Buuka ogende ku bubaka obulimu

Twandisinzizza Ebifaananyi?

Twandisinzizza Ebifaananyi?

Bayibuli ky’egamba

 Nedda, tetulina kusinza bifaananyi. Bwe kiba kinnyonnyola amateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isirayiri, ekitabo ekiyitibwa New Catholic Encyclopedia kigamba nti: “Ebyawandiikibwa mu Bayibuli bikyoleka kaati nti okusinza okw’amazima tekwalimu kusinza bifaananyi.” Lowooza ku nnyiriri zino:

  •   “Teweekoleranga kifaananyi ekyole oba ekintu kyonna ekyefaanaanyiriza ekintu ekiri waggulu ku ggulu oba ekiri wansi ku nsi oba ekiri mu mazzi agali ku nsi. Tobivunnamiranga era tosendebwasendebwanga kubiweereza, kubanga nze Yakuwa Katonda wo, ndi Katonda ayagala abantu okunneemalirako.” (Okuva 20:​4, 5) Okuva bwe kiri nti Katonda ‘ayagala abantu okumwemalirako,’ tekimusanyusa bwe tutendereza oba bwe tusinza ebifaananyi, ebibumbe, obubonero, oba bwe tugulumiza abantu.

  •   “Ekitiibwa kyange sirina mulala gwe nkiwa, n’ettendo lyange siriwa bifaananyi byole.” (Isaaya 42:8) Katonda tayagala tumusinze nga tukozesa ebifaananyi. Abayisirayiri abamu bwe baagezaako okumusinza nga bakozesa ekifaananyi ky’ennyana, Katonda yagamba nti baali bakoze ekibi eky’amaanyi.​—⁠Okuva 32:​7-9.

  •   “Tetusaanidde kulowooza nti Katonda alinga zzaabu, ffeeza, oba ejjinja, oba ekintu ekyole abantu kye baakola okusinziira ku magezi gaabwe.” (Ebikolwa 17:29) Okwawukana ku bakaafiiri abasinza nga bakozesa ebifaananyi ‘ebyole abantu bye baakola okusinziira ku magezi gaabwe,’ Abakristaayo basaanidde ‘kutambula lwa kukkiriza, so si lwa kulaba.”​—⁠2 Abakkolinso 5:7.

  •   “Mwekuume ebifaananyi.” (1 Yokaana 5:​21) Amateeka agaaweebwa Abayisirayiri n’Abakristaayo, gakyoleka bulungi Bayibuli tewagira kukozesa bifaananyi mu kusinza.