Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tossa Mutima ku Ndabika Ye

Tossa Mutima ku Ndabika Ye

DON, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abeera mu Canada, afuba okubuulira abantu ababeera ku nguudo. Ng’ayogera ku musajja omu gwe yabuulira, Don yagamba nti: “Omusajja ayitibwa Peter gwe nnasanga ku luguudo yali omu ku bantu abasingayo obukyafu be nnali ndabye. Yali alabika bubi nnyo era nga tayagala kwesembereza bantu. Abantu baateranga okwagala okumuyamba naye ng’agaana.” Wadde kyali kityo, Don yamala emyaka egisukka mu 14 ng’agezaako okuyamba omusajja oyo ataalina w’abeera.

Lumu Peter yagamba Don nti: “Ye lwaki tondeka? Abantu bonna banneesonyiwa. Lwaki onfaako nnyo?” Mu ngeri ey’amagezi Don yakozesa ebyawandiikibwa bisatu okusobola okutuuka ku mutima gwa Peter. Yasooka n’abuuza Peter obanga yali akimanyi nti Katonda alina erinnya, era n’amusaba asome Zabbuli 83:18. Okusobola okulaga Peter ensonga lwaki yali amufaako, Don yamugamba asome Abaruumi 10:13, 14, awagamba nti: “Buli alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.” Oluvannyuma, Don yasomera Peter Matayo 9:36 era n’amusaba naye kennyini asomewo. Olunyiriri olwo lugamba nti: “[Yesu] bwe yalaba ekibiina ky’abantu n’abasaasira, kubanga baali babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.” Oluvannyuma lw’okusoma ekyawandiikibwa ekyo, Peter yakaaba era n’abuuza Don nti: “Ndi omu ku ndiga ezo?”

Peter yatandika okukola enkyukakyuka. Yanaaba, n’akomola bulungi ekirevu kye, era n’ayambala engoye ennungi Don ze yamuwa. Peter yeeyongera okukuuma omutindo gw’obuyonjo ogwo.

Peter yalina akatabo mwe yawandiikanga ebintu bye yabanga ayiseemu mu lunaku. Ebintu ebisooka mu katabo ako byali biraga nti teyalina ssuubi, naye ebyo bye yasembayo okuwandiika ng’atandise okuyiga Bayibuli byali bya njawulo. Ebimu ku byo byali bigamba nti: “Leero nnayize erinnya lya Katonda. Kati bwe nnaabanga nsaba, nja kusabanga Yakuwa. Kinsanyusizza nnyo okumanya erinnya lya Katonda. Don yaŋŋambye nti Yakuwa asobola okubeera Mukwano gwange, era nti bulijjo mwetegefu okumpuliriza, ka kibe ki kye mba mmusabye oba ka kibe kiseera ki kye mba nsabiddemu.”

Ebigambo Peter bye yasembayo okuwandiika yabiwandiikira baganda be. Byali bisoma bwe biti:

“Seewulira bulungi leero. Kirabika ŋŋenda kufa. Naye ne bwe nfa, nkimanyi nti nja kuddamu okulaba mukwano gwange [Don] mu lusuku lwa Katonda. Bwe muba musoma ebigambo bino, kiraga nti sikyaliwo. Naye bwe munaalaba omusajja atali wa mu nju yaffe ng’azze okunziika, mwogereeko naye, era mbeegayiridde musome akatabo kano aka bbulu [yali ayogera ku katabo akaakozesebwanga okuyigiriza abantu Bayibuli akayitibwa “The Truth That Leads to Eternal Life” ke yali afunye emyaka mingi emabega]. * Akatabo kano kalaga nti nja kuddamu ndabe mukwano gwange mu lusuku lwa Katonda. Kino nkikkiriza n’omutima gwange gwonna. Nze Peter, muganda wammwe abaagala ennyo.”

Oluvannyuma lw’okuziika Peter, mwannyina ayitibwa Ummi yagamba nti: “Emyaka ng’ebiri emabega, Peter yayogerako nnange. Nnali mmaze emyaka mingi nga siraba ku ssanyu lye. Yamwenya n’okumwenya!” Ummi yagamba Don nti: “Nja kusoma akatabo ako kubanga ekintu ekisobola okukwata ku mwannyinaze kiteekwa okuba nga kya njawulo nnyo.” Ummi era yakkiriza Abajulirwa ba Yakuwa okumuyigiriza Bayibuli nga bakozesa akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?

Naffe tetusaanidde kukkiriza ndabika ya bantu kutulemesa kubabuulira. Tusaanidde okulaga abantu aba buli ngeri okwagala n’okuba abagumiikiriza gye bali. (1 Tim. 2:3, 4) Bwe tukola tutyo tusobola okutuuka ku mitima gy’abantu abalinga Peter, abayinza okuba nga tebalabika bulungi kungulu naye ng’omutima gwabwe mulungi. Tuli bakakafu nti Yakuwa, oyo “alaba ekiri mu mutima,” ajja kusobozesa abantu ab’emitima emirungi okukkiriza amazima.1 Sam. 16:7; Yok. 6:44.

^ lup. 7 Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, naye kati tekakyakubibwa.