange. Kye baakolanga nange kye nnakolanga.”

Abantu abamu bakozesa Intaneeti okupikiriza abalala. Batendereza abantu abassa obulamu bwabwe mu kabi olw’okwagala okukolawo ekintu eky’enjawulo era teboogera ku mitawaana egiri mu kukola ekintu ekyo. Ebyo ebiteekebwa ku Intaneeti bisaasaana mangu ne kiviirako abantu abateeka obulamu bwabwe mu kabi okututumuka.

Ng’ekyokulabirako, ezimu ku vidiyo eziteekebwa ku Intaneeti ziraga abantu abawalampa ebizimbe ebiwanvu ennyo oba ababuuka amadaala nga tebalina kintu kyonna kisobola kubayamba butafuna buvune. Kino kisobola okuleetera oyo aba alaba vidiyo ezo okulowooza nti: (1) Ebintu ebyo tebiriimu kabi ka maanyi. (2) Buli muntu akola ebintu ebyo. Kiki ekiyinza okuvaamu? Naye ayinza okwagala okugezaako okukola ebintu ebyo eby’obulabe.

Osobola okumanya obusobozi bwo we bukoma nga totadde bulamu bwo mu kabi. Bayibuli egamba nti: “Okutendeka omubiri kugasa.” (1 Timoseewo 4:8) Kyokka era etukubiriza “okubeeranga n’endowooza ennuŋŋamu.” (Tito 2:12) Ekyo oyinza kukikola otya?

BY’OYINZA OKUKOLA

Lowooza ku kabi akalimu. Bayibuli egamba nti: “Omuntu omutegeevu yeeyisa mu ngeri ey’amagezi, naye omusirusiru ayolesa obusirusiru bwe.” (Engero 13:16) Nga tonnakola kintu kyonna sooka olowooze ku kabi akalimu. Weebuuze, ‘Okwenyigira mu kintu kino kiyinza okunviirako okufiirwa obulamu bwange oba okufuna ebisago eby’amaanyi?’​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 14:15.

Londa emikwano egissa ekitiibwa mu bulamu. Emikwano emirungi tegikugamba kukola bintu bissa bulamu bwo mu kabi era tegikusendasenda kukola bintu by’otoyagala kukola. Larissa agamba nti: “Emikwano emirungi gyannyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi ku bintu bye nnakolanga. Mukwano gwange bwe yatandikanga okweyisa mu ngeri etali ya magezi, nga mmuvaako.”​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 13:20.

Weebuuze, ‘Okwenyigira mu kintu kino kiyinza okunviirako okufiirwa obulamu bwange oba okufuna ebisago eby’amaanyi?’

Kozesa ebitone by’olina awatali kussa bulamu bwo mu kabi. Ekitabo ekiyitibwa Adolescent Risk Behaviors kigamba nti “egimu ku mitendera omuntu gy’ayitamu ng’akula kwe kusalawo emitindo kw’anaatambuliza obulamu bwe n’okumanya ekkomo lye.” Osobola okumanya obusobozi bwo we bukoma nga weegezeseza mu bifo ebitali bya bulabe era ng’okozesa ebintu ebikuyamba obutatuukibwako kabi. Era kiba kikulu okugoberera obulagirizi obukuyamba okwewala obubenje.

Weewe ekitiibwa. Ekireetera abantu okukussaamu ekitiibwa si kwe kukola ebintu ebiteeka obulamu bwo mu kabi wabula kwe kulaba engeri ey’amagezi gy’okwatamu embeera enzibu z’oyolekagana nazo mu bulamu. Larissa agamba nti: “Okubuuka okuva ku kigulumu ne ngwa mu mazzi ye yali entandikwa y’okukola ebintu ebitali bimu ebyakosa obulamu bwange. Singa nneewala okutwalirizibwa okupikirizibwa, nnandibadde mpona ebizibu bingi.”

Eky’okuyiga: Mu kifo ky’okussa obulamu bwo mu kabi olw’okwagala okukolawo eky’enjawulo, salawo mu ngeri ey’amagezi ng’olonda engeri gy’oneesanyusaamu.​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 15:24.

^ lup. 4 Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.