Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKWEGGYAMU OBUKYAYI

1 | Weewale Okusosola Abalala

1 | Weewale Okusosola Abalala

Bayibuli Ky’Egamba:

“Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.”​EBIKOLWA 10:34, 35.

Kye Kitegeeza:

Yakuwa * Katonda tatulamula ng’asinziira ku ggwanga lyaffe, langi yaffe, oba obuwangwa bwaffe. Mu kifo ky’ekyo, atunuulira ekyo kye tuli munda. Mu butuufu, Bayibuli egamba nti: “Abantu balaba ekyo amaaso gaabwe kye gasobola okulaba, naye Yakuwa alaba ekiri mu mutima.”​—1 Samwiri 16:7.

Ky’Oyinza Okukola:

Wadde nga tetusobola kulaba kiri mu mitima gya balala, tusobola okufuba okukoppa Katonda ne twewala okusosola abalala. Buli muntu mutunuulire ng’omuntu kinnoomu, so si okumulamula ng’osinziira ku kiti mw’agwa. Bw’okiraba nti olina endowooza etali nnungi ku balala, oboolyawo aba langi endala oba eggwanga eddala, saba Katonda akuyambe okweggyamu endowooza eyo. (Zabbuli 139:23, 24) Bw’omusaba mu bwesimbu akuyambe okweggyamu obusosoze, awatali kubuusabuusa ajja kuddamu essaala yo.​—1 Peetero 3:12.

^ Yakuwa lye linnya lya Katonda.​—Zabbuli 83:18.

“Nnali situulangako wamu na muzungu nga tuli mu mirembe . . . Kati nnali nfuye baganda bange okuva mu mawanga ag’enjawulo.”​—TITUS