Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli ky’Egamba

Bayibuli ky’Egamba

“Bino bye byafaayo by’eggulu n’ensi mu kiseera we byatonderwa.” (Olubereberye 2:4) Mu bigambo ebyo, Bayibuli etubuulira engeri ensi gye yajjawo. Ebyo Bayibuli by’egamba bikwatagana n’ebyo bannassaayansi bye bazudde? Ka tulabe.

Ku Lubereberye: Eggulu n’ensi bitondebwa

Ensi n’obwengula bibaddengawo ekiseera kyonna?

Olubereberye 1:1 wagamba nti: “Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.”

Ng’emyaka gya 1950 teginnatuuka, bannassaayansi bangi baali bagamba nti ensi n’obwengula bibaddengawo ekiseera kyonna. Naye okusinziira ku bizuuliddwa, bannassaayansi bangi kati bakkiriza nti ensi n’obwengula birina entandikwa.

Ensi yali efaanana etya mu kusooka?

Olubereberye 1:2, 9 walaga nti ensi bwe yali yaakatondebwa, “yali yeetabuddetabudde era nga njereere,” ng’ejjudde mazzi.

Bannassaayansi bye bazudde bikkiriziganya n’ebigambo ebyo. Munnassaayansi ayitibwa Patrick Shih yagamba nti ensi we yasookera okubaawo, “teyaliimu mukka gwa oxygen . . . era ng’erabika bubi.” Magazini emu ekwata ku by’omu bwengula egamba nti: “Okunoonyereza okwakakolebwa kulaga nti mu kusooka ensi yali ejjudde mazzi era nga kyenkana tewaaliwo lukalu.”

Nkyukakyuka ki eyaliwo mu bbanga eryetoolodde ensi?

Olubereberye 1:3-5 wagamba nti ekitangaala ekitonotono we kyasookera okutuuka ku nsi, ensibuko y’ekitangaala ekyo yali tesobola kulabibwa ku nsi. Waayitawo ekiseera enjuba n’omwezi ne biryoka biba nga bisobola okulabibwa obulungi ku nsi.​—Olubereberye 1:14-18.

Bayibuli tegamba nti ebintu byonna ebiri ku nsi ne mu bwengula byatondebwa mu nnaku mukaaga zokka ez’essaawa 24

Ekitongole ekimu eky’omu Amerika ekinoonyereza ku mbeera y’obudde kyagamba nti mu kusooka ekitangaala kyali tekisobola kutuuka bulungi ku nsi kubanga “waaliwo olufu olwali luziyiza ekitangaala okutuuka obulungi ku nsi. Oluvannyuma olufu olwo lwaggwaawo, eggulu erya bbulu ne lirabika.”

Ebintu byatondebwa mu mitendera ki ku nsi?

Olubereberye 1:20-27 wagamba nti ebyennyanja, ebinyonyi, ensolo, bye byasooka okutondebwa oluvannyuma abantu ne balyoka batondebwa. Bannassaayansi nabo bagamba nti ebyennyanja bye byasooka okubaawo, oluvannyuma ensolo ne zibaawo, era abantu baabaawo luvannyuma nnyo.

Bayibuli tegamba nti ebintu ebiramu tebisobola kukyukamuko mu nfaanana yaabyo oluvannyuma lw’ekiseera

Kiki Bayibuli ky’Etagamba?

Abantu abamu bagamba nti Bayibuli tekwatagana n’ebyo bannassaayansi bye bazudde. Kyokka abagamba bwe batyo baba tebategeera bulungi ekyo kyennyini Bayibuli ky’egamba.

Bayibuli tegamba nti ensi n’obwengula bibaddewo okumala emyaka 6,000 gyokka. Mu kifo ky’ekyo, egamba nti ensi n’obwengula byatondebwa “ku lubereberye.” (Olubereberye 1:1) Bayibuli teraga buwanvu bwa kiseera ekyo.

Bayibuli tegamba nti ebintu byonna ebiri ku nsi ne mu bwengula byatondebwa mu nnaku mukaaga zokka ez’essaawa 24. Mu kifo ky’ekyo, oluusi Bayibuli ekozesa ekigambo “olunaku” okutegeeza ebiseera ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, eraga nti okutondebwa kw’ebintu byonna ebiri ku nsi mu ‘nnaku’ omukaaga ez’okutonda ezoogerwako mu Olubereberye essuula 1, kwaliwo “ku lunaku Yakuwa a Katonda lwe yatonderako ensi n’eggulu.” (Olubereberye 2:4) N’olwekyo, buli lumu ku “nnaku” omukaaga Katonda ze yamala ng’atonda ebintu ku nsi ne mu bwengula kiyinza okuba nga kyali kiseera kiwanvu ddala.

Bayibuli tegamba nti ebintu ebiramu tebisobola kukyukamuko mu nfaanana yaabyo oluvannyuma lw’ekiseera. Ekitabo ky’Olubereberye kigamba nti ensolo zaatondebwa “okusinziira ku bika byazo.” (Olubereberye 1:24, 25) Ekigambo “ebika” kiraga nti ebintu eby’ekika ekimu biyinza okubaamu ebika ebirala eby’enjawulo. Ebigambo ebyo era biraga nti ebintu ‘eby’ekika’ ekimu ebiri mu kitundu kye kimu biyinza okubaamuko enkyukakyuka oluvannyuma lw’ekiseera.

Olowooza otya?

Nga bwe tulabye, Bayibuli ennyonnyola mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi, engeri ensi n’obwengula gye byajjawo, engeri ensi gye yali erabikamu mu kusooka, era n’engeri ebintu ebiramu gye byajjawo. Kyandiba nti Bayibuli etubuulira mazima bw’egamba nti waliwo eyatonda ebintu ebyo? Ekitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica kigamba nti: “Eky’okuba nti ensi n’obwengula tebyajjawo byokka, kikwatagana bulungi n’ebyo abanoonyereza bye bazudde.” b

a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.

b Ekitabo Encyclopædia Britannica tekiwagira kya kuba nti ebintu byatondebwa.