Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | YUSUFU

“Nze Ndi mu Kifo kya Katonda?”

“Nze Ndi mu Kifo kya Katonda?”

YUSUFU yali mu nnimiro ye mu kiseera eky’akawungeezi. Oboolyawo yali atunuulira emiti gy’ebibala egitali gimu, ebidiba ebirimu ebimera, era ku luuyi olulala ng’alengera olubiri lwa Falaawo. Kuba akafaananyi nga Yusufu awulira amaloboozi ga batabani be abali mu nnyumba. Kirabika mutabani we Efulayimu omuwere yali aseka olw’okuba mukulu we Manase yali amunyonyogera. Yusufu yakuba akafaananyi nga mukyala we amwenya olw’engeri batabani baabwe gye baali bazannyamu. Yusufu naye yamwenya. Yali akimanyi nti Yakuwa amuwadde emikisa.

Yusufu yatuuma mutabani we omubereberye erinnya Manase kubanga litegeeza eyeerabiza. (Olubereberye 41:51) Yusufu yabudaabudibwa nnyo olw’emikisa Katonda gye yamuwa, n’alekera awo okunakuwala olwa kitaawe n’olw’engeri baganda be gye baamuyisaamu. Olw’okuba baganda be baali tebamwagala, baagezaako okumutta naye oluvannyuma ne bamuguza abasuubuzi abeere muddu. Okuva olwo, obulamu bwe bwakyuka nnyo era yafuna ebizibu ebitali bimu. Okumala emyaka nga 12, yali muddu era yasibibwa mu kkomera—yatuuka n’okusibibwa enjegere okumala akaseera. Naye kati ye yali addirira Falaawo mu buyinza mu ggwanga kirimaanyi erya Misiri! *

Okumala emyaka mingi, Yusufu yalaba ebintu nga bigenda bituukirira nga Yakuwa bwe yagamba. Ensi y’e Misiri yali mu myaka omusanvu egy’ekyengera egyalagulwa era Yusufu yali alabiridde omulimu gw’okukuŋŋaanya n’okutereka emmere mu nsi eyo. Mu kiseera ekyo, Asenaasi mukyala wa Yusufu yali amuzaalidde abaana babiri. Wadde kyali kityo, Yusufu yalowoozanga nnyo ku b’omu nnyumba ya kitaawe abaali babeera ewala ennyo—nnaddala muto we, Benyamini, ne Yakobo kitaabwe gwe baali baagala ennyo. Kirabika Yusufu yeebuuzanga embeera gye balimu. Era kirabika yeebuuzanga oba baganda be baali bakyusizza enneeyisa yaabwe, era oba yandisobodde okuzzaawo emirembe n’addamu okukolagana obulungi n’ab’ewaabwe.

Bwe kiba nti emirembe gy’omu maka gammwe gyatabangulwa olw’abamu okuba n’obuggya, obukyayi, n’okuba ab’enkwe, embeera gy’olimu efaananako n’eyo Yusufu gye yalimu. Biki bye tuyigira ku ngeri Yusufu gye yayolekamu okukkiriza ng’alabirira ab’ewaabwe?

“MUGENDENGA ERI YUSUFU”

Olw’okuba Yusufu yalina eby’okukola bingi, emyaka egy’ekyengera gyaggwaako mangu. Nga Yakuwa bwe yalaga mu kirooto kye yaloosa Falaawo, omwaka ogw’omusanvu ogw’ekyengera bwe gwaggwaako, waabaawo enkyukakyuka ey’amaanyi. Ebirime byafa, era mu kaseera katono enjala yagwa mu nsi zonna ezaali ziriraanyeewo. Naye Bayibuli egamba nti “mu nsi yonna ey’e Misiri emmere nga mweri.” (Olubereberye 41:54) Tewali kubuusabuusa nti Yusufu okwogera amakulu g’ekirooto n’okukola enteekateeka ennungi ey’okutereka emmere byaganyula nnyo Abamisiri.

Olw’okuba Yusufu yali muwombeefu, yali wa mugaso eri Yakuwa

Kirabika Abamisiri baali baagala nnyo Yusufu era nga bamutendereza olw’enteekateeka ennungi ze yali akola. Wadde kyali kityo, Yusufu yali ayagala ekitiibwa n’ettendo biweebwe Yakuwa Katonda we. Bwe tukozesa ebitone bye tulina okuweereza Katonda waffe, ayinza okutuyamba okubikozesa mu ngeri esinga ku eyo gye tubadde tulowooza.

Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, enjala yagwa ne mu Misiri. Abamisiri bwe baakaabira Falaawo abayambe, yabagamba nti: “Mugendenga eri Yusufu; by’anaabagambanga mukolenga bwe mutyo.” Yusufu yaggulawo amawanika g’emmere, abantu ne batandika okugula emmere gye baabanga beetaaga.Olubereberye 41:55, 56.

Kyokka mu nsi eziriraanyeewo abantu tebaalina mmere. Mu Kanani, Yusufu gye yali ava, ab’ewaabwe baali babonaabona olw’enjala. Yakobo eyali akaddiye bwe yawulira nti mu Misiri waliyo emmere, yatuma batabani be bagende baguleyo ku mmere.Olubereberye 42:1, 2.

Yakobo yatuma batabani be 10, naye Benyamini eyali asembayo obuto teyagenda nabo. Yakobo yali akyajjukira bulungi ekiseera lwe yatuma Yusufu gwe yali ayagala ennyo, okugenda okulaba baganda be. Olwo lwe lunaku Yakobo lwe yasembayo okulaba Yusufu. Batabani be abakulu baamuleetera ekyambalo kya Yusufu—kitaawe kye yamugulira olw’okuba yali amwagala nnyo—nga kiyuziddwayuziddwa era nga kijjudde omusaayi. Baaletera Yakobo okulowooza nti ensolo enkambwe zaali ziridde mutabani we Yusufu.Olubereberye 37:31-35.

AMANGU AGO “YUSUFU N’AJJUKIRA”

Oluvannyuma lw’okutambula olugendo oluwanvu, batabani ba Yakobo baatuuka e Misiri. Bwe baabuuza aw’okugula emmere, baabalagirira eri omukungu ayitibwa Zafena-sipaneya. (Olubereberye 41:45) Bwe baamulaba, baakitegeera nti ye Yusufu? Nedda. Baamutwala butwazi ng’omukungu Omumisiri gwe baali baagala abayambe. Okulaga nti bamussaamu ekitiibwa, ‘baamuvunnamira nga bawunzise amaaso wansi.’Olubereberye 42:5, 6.

Ye Yusufu yali akyajjukira baganda be? Yusufu olwabalaba, yabategeererawo! N’ekirala, bwe yalaba nga bamuvunnamira, yajjukira ebyaliwo ng’akyali muto. Bayibuli egamba nti “Yusufu n’ajjukira ebirooto” Yakuwa bye yamuloosa ng’akyali muto, ebyali biraga nti ekiseera kyandituuse baganda be ne bamuvunnamira, era bwe kityo bwe kyali! (Olubereberye 37:2, 5-9; 42:7, 9) Kati kiki Yusufu kye yandikoze? Yandibeesasuzza oba yandibagudde mu kifuba?

Yusufu yali akimanyi nti tasaanidde kukola baganda be kintu kyonna kibi. Yakuwa ye yaleetawo enkyukakyuka ezo kubanga zaali zikwata ku kigendererwa kye. Yali yasuubiza okufuula ezzadde lya Yakobo eggwanga eddene. (Olubereberye 35:11, 12) Singa baganda ba Yusufu baali bakyali bakambwe, nga beefaako bokka, era nga si beesigwa, ekigendererwa ekyo tekyandituukiridde. Ate era singa Yusufu naye yeeyisa bubi, oboolyawo kyandyonoonye enkolagana eyaliwo wakati wa baganda be ne kitaabwe oba ne muto waabwe Benyamini. Kitaawe ne Benyamini bo baali bakyali balamu? Yusufu yasalawo obuteemanyisa eri baganda be asobole okubagezesa alabe obanga baali bakyusizza enneeyisa yaabwe. Oluvannyuma yandisobodde okumanya ekyo Yakuwa ky’ayagala akole.

Oboolyawo ggwe oyinza obutaba mu mbeera ng’eyo. Naye, leero amaka mangi galimu obukuubagano n’enjawukana. Bwe tuba mu maka ng’ago, tuyinza okwesanga nga tukoze ekyo omutima gwaffe kye gutugamba. Mu kifo ky’ekyo, kiba kirungi okukoppa Yusufu nga tufuba okumanya ekyo Katonda ky’ayagala tukole. (Engero 14:12) Kijjukire nti nga bwe kiri ekikulu okuleetawo emirembe nga tukolagana n’ab’omu maka gaffe, kikulu nnyo okuba mu mirembe ne Yakuwa era n’Omwana we.Matayo 10:37.

“MUGENDA KUGEZESEBWA”

Yusufu yatandika okugezesa baganda be mu ngeri ez’enjawulo asobole okutegeerera ddala ekiri mu mitima gyabwe. Ng’akozesa omuvvuunuzi, yayogera nabo mu ngeri ey’obukambwe ng’abalumiriza okuba abakessi. Nga beewozaako, baamubuulira ebikwata ku maka gye baali bavudde era ne bamutegeeza nti baalina ne muganda waabwe omuto eyali asigaddeyo. Yusufu teyabalaga nti bye baali bamugambye byali bimusanyusizza. Ddala muto we yali akyali mulamu? Yusufu yamanya ky’alina okuzzaako. Yabagamba nti: “Mulikemebwa [“mugenda kugezesebwa” NW ] ,” era nti ateekwa okulaba muganda waabwe eyali asigaddeyo. Oluvannyuma yabakkiriza baddeyo ewaabwe baleete muganda waabwe omuto, naye omu ku bo yalina okusigala e Misiri ng’asibiddwa.Olubereberye 42:9-20.

Baganda be baatandika okwogera ku nsobi ey’amaanyi gye baakola emyaka 20 emabega, kyokka nga tebamanyi nti Yusufu ayinza okutegeera bye boogera. Baagamba nti: “Mazima tuliko omusango olwa muganda waffe, kubanga twalaba emmeeme ye bwe yanakuwala, bwe yatwegayirira, naffe ne tugaana okuwulira; ennaku zino kye zivudde zitutuukako.” Yusufu yategeera bye baali boogera era yadda ebbali baleme kumulaba ng’akaaba. (Olubereberye 42:21-24) Wadde kyali kityo, yali akimanyi nti omuntu okwenenya mu bwesimbu kisingawo ku kunakuwala olw’ebyo ebiba bivudde mu kibi ky’aba akoze. N’olwekyo, yeeyongera okubagezesa.

Yabaleka ne baddayo ewaabwe naye n’asigaza Simyoni nga musibe. Ate era yalagira omuwanika we n’ateeka ssente zaabwe mu nsawo ezaalimu emmere gye baali batwala. Baddayo ewaabwe era wadde tekyali kyangu, baamatiza Yakobo n’abakkiriza okutwala Benyamini e Misiri. Bwe baatuuka e Misiri, baategeeza omuwanika wa Yusufu nti baasanga ssente mu nsawo zaabwe ez’emmere era ne bamugamba nti zonna bazikomezzaawo. Wadde ng’ekyo kyali kirungi, Yusufu yali akyagala okubagezesa. Yabategekera ekijjulo, naye yafuba obutabalaga nti yali akwatiddwako olw’okulaba Benyamini. Oluvannyuma yabawa emmere era n’abasiibula, naye ku luno yalagira omuwanika n’ateeka ekikopo ekya ffeeza mu nsawo ya Benyamini.Olubereberye 42:26–44:2.

Omutego gwa Yusufu gwakwasa. Baganda be baawonderwa era ne bakwatibwa nga bavunaanibwa ogw’okubba ekikopo. Bwe kyasangibwa mu nsawo ya Benyamini, bonna baakomezebwawo eri Yusufu. Kati Yusufu yali afunye akakisa okutegeera obulungi ekyo baganda be kye bali. Yuda ye yayogerera baganda be. Yeegayirira basaasirwe era n’agamba nti bonna 11 bafuuke baddu e Misiri. Yusufu yagamba nti Benyamini ateekwa okusigala e Misiri ng’omuddu naye abalala baddeyo ewaabwe.Olubereberye 44:2-17.

Yuda yamuddamu nti: ‘Y’asigaddewo yekka ku baana ba nnyina, era kitaawe amwagala nnyo.’ Yusufu ateekwa okuba nga yakwatibwako nnyo olw’ebigambo ebyo kubanga ye yali omwana omukulu Laakeeri gwe yazaalira Yakobo. Eky’ennaku, Laakeeri yafa ng’azaala Benyamini. Okufaananako kitaawe, Yusufu ateekwa okuba nga naye yali ayagala nnyo Laakeeri. Ekyo kiteekwa okuba nga kyaleetera Yusufu okwagala ennyo Benyamini.Olubereberye 35:18-20; 44:20.

Yuda yeeyongera okwegayirira Yusufu obutasigaza Benyamini. Yatuuka n’okwewaayo ye afuuke omuddu mu kifo kya Benyamini. Yamaliriza agamba nti: ‘Ndyambuka ntya eri kitange, ng’omulenzi tali wamu nange? [Siyinza kugumira] kulaba kabi akalituuka ku kitange.’ (Olubereberye 44: 18-34) Bino byonna byalaga nti Yuda yali akoze enkyukakyuka mu nneeyisa ye. Ng’oggyeeko okulaga nti yali yeenenyezza, era yalaga nti musaasizi, afaayo ku balala, era abalumirirwa.

Yusufu yakiraba nti baganda be baali bejjusa olw’ebyo bye baamukola

Yusufu yali takyayinza kusiba maziga. Yagamba abaweereza be bonna okuvaawo era n’akaaba nnyo n’ab’omu lubiri lwa Falaawo ne bawulira. Oluvannyuma yagamba baganda nti: “Nze Yusufu muganda wammwe.” Baganda be baatya nnyo, naye yabagwa mu bifuba era n’abasonyiwa ebyo byonna bye baamukola. (Olubereberye 45:1-15) Yusufu yayoleka endowooza ya Yakuwa, Katonda omwetegefu okusonyiwa. (Zabbuli 86:5) Naffe tuli beetegefu okusonyiwa abalala?

“OKYALI MULAMU”!

Falaawo bwe yawulira ebyali bibaddewo mu nnyumba ya Yusufu, yagamba Yusufu aleete kitaawe e Misiri n’ab’omu maka ge bonna. Oluvannyuma lw’akaseera katono, Yusufu yaddamu okulaba kitaawe gwe yali ayagala ennyo. Yakobo yakaaba era n’agamba nti: “Kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go, ng’okyali mulamu.”Olubereberye 45:16-28; 46:29, 30.

Naye Yakobo yabeera e Misiri okumala emyaka 17, era eyo gye yayogerera obunnabbi obukwata ku batabani be 12. Yakobo yawa Yusufu, mutabani we owa 11, emigabo ebiri egyaweebwanga omwana omubereberye. Ebika bya Isiraeri bibiri byandivudde mu Yusufu. Ate ye Yuda mutabani we ow’okuna, eyasinga baganda be bonna okulaga nti yali yeenenyezza? Yafuna omukisa ogw’amaanyi ennyo: Masiya yandivudde mu lunyiriri lwe!Olubereberye, essuula 48, 49.

Yakobo we yafiira yalina emyaka 147. Oluvannyuma baganda ba Yusufu baatya nga balowooza nti muganda waabwe oyo eyalina obuyinza yali agenda kubeesasuza. Naye Yusufu yabagumya ng’abategeeza nti kyali kigendererwa kya Yakuwa amaka ga kitaabwe okujja e Misiri era nti tebaalina kuwulira bubi olw’ebyo ebyali bibaddewo. Era yagattako ekibuuzo kino: “Nze ndi mu kifo kya Katonda?” (Olubereberye 15:13; 45:7, 8; 50:15-21) Yusufu yali amanyi nti Yakuwa ye mulamuzi atuukiridde, era Yusufu yali tayinza kubonereza abo Katonda be yali asonyiye.Abebbulaniya 10:30.

Kikuzibuwalira okusonyiwa? Kiyinza okuba ekizibu ennyo naddala ng’omuntu atukoze ekintu ekibi mu bugenderevu. Naye abo ababa beenenyezza mu bwesimbu bwe tubasonyiwa okuviira ddala ku mutima, tujja kwewala ebizibu bingi. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kuba tukoppa Yusufu ne Yakuwa, Kitaffe ow’ekisa.

^ lup. 4 Laba ekitundu “Koppa Okukkiriza Kwabwe” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 1, 2014; Noovemba 1, 2014; ne Febwali 1, 2015.