Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekintu eky’ebbumba ekiriko erinnya Berusazza

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Ebintu eby’edda ebyayiikuulwa bikakasa bitya ekifo Berusazza kye yalina mu Babulooni?

OKUMALA emyaka mingi, abo abawakanya obutuufu bwa Bayibuli baalinga bagamba nti Kabaka Berusazza, ayogerwako mu kitabo kya Danyeri, tabeerangawoko. (Dan. 5:1) Baali bagamba batyo olw’okuba abayiikuula ebintu eby’edda baali tebannazuula kintu kyonna kikakasa nti yali abaddewo. Naye ekyo kyakyuka mu 1854. Lwaki?

Mu mwaka ogwo, omukungu wa Bungereza ayitibwa J. G. Taylor yatandika okwekenneenya amatongo g’ekibuga Uli eky’edda, mu kitundu kati ekisangibwa mu bukiikaddyo bwa Iraq. Mu munaala ogumu ogwali mu matongo ago, yasangamu ebintu ebitali bimu ebyakolebwa mu bbumba. Buli kimu ku bintu ebyo, ekyalina obuwanvu bwa inci nnya, kyali kyoleddwako ebigambo. Ebigambo ebiri ku kimu ku bintu ebyo yali ssaala eyali esabirwa Kabaka Nabonidasi ne mutabani we omukulu Berusazza bawangaale. N’abo abaali bawakanya ebiri mu Bayibuli ekyo baali tebasobola kukiwakanya: Ekyo kyakakasa nti Berusazza yaliwo.

Kyokka Bayibuli tekoma ku kulaga nti Berusazza yaliwo naye era eraga nti yali kabaka. Era ekyo nakyo kyaleetera abantu abamu okubuusabuusa. Ng’ekyokulabirako, munnassaayansi Omungereza ayitibwa William Talbot eyaliwo mu kyasa ekya 19 yawandiika nti: “Bel-sar-ussur [Berusazza] yafugira mu kiseera kye kimu ne taata we Nabonidasi. Naye tewaliiwo kikakasa ekyo.”

Okubuusabuusa okwo kwaggwaawo ebigambo ebyali ku bintu biri ebirala eby’ebbumba bwe byalaga nti Kabaka Nabonidasi, taata wa Berusazza oluusi yamalanga emyaka nga tali mu Babulooni. Kiki ekyabangawo nga taliiwo? Ekitabo Encyclopaedia Britannica kigamba nti: “Nabonidasi bwe yagendanga mu buwaŋŋanguse, obwakabaka bwe n’ekitundu ekisinga obunene eky’eggye lye yabikwasanga Berusazza.” N’olwekyo, Berusazza ne taata we baafugiranga wamu Babulooni mu kiseera ekyo. Bwe kityo, omunoonyereza ayitibwa Alan Millard yagamba nti kituukirawo okuba nti “Ekitabo kya Danyeri kiyita Berusazza ‘kabaka.’”

Kya lwatu, eri abaweereza ba Katonda, obukakafu obulaga nti ekitabo kya Danyeri kyesigika era nti kyaluŋŋamizibwa Katonda, busangibwa mu Bayibuli mwennyini.​—2 Tim. 3:16.