Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Nineeve kyali kibuga ekyalimu ebizimbe ebinene n’ebijjukizo ebinene

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Kiki ekyatuuka ku Nineeve oluvannyuma lw’ekiseera kya Yona?

EKYASA eky’omusanvu E.E.T. we kyatuukira, Bwasuli ye yali obwakabaka obusingayo obunene mu nsi. Myuziyamu emu mu Bungereza egamba bw’eti ku mukutu gwayo ogwa Intaneeti: “Ebugwanjuba obwakabaka bwa Bwasuli bwali butandikira Kupulo, ate ebuvanjuba ne butuukira ddala mu Iran era waliwo ekiseera lwe bwali nga buzingiramu ne Misiri.” Nineeve, ekibuga ekikulu ekya Bwasuli, kye kyali ekibuga ekisingayo obunene mu nsi. Kyalimu ebijjukizo ebinene ennyo, ennimiro z’ebimuli ezirabika obulungi ennyo, embiri ezaalimu eby’obugagga ebingi, era kyalimu n’amaterekero g’ebiwandiiko amanene. Ebigambo ebyayolebwa ku kisenge kya Nineeve eky’edda biraga nti okufaananako bakabaka ba Bwasuli abalala, Kabaka Ashurbanipal yali yeeyita “kabaka w’ensi yonna.” Mu kiseera ekyo, Bwasuli ne Nineeve byali birabika ng’ebitasobola kuwangulwa.

Obwakabaka Kirimaanyi obwa Bwasuli bwe bwali busingayo obunene mu nsi mu kiseera ekyo

Wadde kyali kityo, Bwasuli we yabeerera nga y’esingayo okuba ey’amaanyi, nnabbi wa Yakuwa ayitibwa Zeffaniya yagamba nti: “[Yakuwa] aligolola omukono gwe . . . n’azikiriza Bwasuli. Nineeve alikifuula matongo, kirifuuka kikalu ng’eddungu.” Ate ne nnabbi wa Yakuwa omulala ayitibwa Nakkumu yagamba nti: “Munyage ffeeza, munyage zzaabu! . . . Ekibuga kisigadde kyereere, kifuuse matongo, era kyonooneddwa. . . . Buli anaakulaba ajja kukudduka era agambe nti, ‘Nineeve kyonooneddwa.’” (Zef. 2:13; Nak. 2:9, 10; 3:7) Abantu abaawulira ebigambo ebyo bayinza okuba nga baagamba nti: ‘Ddala ekyo kirisoboka? Ddala Bwasuli esobola okuwangulwa?’ Mu butuufu kyalabika ng’ekitasoboka.

Nineeve kyafuuka matongo!

Wadde kyali kityo, ekintu ekyali kirabika ng’ekitasoboka kyabaawo! Ekyasa eky’omusanvu E.E.T. we kyaggweerako, Bwasuli yali emaze okuwangulwa Abababulooni n’Abameedi. Oluvannyuma Nineeve kyaggwaamu abantu era ne kyerabirwa! Ekitabo ekyawandiikibwa Myuziyamu emu ey’omu Amerika kigamba nti: “Oluvannyuma Nineeve kyabuutikirwa ettaka abantu ne bakyerabirira ddala, era kyasigala kyogerwako mu Bayibuli mwokka.” Okusinziira ku kitongole ekiyitibwa Biblical Archaeology Society Online Archive, emyaka gya 1800 we gyatuukira, “tewali n’omu yali amanyi obanga ekibuga kya Bwasuli ekyo ekikulu kyali kibaddewoko.” Kyokka mu 1845, Austen Henry Layard yatandika okuyiikuula ekifo Nineeve we kyali. Ebyo ebyazuulibwa biraga nti ddala Nineeve kyali kibuga kya maanyi.

Okutuukirizibwa kw’obunnabbi obukwata ku Nineeve kwongera okutukakasa nti obunnabbi bwa Bayibuli obukwata ku kuzikirizibwa kw’obufuzi obuliwo mu nsi nabwo bujja kutuukirira.​—Dan. 2:44; Kub. 19:15, 19-21.