Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI KY’EGAMBA | OKUKKIRIZA

Faith

Faith

Abantu abamu abanyiikivu mu ddiini kibazibuwalira okutegeera amakulu g’ekigambo “okukkiriza.” Okukkiriza kye ki, era lwaki kikulu okuba n’okukkiriza?

Okukkiriza kye ki?

ABANTU ABAMU KYE BAGAMBA

Abantu abasinga obungi balowooza nti omuntu alina okukkiriza amala gakkiriza ekintu wadde nga talina bukakafu lwaki akikkiririzaamu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku muntu agamba nti, “Nzikiririza mu Katonda.” Omuntu oyo bw’omubuuza nti, “Lwaki okkiririza mu Katonda?” ayinza okukuddamu nti, “Nkuze baŋŋamba nti Katonda gyali” oba nti, “Ekyo bulijjo kye bazze banjigiriza.” Omuntu oyo taba na njawulo na muntu ateerowooleza.

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Okukkiriza bwe butaba na kubuusabuusa kwonna nti ky’osuubira kijja kutuukirira, bwe bukakafu obulaga nti ky’okkiriza ddala gye kiri wadde nga tekirabika.” (Abebbulaniya 11:1) Omuntu obutaba na kubuusabuusa kwonna mu ekyo ky’asuubira, alina okuba ng’alina ensonga ey’amaanyi kw’asinziira okukisuubira. Mu butuufu, mu lulimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa, ebigambo ‘obutaba na kubuusabuusa’ birina amakulu agasingawo ku nneewulira omuntu gy’aba nayo ku kintu ky’asuubira. Bizingiramu okuba n’obukakafu ku kintu.

“Engeri [za Katonda] ezitalabika, kwe kugamba, amaanyi ge agataggwaawo n’Obwakatonda bwe, zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyatondebwa.”Abaruumi 1:20.

Lwaki kikulu okuba n’okukkiriza?

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Awatali kukkiriza tekisoboka kusanyusa Katonda, kubanga oyo atuukirira Katonda ateekwa okukkiriza nti gyali era nti y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.”Abebbulaniya 11:6.

Nga bwe tulabye, abantu bangi bakkiririza mu Katonda olw’okuba baabagamba okumukkiririzaamu. Bayinza okugamba nti, ‘Ekyo kye banjigiriza.’ Naye Katonda ayagala abo abamusinza bakakasize ddala nti gyali era nti ayagala abantu. Eyo y’emu ku nsonga lwaki Bayibuli etugamba okufuba okunoonya Katonda, tusobole okumumanya obulungi.

“Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”Yakobo 4:8.

Oyinza otya okufuna okukkiriza?

BAYIBULI KY’EGAMBA

Bayibuli egamba nti: “Okukkiriza kufunibwa oluvannyuma lw’okuwulira.” (Abaruumi 10:17) N’olwekyo, ekintu ekisooka omuntu ky’alina okukola okusobola okufuna okukkiriza kwe ‘kuwulira’ ebyo Bayibuli by’eyigiriza ku Katonda. (2 Timoseewo 3:16) Okuyiga Bayibuli kisobola okukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu nga bino: Katonda y’ani? Kiki ekikakasa nti gyali? Ddala Katonda anfaako? Kiki Katonda ky’agenda okukola mu biseera eby’omu maaso?

Waliwo obukakafu bungi obulaga nti Katonda gyali

Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyigiriza ebyo ebiri mu Bayibuli. Nga bwe kiragibwa ku mukutu gwaffe, jw.org, “Abajulirwa ba Yakuwa baagala nnyo okuyigiriza abantu Bayibuli, naye tebawaliriza muntu n’omu kufuuka Mujulirwa wa Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, balaga abantu ebyo Bayibuli by’eyigiriza, nga bakimanyi nti buli muntu alina eddembe okwesalirawo ekyo ky’anakkiriza.”

Ensonga enkulu eri nti, okukkiriza kw’olina kulina okuba nga kwesigamiziddwa ku bukakafu bw’ofuna nga weekenneenya n’obwegendereza ebyo ebiri mu Bayibuli. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba okoppye abantu abaaliwo mu kyasa ekyasooka ‘abakkiriza amangu ekigambo, era buli lunaku ne beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa okulaba obanga ebyo bye baali bawulira byali bituufu.’Ebikolwa 17:11.

“Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”Yokaana 17:3.