Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yava ku Mulembe

Yava ku Mulembe

EBYA SSAAYANSI

BAYIBULI SI KITABO KYA SSAAYANSI, NAYE ERIMU EBINTU EBYAZUULIBWA OLUVANNYUMA ENNYO. LOWOOZA KU BYOKULABIRAKO BINO.

Ensi n’obwengula birina entandikwa?

Bannassaayansi bangi baali balowooza nti ensi n’obwengula tebirina ntandikwa. Naye kati bakkiriza nti birina entandikwa. Ekyo Bayibuli yali yakyogera dda nnyo.​—Olubereberye 1:1.

Ensi yakula etya?

Mu biseera eby’edda, bangi baali balowooza nti ensi ya museetwe. Naye mu kyasa eky’okutaano E.E.T., bannassaayansi Abayonaani baagamba nti ensi nneekulungirivu. Kyokka edda ennyo nga bannassaayansi abo tebannabaawo, nnabbi Isaaya, omu ku baawandiika Bayibuli yali yawandiika dda nti ‘ensi nneekulungirivu.’​—Isaaya 40:22.

Ebintu ebiri mu bwengula bisobola okuvunda?

Munnassaayansi Omuyonaani ayitibwa Aristotle eyaliwo mu kyasa eky’okuna E.E.T., yayigiriza nti ebintu ebivunda biri ku nsi kwokka, naye ebiri mu bwengula tebisobola kukyuka oba kuvunda. Okumala emyaka mingi abantu baalina endowooza eyo. Naye mu myaka gya 1800, bannassaayansi baakizuula nti ebintu byonna ka bibe ebyo ebiri ku nsi oba mu bwengula, bisobola okuvunda. Omu ku bannassaayansi abo ayitibwa Lord Kelvin, yajuliza ekyo Bayibuli ky’egamba ku nsi n’eggulu nti: “Byonna birikaddiwa ng’olugoye.” (Zabbuli 102:25, 26) Ate era Kelvin yali akkiriza ekyo Bayibuli ky’egamba nti, Katonda tayinza kuleka bitonde bye kuvunda ne bisaanawo.​—Omubuulizi 1:4.

Kiki ekiwaniridde zisseŋŋendo, gamba ng’ensi kwe tuli?

Aristotle yayigiriza nti sseŋŋendo zonna zeekutte wamu era ng’ensi y’eri wakati waazo. Kyokka ekyasa eky’ekkumi n’omunaana we kyatuukira, bannassaayansi baali batandise okukkiriza nti emmunyeenye ne sseŋŋendo endala biri mu bbanga jjereere era tewali kibiwaniridde. Naye Bayibuli eyawandiikibwa edda ennyo ng’abo tebannabaawo, egamba nti Katonda “awanika ensi awatali kigiwanirira.”​—Yobu 26:7.

EBY’EKISAWO

WADDE NGA BAYIBULI SI KITABO KYA BYA KISAWO, ERIMU EBINTU EBIKWATA KU BY’OBULAMU EBYAZUULIBWA OLUVANNYUMA ENNYO.

Okwawula abalwadde ku balamu.

Mu mateeka Katonda ge yawa Musa, mwalimu eryali liragira okwawula abalwadde b’ebigenge ku balamu. Obulwadde obusaasaana amangu bwamala kutta abantu bangi nnyo emyaka nga 800 egiyise abasawo ne balyoka batandika okukozesa enkola eyo, era n’okutuusa leero ekyakozesebwa.​—Eby’Abaleevi, essuula 13 ne 14.

Okunaaba mu ngalo oluvannyuma lw’okukwata ku mulambo.

Okutuusizza ddala ng’emyaka gya 1800 ginaatera okuggwaako, abasawo baakolanga ku mirambo nga tebambadde kintu kyonna ne bamala ne bakwata ne ku mulwadde nga tebasoose kunaaba mu ngalo. Ekyo kyaviirako abantu bangi okufa. Naye, amateeka Katonda ge yawa Musa gaakiraga bulungi nti omuntu yenna eyakwatanga ku mulambo, teyabanga mulongoofu. Ate era amateeka ago gaalagira nti omuntu eyabanga akutte ku mulambo yalinanga okunaaba. Etteeka eryo lyakuumanga obulamu bwabwe.​—Okubala 19:11, 19.

Obutasaasaanya kazambi.

Buli mwaka, abaana abasukka mu mitwalo ataano be bafa ekiddukano, era ng’ekyo kiva ku kusaasaanya kazambi. Amateeka Katonda ge yawa Musa gaalagira nti obubi bw’omuntu bwalinanga okuziikibwa mu kifo ekyesudde okuva abantu we babeera.​—Ekyamateeka 23:13.

Ekiseera eky’okukomola omwana.

Amateeka ga Katonda gaalagira okukomola omwana omulenzi ku lunaku olw’omunaana. (Eby’Abaleevi 12:3) Ekiwundu ky’omwana omuwere kiwona mangu ng’asussizza wiiki. N’olwekyo, mu kiseera we baawandiikira Bayibuli, nga tewannabaawo nkulaakulana mu bya bujjanjabi, kyali kya magezi okukomola omwana ng’awezezza ennaku munaana.

Akakwate akaliwo wakati w’enneewulira n’okuba omulamu mu mubiri.

Abanoonyereza ku by’obulamu ne bannassaayansi bagamba nti okuba n’enneewulira ennungi gamba ng’okuba omusanyufu, okuba n’essuubi, okusiima, n’okusonyiwa, bya mugaso nnyo eri obulamu bw’omuntu. Ne Bayibuli egamba nti: “Omutima omusanyufu ddagala ddungi, naye omwoyo omwennyamivu gunafuya omubiri.”​—Engero 17:22.