Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Oganyulwa Otya bw’Okimanya nti Katonda Akufaako?

Oganyulwa Otya bw’Okimanya nti Katonda Akufaako?

Katonda yatonda emibiri gyaffe nga gisobola okwejjanjaba. Bwe tufuna ekiwundu, “omubiri gutandika okwejjanjaba, ekiwundu ekyo kisobole okuwona.” (Johns Hopkins Medicine) Omubiri gufulumya mu bwangu obutoffaali obuziba ekiwundu ne buziyiza omusaayi okufuluma, era ekiwundu ne kitandika okuwona.

LOWOOZA KU KINO: Bwe kiba nti Omutonzi waffe yakola emibiri gyaffe nga gisobola okwejjanjaba nga tufunye ekiwundu, tasobola kutuyamba nga waliwo ebitwennyamiza? Bayibuli egamba nti: “Awonya abamenyese omutima; Asiba ebiwundu byabwe.” (Zabbuli 147:3) Bwe waba nga waliwo ebizibu ebyakutuukako oba by’oyitamu ebikuleetera okwennyamira, oyinza otya okuba omukakafu nti Katonda ajja kukuyamba?

BAYIBULI ERAGA NTI KATONDA AKWAGALA NNYO

Katonda agamba nti: “Totya, kubanga ndi naawe. Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba.” (Isaaya 41:10) Omuntu amanyi nti Katonda amufaako aba n’emirembe mu mutima, era ekyo kimuyamba okugumira ebizibu. Bayibuli egamba nti omuntu ng’oyo aba ‘n’emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.’ Omutume Pawulo yagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”​—Abafiripi 4:4-7, 9, 13.

Ebyawandiikibwa bituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe mu bisuubizo bya Katonda eby’omu biseera eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, Okubikkulirwa 21:4, 5 watubuulira Katonda by’ajja okutukolera mu biseera eby’omu maaso, era n’ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti ajja kubikola:

  • “Alisangula buli zziga” mu maaso g’abantu. Yakuwa ajja kuggyawo byonna ebituleetera okubonaabona n’okweraliikirira, nga mw’otwalidde n’ebyo abalala bye bayinza okutwala ng’ebitono ennyo.

  • Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna era Kabaka w’obutonde bwonna, ‘atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka’ mu ggulu, era ajja kukozesa obuyinza bwe okuggyawo okubonaabona kwonna era atuwe obuyambi bwe twetaaga.

  • Yakuwa kennyini atukakasa nti ebisuubizo bye “byesigika era bya mazima.” Ekyo kitegeeza nti ajja kutuukiriza byonna bye yasuubiza, kubanga ye Katonda ow’amazima.

“‘Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.’ Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti: ‘Laba! ebintu byonna mbizza buggya.’ Era n’agamba nti: ‘Wandiika, kubanga ebigambo bino byesigika era bya mazima.’”​—Okubikkulirwa 21:4, 5.

Bayibuli n’ebintu Katonda bye yatonda, bituyamba okutegeera engeri ze. Bwe twetegereza ebitonde era ne tubifumiitirizaako, tusobola okumanya engeri za Katonda ne kituleetera okumwagala. Ate yo Bayibuli etubuulira nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yakobo 4:8) Era Bayibuli egamba nti: “Tali wala wa buli omu ku ffe.”​—Ebikolwa 17:27.

Bw’oneeyogera okuyiga ebikwata ku Katonda, ojja kukiraba nti ‘akufaako.’ (1 Peetero 5:7) Okukimanya nti Katonda akufaako kiyinza kukuganyula kitya?

Lowooza ku Toru, abeera mu Japan. Wadde nga maama we yali amuyigirizza ebikwata ku Katonda okuva mu buto, yasalawo kwegatta ku kabinja k’abamenyi b’amateeka akayitibwa yakuza. Agamba nti: “Nnali ndowooza nti Katonda tanjagala, era abantu bange bwe baafanga nnalowoozanga nti yali ambonereza.” Toru agamba nti akabinja ako kaamufuula omuntu “omukambwe ennyo era atalumirirwa balala.” Agattako nti: “Nnali njagala nfe nga mmaze okutta omuntu ansinga ettutumu, nsobole okwekolera erinnya.”

Kyokka Toru ne mukyala we bwe baayiga Bayibuli, yakola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe. Hannah agamba nti: “Nnali nkiraba nti omwami wange akyusizza enneeyisa ye.” Kati Toru agamba nti: “Ndi mukakafu nti Katonda afaayo ku buli muntu. Talina muntu yenna gw’ayagaliza kufa, era mwetegefu okusonyiwa abo bonna abeenenya ne baleka ebibi bye bakola. Bwe tumusaba ne tumubuulira n’ebintu bye tutasobola kubuulira muntu mulala yenna, atuwuliriza. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa agenda kuggyawo ebizibu byonna n’okubonaabona. Naye ne mu kiseera kino, atuyamba mu ngeri nnyingi. Atufaako nnyo, era atuyamba nga tuweddemu amaanyi.”​—Zabbuli 136:23.

Okufaananako Toru, bwe tumanya nti Katonda anaatera okuggyawo okubonaabona kwonna, kituyamba okuba n’essuubi mu biseera eby’omu maaso, n’okuba n’obulamu obw’amakulu mu kiseera kino. Wadde ng’ensi erimu ebizibu bingi, okukimanya nti Katonda akufaako, kisobola okukuyamba okubigumira.