Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera Ki ku Kweyagala?

Bayibuli Eyogera Ki ku Kweyagala?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli eraga nti kirungi okweyagala ku kigero ekisaanira. Ekyo kizingiramu okwerabirira, okwewa ekitiibwa, n’okuwulira nti oli wa mugaso. (Matayo 10:31) Bayibuli evumirira okwefaako ffekka naye eraga nti omuntu asobola okweyagala ku kigero ekisaana.

Ani gwe tusaanidde okusinga okwagala?

  1.   Katonda gwe tusaanidde okusinga okwagala. Bayibuli eyigiriza nti etteeka erisooka mu mateeka agasinga obukulu kwe ‘kwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna.’—Makko 12:28-30; Ekyamateeka 6:5.

  2.   Etteeka ery’okubiri mu mateeka agasinga obukulu ligamba nti: “Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.”—Makko 12:31; Eby’Abaleevi 19:18.

  3.   Wadde nga Bayibuli teriimu tteeka ligamba nti olina okweyagala, etteeka erigamba nti “oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala” liraga nti okweyagala ku kigero ekisaana n’okwewa ekitiibwa si kibi era kya muganyulo.

Ani Yesu gwe yasinga okwagala?

 Yesu yalaga engeri y’okwagalamu Katonda, muliraanwa, n’okweyagala, era yagamba abagoberezi be okugoberera ekyokulabirako kye.—Yokaana 13:34, 35.

  1.   Yasinga kwagala Yakuwa Katonda era yakola omulimu Katonda gwe yamuwa n’omutima gwe gwonna. Yagamba nti: “Nkola nga Kitange bwe yandagira ensi esobole okumanya nti njagala Kitange.”—Yokaana 14:31.

  2.   Yesu yayagalanga nnyo abantu era ekyo yakyoleka ng’akola ku byetaago byabwe nga mw’otwalidde n’okuwaayo obulamu bwe ku lwabwe.—Matayo 20:28.

  3.   Yeeyagala ku kigero ekisaanira ng’afunayo obudde okuwummulako, okulya, era n’okusanyukirako awamu n’abagoberezi be.—Makko 6:31, 32; Lukka 5:29; Yokaana 2:1, 2; 12:2.

Bw’oyagala abalala okusinga bwe weeyagala kikumalako essanyu oba ekitiibwa?

 Nedda, kubanga twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda era engeri ya Katonda esinga obukulu kwe kwagala. (Olubereberye 1:27; 1 Yokaana 4:8) Ekyo kitegeeza nti twatondebwa nga tusobola okulaga abalala okwagala. Kirungi okweyagala ku kigero ekisaana, naye ekisinga okuleeta essanyu kwe kwagala ennyo Katonda n’okukolera abalala ebirungi. Bayibuli egamba nti, “okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”—Ebikolwa 20:35.

 Abantu bangi leero balowooza nti essanyu liva mu kukulembeza bye baagala. Mu kifo ky’okwagala baliraanwa baabwe beeyagala bokka. Kyokka, ebiriwo biraga nti abantu baba balamu bulungi era baba basanyufu bwe bagoberera amagezi gano agali mu Bayibuli: “Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, naye anoonye ebigasa abalala.”—1 Abakkolinso 10:24.