Buuka ogende ku bubaka obulimu

Yesu Yazaalibwa Ddi?

Yesu Yazaalibwa Ddi?

Bayibuli ky’egamba

 Ng’ebitabo bino wammanga bwe biraga, Bayibuli tetubuulira lunaku Yesu lwe yazaalibwa:

  •   “Olunaku olutuufu Kristo lwe yazaalibwa terumanyiddwa.”—New Catholic Encyclopedia.

  •   “Olunaku lwennyini Kristo lwe yazaalibwa terumanyiddwa.”—Encyclopedia of Early Christianity.

 Wadde nga Bayibuli tetubuulira lunaku Yesu lwe yazaalibwa, waliwo ebintu bibiri by’eyogerako ebyaliwo mu kiseera ky’okuzaalibwa kwa Yesu ebireetedde bangi okukiraba nti Yesu teyazaalibwa nga Ddesemba 25.

Tekyali kiseera kya butiti

  1.   Okwewandiisa. Ng’ebula ekiseera kitono Yesu azaalibwe, Kayisaali Agusito yalagira “abantu bonna bagende beewandiise.” Buli muntu yalina okwewandiisiza “mu kibuga ky’ewaabwe,” era abantu abamu kyali kibeetaagisa okutambulira wiiki nnamba oba n’okusingawo okugenda okwewandiisa. (Lukka 2:1-3) Ekiragiro ekyo kiteekwa okuba nga tekyasanyusa bantu, naddala bw’olowooza ne ku ky’okuba nti Kayisaali ayinza okuba nga yakiyisa asobole okumanya musolo gwenkana wa gwe yalina okuggya mu bantu n’abantu bameka be yalina okuyingiza mu magye. N’olwekyo Kayisaali yali tayinza kwongera buzibu ku buzibu ng’alagira abantu okugenda okwewandiisa mu kiseera ky’obutiti.

  2.   Endiga. Abasumba baali “ku ttale nga bakuuma ebisibo byabwe ekiro.” (Lukka 2:8) Ekitabo ekiyitibwa Daily Life in the Time of Jesus kigamba nti: “Okuva mu kiseera ng’ebula wiiki emu embaga ey’Okuyitako etuuke [omwezi gwa Maaki nga gunaatera okuggwaako]” okutuuka mu makkati ga Noovemba, ebisibo abantu baabisuzanga wabweru. Ekitabo ekyo era kigamba nti: “Mu kiseera ky’obutiti ebisibo byakuumirwanga munda mu biyumba. N’olwekyo, okuva bwe kiri nti olunaku lwa Ssekukkulu lubaawo mu Ddesemba ate ng’omwezi ogwo guba gwa butiti mu Besirekemu, tekisoboka kuba nti Yesu yazaalibwa ku lunaku lwa Ssekukkulu , kubanga Enjiri ya Lukka eraga nti ku lunaku Yesu lwe yazaalibwa abasumba baali wabweru ku ttale n’ebisibo byabwe.”

Ng’ekiseera eky’obutiti kinaatera okutandika

 Tusobola okumanya ekiseera Yesu mwe yazaalirwa nga tubala tudda mabega okuva ku lunaku lwe yafiirako. Yesu yafiira ku lunaku olw’embaga ey’Okuyitako nga Nisaani 14, mu mwaka gwa 33 E.E. (Yokaana 19:14-16) Yesu we yatandikira obuweereza bwe, obwamala emyaka esatu n’ekitundu, yalina emyaka nga 30. N’olwekyo ateekwa okuba nga yazaalibwa mu mwaka 2 E.E.T. ng’ekiseera ky’obutiti kinaatera okutandika—Lukka 3:23.

Lwaki Ssekukkulu bagikuza nga Ddesemba 25?

 Bwe kiba nti tewali bukakafu bulaga nti Yesu yazaalibwa Ddesemba 25, lwaki Ssekukkulu bagikuza ku lunaku olwo? Ekitabo ekiyitibwa The Encyclopædia Britannica kigamba nti abakulembeze b’eddiini bayinza okuba nga baalonda olunaku olwo nga baagala “lukwatagane n’olunaku Abaruumi kwe baakwatiranga omukolo gwabwe ogw’ekikaafiiri ogw’okukuza ‘amazaalibwa g’enjuba.’” Omukolo ogwo gwabangawo nga Ddesemba 25. Okusinziira ku kitabo The Encyclopedia Americana, abayivu bangi bagamba nti ekyo kyakolebwa okusobola ‘okuleetera abakaafiiri abaali bafuuse Abakristaayo okwongera okwagala Obukristaayo.’