Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Okubeera Kiggala Tekinnemesezza Kuyigiriza Balala

Okubeera Kiggala Tekinnemesezza Kuyigiriza Balala

Nnabatizibwa mu 1941 nga ndi wa myaka 12. Naye amazima nnatandika okugategeera obulungi mu mwaka gwa 1946. Lwaki kyali bwe kityo? Ka mbabuulire.

MU MYAKA gya 1910, bazadde bange baasenguka okuva mu kibuga Tbilisi ekya Georgia ne bagenda mu Canada, mu kitundu ekyali okumpi n’ekyalo Pelly mu ssaza ly’e Saskatchewan. Nnazaalibwa mu 1928, era nze nnali nsingayo obuto mu baana omukaaga bazadde bange be baazaala. Taata yafa ng’ebula emyezi mukaaga nzaalibwe, ate maama n’afa nga nkyali muto ddala. Nga wayise ekiseera mwannyinaze omukulu Lucy, yafa nga wa myaka 17 gyokka. Oluvannyuma Kojja Nick yatutwala nze ne baganda bange okubeera ewuwe.

Lumu, bwe nnali nga nkyali muto, ab’eka bandaba nga nsika omukira gw’embalaasi. Olw’okuba baatya nnyo nga balowooza nti embalaasi yali egenda kunsamba, baaleekanira waggulu nga baŋŋamba ngite, naye sirina kye nnakolawo. Nnali mbakubye omugongo era saabawulira. Ekirungi embalaasi eyo terina kye yankola, naye ku olwo ab’eka lwe baakimanya nti ndi kiggala.

Omusajja omu eyali mukwano gwaffe yawa ab’eka amagezi bantwale mu ssomero lya bakiggala. Bwe kityo, Kojja Nick yantwala mu ssomero lya bakiggala eryali mu kibuga Saskatoon eky’omu Saskatchewan. Olw’okuba essomero eryo lyali wala okuva awaka, ate nga nnali wa myaka etaano gyokka, kyantiisa nnyo. Eka nnagendangayo mu luwummula lwokka. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnayiga olulimi lwa bakiggala era nnanyumirwanga nnyo okuzannya n’abaana abalala.

NJIGA AMAZIMA

Mu 1939, mwannyinaze Marion yafumbirwa Bill Danylchuck era ne batutwala nze ne mwannyinaze omulala ayitibwa Frances mu maka gaabwe. Marion ne Bill be b’eŋŋanda zaffe abaasooka okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Mu biseera by’oluwummula, baakolanga kyonna ekisoboka okunjigiriza ebyo bye baali bayiga mu Bayibuli. Emirundi mingi saategeeranga bye baŋŋamba, olw’okuba baali tebamanyi lulimi lwa bakiggala. Naye baakiraba nti nnali njala nnyo okuyiga ebikwata ku Katonda. Nnakiraba nti waaliwo akakwate wakati w’ebyo bye baali bakola n’ebyo ebiri mu Bayibuli, era nnagendanga nabo nga bagenda okubuulira. Waayita ekiseera kitono ne njagala okubatizibwa, era nga Ssebutemba 5, 1941, Bill yambatiriza mu kipipa ekyali kijjudde amazzi agaali gannyogoga ennyo!

Nga ndi n’ab’oluganda abalala bakiggala ku lukuŋŋaana olunene mu Cleveland, Ohio, mu 1946

Mu 1946 bwe nnali nkomyeewo awaka mu luwummula, twagenda ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Cleveland, Ohio, Amerika. Ku lunaku olwasooka olw’olukuŋŋaana olwo, bannyinaze baafuba okubaako bye bampandiikira nsobole okuganyulwa mu ebyo ebyali biyigirizibwa. Kyokka ku lunaku olw’okubiri, kyansanyusa nnyo okukimanya nti waaliwo ow’oluganda eyali ataputira bakiggala abaali ku lukuŋŋaana olwo era nange nnabeegattako. Nnanyumirwa nnyo programu, era ku olwo lwe nnatandika okutegeera obulungi amazima agali mu Bayibuli!

OKUYIGIRIZA ABALALA AMAZIMA

Mu kiseera ekyo, Ssematalo II yali yaakaggwa era abantu bangi baalina mwoyo gwa ggwanga. Nnava ku lukuŋŋaana olwo nga ndi mumalirivu okunywerera ku mazima. N’olwekyo bwe nnaddayo ku ssomero, nnalekera awo okukubira bbendera saluti n’okuyimba oluyimba lw’eggwanga. Era nnalekera awo okwenyigira mu kukuza ennaku enkulu n’okugenda mu sinzizo nga bwe baali batwetaagisa ku ssomero. Ekyo kyanyiiza nnyo abasomesa era baagezaako okuntiisatiisa n’okunnimbalimba nsobole okwekkiriranya. Ebyo ebyaliwo byewuunyisa nnyo bayizi bannange, naye kyampa akakisa okubabuulira. Abamu ku bayizi bannange omwali Larry Androsoff, Norman Dittrick, ne Emil Schneider baafuuka abaweereza ba Yakuwa era n’okutuusa kati bakyamuweereza n’obwesigwa.

Bulijjo ebadde mpisa yange okubuulira bakiggala mu buli kibuga kye ŋŋendamu. Ng’ekyokulabirako, bwe nnali mu kibuga Montreal mu kifo ekikuŋŋaaniramu bakiggala, nnabuulira omuvubuka ayitibwa Eddie Tager, eyali mu kibinja ky’abayaaye. Eddie yaweereza mu kibiina kya bakiggala eky’omu Laval, mu Quebec, okutuusa lwe yafa omwaka oguwedde. Era nnabuulirako n’omuvubuka ayitibwa Juan Ardanez. Okufaananako Ababeroya, omuvubuka oyo yafubanga okunoonyereza okukakakasa obanga ddala ebyo bye yali ayiga ge mazima. (Bik. 17:10, 11) Naye yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa era yaweereza ng’omukadde mu kibiina ky’e Ottawa, Ontario, okutuusa lwe yafa.

Nga mbuulira ku luguudo mu myaka gya 1950

Mu 1950, nnasengukira e Vancouver. Wadde nga nnyumirwa nnyo okubuulira bakiggala, siryerabira lwe nnabuulira omukazi atali kiggala ayitibwa Chris Spicer gwe nnasanga ku luguudo. Yasaba okuweebwanga magazini buli mwezi era yayagala nsisinkane omwami we ayitibwa Gary. Nnagenda ewaabwe era ne tunyumya okumala ekiseera kiwanvu, naye nga bye tunyumya tuwandiika biwandiike. Saddamu kubalaba okutuusa nga wayiseewo emyaka mingi bwe bannengera ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Toronto, Ontario. Ku olwo Gary yali agenda kubatizibwa. Ekyo kyandaga nti kikulu okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira.

Oluvannyuma nnaddayo mu Saskatoon. Eyo nnasisinkanayo omukyala eyalina bawala be abalongo bakiggala era n’ansaba mbayigirize Bayibuli. Omu ku bawala abo yali ayitibwa Jean ate omulala ng’ayitibwa Joan era baali basomera mu ssomero lya bakiggala lye nnasomeramu. Abawala abo baatandika okubuulirako bayizi bannaabwe ku ebyo bye baali bayiga mu Bayibuli. N’ekyavaamu, bataano ku bayizi bannaabwe nabo baafuuka Bajulirwa ba Yakuwa. Omu ku bo yali ayitibwa Eunice Colin. Omulundi gwe nnasooka okusisinkana Eunice, nnali mu mwaka gwange ogusembayo mu ssomero eryo. Ku olwo yampa swiiti era n’ansaba tubeere ba mukwano. Nnali simanyi nti oluvannyuma lw’emyaka Eunice yali agenda kufuuka omuntu ow’omugaso ennyo mu bulamu bwange. Eunice yafuuka mukyala wange!

Nga ndi ne Eunice mu 1960 ne mu 1989

Maama wa Eunice bwe yakimanya nti Eunice yali ayiga Bayibuli yagamba omukulu w’essomero amulemese okuyiga. Omukulu w’essomero yamuggyako ebitabo bye yali akozesa mu kuyiga Bayibuli. Naye Eunice yali mumalirivu okunywerera ku Yakuwa. Bwe yali ayagala okubatizibwa, bazadde be baamugamba nti, “Bw’ofuuka Omujulirwa wa Yakuwa, ng’okwatamu ebibyo ng’otuviira!” Bwe kityo Eunice bwe yali wa myaka 17, yava ewaabwe, era omu ku Bajulirwa ba Yakuwa n’amutwala ewuwe. Yeeyongera okuyiga Bayibuli era n’abatizibwa. Ku lunaku lwe twafumbiriganwa mu 1960, bazadde be tebajja ku mbaga yaffe. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, baatandika okutwagala oluvannyuma lw’okulaba engeri gye twali tuganyuddwa mu kuweereza Yakuwa n’olw’engeri gye twali tukuzizzaamu abaana baffe.

YAKUWA ANDABIRIDDE BULUNGI

Mutabani wange Nicholas ne mukyala we Deborah, baweereza ku Beseri y’omu London

Wadde nga twali bakiggala, twasobola okukuza batabani baffe omusanvu, era bo si bakiggala. Wadde nga tekyali kyangu, twafuba okulaba nti bayiga olulimi lwa bakiggala tusobole okuwuliziganya obulungi nabo n’okubayigiriza amazima. Baganda baffe ne bannyinaffe mu kibiina baatuyamba nnyo. Ng’ekyokulabirako, omu ku bazadde mu kibiina yatuwandiikira ku kapapula n’atutegeeza nti omu ku batabani baffe yali ayogera ebigambo ebibi mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Ensonga eyo twagikolako mu bwangu. Batabani bange bana, James, Jerry, Nicholas, ne Steven, awamu ne bakyala baabwe n’abaana baabwe, baweereza Yakuwa n’obwesigwa. Bonna abana baweereza ng’abakadde mu kibiina. Nicholas ne mukyala we Deborah, bayambako mu kuvvuunula olulimi lwa bakiggala ku Beseri y’omu Bungereza, ate ye Steven ne mukyala we Shannan, bayambako mu kuvvuunula olulimi lwa bakiggala ku Beseri y’omu Amerika.

Batabani bange James, Jerry, ne Steven awamu ne bakyala baabwe bawagira omulimu ogw’okubuulira mu lulimi lwa bakiggala

Bwe waali wabula omwezi gumu tuweze emyaka 40 mu bufumbo, Eunice yafa kookolo. Eunice yasigala nga mugumu mu kiseera kyonna kye yamala ng’alumizibwa kookolo. Essuubi ery’okuzuukira lyamugumya nnyo. Nneesunga olunaku lwe ndiddamu okumulaba ng’azuukidde.

Faye ne James, Jerry ne Evelyn, Shannan ne Steven

Mu Febwali 2012, nnagwa ne mmenyeka bbunwe, era nnali sikyasobola kubeera nzekka. N’olwekyo, nnatandika okubeera n’omu ku batabani bange ne mukyala we. Kati tuli mu kibiina kya bakiggala eky’e Calgary, era mpeereza ng’omukadde mu kibiina ekyo. Mu butuufu, guno gwe mulundi gwe nnasooka okubeera mu kibiina kya bakiggala. Kiteebereze! Okuba nti okuva mu 1946 nnali mu bibiina bya Lungereza, nnasobola ntya okusigala nga ndi munywevu mu by’omwoyo? Yakuwa yatuukiriza ekisuubizo kye eky’okulabirira omwana atalina kitaawe. (Zab. 10:14) Nsiima nnyo bakkiriza bannange abatali bamu abaakola kyonna ekisoboka okubaako bye bampandiikira, okuyiga olulimi lwa bakiggala, n’okuntaputira ebintu ebyayogerwanga mu nkuŋŋaana.

Bwe nnali mu ssomero lya bapayoniya ery’olulimi lwa bakiggala nga ndi wa myaka 79

Ekituufu kiri nti, ebiseera ebimu nnawuliranga nga mpeddemu amaanyi olw’obutategeera bulungi byali biyigirizibwa mu nkuŋŋaana, n’olw’okuwulira nti ebyetaago bya bakiggla byali tebifiibwako. Naye nnajjukiranga ebigambo Peetero bye yagamba Yesu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 6:66-68) Okufaananako bakkiriza bannaffe bangi bakiggala, nnayiga okuba omugumiikiriza. Nnakiraba nti kikulu okulindirira Yakuwa n’ekibiina kye, era ŋŋanyuddwa nnyo mu kukola bwe ntyo! Kati nnina emmere nnyingi ey’eby’omwoyo mu lulimi lwa bakiggala, era ŋŋanyulwa nnyo mu nkuŋŋaana ennene n’entono eziba mu lulimi lwa bakiggala. Mu butuufu, nfunye essanyu lingi mu kuweereza Yakuwa, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.