Buuka ogende ku bubaka obulimu

Omutima Gunnumiriza—Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba Okufuna Obuweerero?

Omutima Gunnumiriza—Ddala Bayibuli Esobola Okunnyamba Okufuna Obuweerero?

Bayibuli ky’egamba

 Yee. Bayibuli esobola okutuyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi omutima bwe guba gutulumiriza. (Zabbuli 32:1-5) Bwe tuba nga twakola ensobi naye ne twenenya mu bwesimbu, Katonda ajja kutusonyiwa era atuyambe okufuna obuweerero. (Zabbuli 86:5) Bayibuli eraga nti omutima okutulumiriza oluusi kiyinza okuba eky’omuganyulo—kiyinza okutuleetera okutereeza amakubo gaffe era ne tumalirira obutaddamu kukola nsobi y’emu. (Zabbuli 51:17; Engero 14:9) Kyokka, Bayibuli etukubiriza obutakkiriza mutima kutulumiriza kisukkiridde, oboolyawo nga twesalira omusango nti tetulina mugaso oba nti tetusaanira mu maaso ga Katonda. Ekyo kiyinza okutuleetera “okutendewalirwa olw’okunakuwala ennyo.”—2 Abakkolinso 2:7.

 Kiki ekiyinza okuleetera omutima okutulumiriza?

 Omutima guyinza okutulumiriza olw’ensonga ezitali zimu. Tuyinza okukitegeera nti tulumizza omuntu gwe twagala ennyo, oba nti tetukoledde ku mutindo ogumu gwe tulowooza nti tusaanidde okugukolerako mu bulamu. Ebiseera ebimu, omutima guyinza okutulumiriza wadde nga tewali na nsobi gye tukoze. Ng’ekyokulabirako, bwe tweteerawo emitindo egya waggulu egitasaana, omutima guyinza okutulumiriza ekiteetaagisa buli lwe tulemererwa okutuukiriza emitindo egyo. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etukubiriza obuteesuubiramu bisukkiridde.—Omubuulizi 7:16.

 Kiki ekiyinza okunnyamba ng’omutima gunnumiriza?

 Mu kifo ky’okuleka omutima okukulumiriza ekisukkiridde, kola ky’osobola okutereeza ensonga. Mu ngeri?

  •   Kkiriza ensobi zo. Okuyitira mu kusaba, weegayirire Yakuwa a Katonda akusonyiwe. (Zabbuli 38:18; Lukka 11:4) Beera mukakafu nti Katonda ajja kukuwuliriza bwe weenenya mu bwesimbu era n’ofuba obutaddamu kukola nsobi y’emu. (2 Ebyomumirembe 33:13; Zabbuli 34:18) Alaba ekyo kye tuli munda, omuntu yenna ky’atasobola kulaba. Katonda bw’akiraba nti tufuba okulekayo amakubo gaffe amabi, “mwesigwa era mutuukirivu, ajja kutusonyiwa ebibi byaffe.”—1 Yokaana 1:9; Engero 28:13.

     Kyo kituufu nti, bw’oba ng’olina omuntu gwe wasobya, olina okukkiriza ensobi yo era ne weetondera omuntu oyo mu bwesimbu. Ekyo kiyinza obutaba kyangu! Kiyinza okukwetaagisa okwoleka obuvumu n’obwetowaaze. Naye okwetonda mu bwesimbu kirimu emiganyulo gino ebiri emikulu: Kikuwewulako omugugu omunene ennyo, era kikuyamba okuzzaawo emirembe.—Matayo 3:8; 5:23, 24.

  •   Fumiitiriza ku byawandiikibwa ebyogera ku busaasizi bwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku 1 Yokaana 3:19, 20. Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti ‘emitima gyaffe giyinza okutusalira omusango’—kwe kugamba, tuyinza okwerumya ennyo, oboolyawo ne tutuuka n’okulowooza nti Katonda tasobola kutwagala. Kyokka, ekyawandiikibwa ekyo era kiraga nti “Katonda asinga emitima gyaffe.” Mu ngeri ki? Alaba omuntu nga bwali yenna era amanyi bulungi enneewulira zaffe n’obunafu bwaffe. Ate era akimanyi nti tuzaalibwa tetutuukiridde, nga twekubidde ku kukola nsobi. b (Zabbuli 51:5) N’olwekyo, teyeesamba abo abeenenya mu bwesimbu.—Zabbuli 32:5.

  •   Weerabire eby’emabega. Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abasajja n’abakazi bangi abaakola ebintu ebibi naye oluvannyuma ne bakyusa amakubo gaabwe. Omu ku bo ye Sawulo ow’e Taluso, oluvannyuma eyamanyibwa ng’omutume Pawulo. Bwe yali Omufalisaayo, yayigganya nnyo abagoberezi ba Yesu. (Ebikolwa 8:3; 9:1, 2, 11) Naye bwe yakimanya nti yali ayigganya Katonda ne Masiya, oba Kristo, yeenenya, n’akyusa amakubo ge, era n’afuuka Omukristaayo eyassaawo ekyokulabirako ekirungi. Kyo kituufu nti Pawulo yejjusa olw’ebibi bye yakola emabega, naye yeerabira ebintu eby’emabega. Olw’okuba yali akimanyi nti Katonda yali amulaze obusaasizi, Pawulo yafuuka omubuulizi omunyiikivu era teyeerabira ssuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.—Abafiripi 3:13, 14.

 Ebyawandiikibwa ebyogera ku mutima okutulumiriza ne ku kusonyiyibwa

 Zabbuli 51:17: “Omutima ogumenyese era oguboneredde toogugayenga, Ai Katonda.”

 Kye kitegeeza: Katonda tajja kukwesamba olw’ensobi ze wakola bwe kiba nti weenenya mu bwesimbu. Alaga obusaasizi.

 Engero 28:13: “Oyo abikka ku bibi bye ebintu tebijja kumugendera bulungi, naye buli ayatula ebibi bye n’abireka ajja kusaasirwa.”

 Kye kitegeeza: Bwe twatulira Katonda ensobi zaffe era ne tukyusa amakubo gaffe, ajja kutusonyiwa.

 Yeremiya 31:34: “Ndibasonyiwa ensobi zaabwe, era siriddamu kujjukira bibi byabwe.”

 Kye kitegeeza: Katonda bw’atusonyiwa, tajja kutunenya nsobi ezo nate. Alina obusaasizi obwa nnamaddala.

a Yakuwa lye linnya lya Katonda.—Okuva 6:3.

b Tuzaalibwa nga twekubidde ku kukola bibi olw’okuba twasikira ekibi okuva ku Adamu, omusajja eyasooka. Ye ne mukazi we Kaawa, baayonoona eri Katonda era ne beefiiriza obulamu obutuukiridde era ne babufiiriza n’abaana baabwe.—Olubereberye 3:17-19; Abaruumi 5:12.