Buuka ogende ku bubaka obulimu

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakozesa Musaalaba mu Kusinza?

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakozesa Musaalaba mu Kusinza?

 Abantu bangi batwala omusaalaba ng’akabonero akakulu ak’abagoberezi ba Kristo. Wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa tuli bagoberezi ba Kristo, tetukozesa musaalaba mu kusinza. Lwaki?

 Ensonga emu eri nti Bayibuli eraga nti Yesu teyafiira ku musaalaba wabula ku kikondo. Ate era Bayibuli egamba Abakristaayo ‘okudduka okusinza ebifaananyi,’ era ng’ekyo kizingiramu obutakozesa musaalaba mu kusinza.—1 Abakkolinso 10:14; 1 Yokaana 5:21.

 Yesu yagamba nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange–bwe munaayagalananga.” (Yokaana 13:34, 35) Bwe kityo, Yesu yalaga nti okwagalana kwe kwandyawuddewo abagoberezi be ab’amazima, so si musaalaba oba ekifaananyi ekirala kyonna.