Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera Ki ku Kugaba?

Bayibuli Eyogera Ki ku Kugaba?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli etukubiriza okugaba nga tetukakiddwa, era nga tulina ekigendererwa ekirungi. Eraga nti okugaba ng’okwo tekukoma ku kuganyula oyo yekka gwe bagabidde, wabula n’oyo agabye. (Engero 11:25; Lukka 6:38) Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”—Ebikolwa 20:35.

 Ddi okugaba lwe kusanyusa Katonda?

 Okugaba kusanyusa Katonda singa omuntu akikola nga yeeyagalidde. Bayibuli egamba nti: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya oba olw’okukakibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”—2 Abakkolinso 9:7.

 Bwe tuba twagala okusinza Katonda mu ngeri gy’asiima, tusaanidde okugaba nga tulina ekigendererwa ekirungi. (Yakobo 1:27) Omuntu agabira abali mu bwetaavu aba akolera wamu ne Katonda, era abeera ng’awoze Katonda. (Engero 19:17) Bayibuli eraga nti Katonda ajja kumusasula.—Lukka 14:12-14.

 Ddi okugaba lwe kutasanyusa Katonda?

 Omuntu bw’agaba ng’alina ekigendererwa ekikyamu. Ng’ekyokulabirako:

 Singa omuntu by’agaba bikozesebwa mu bintu ebitasanyusa Katonda. Ng’ekyokulabirako, kiba kikyamu okuwa omuntu ssente ez’okukuba zzaala oba okukozesa ebiragalalagala n’okunywa omwenge n’atamiira. (1 Abakkolinso 6:9, 10; 2 Abakkolinso 7:1) Ate era kiba kikyamu okugabira omuntu asobola okukola ne yeerabirira, kyokka nga tayagala bwagazi kukola.—2 Abassessalonika 3:10.

 Omuntu bw’agabira ennyo abalala, n’alemwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. Bayibuli eyigiriza nti emitwe gy’amaka balina okulabirira ab’omu maka gaabwe. (1 Timoseewo 5:8) Tekiba kirungi omutwe gw’amaka okugabira ennyo abalala, n’alemwa okulabira ab’omu maka ge. Yesu yanenya abo abaagaana okulabirira bazadde baabwe nga beekwasa nti byonna bye baalina baali ‘babiwaddeyo eri Katonda.’—Makko 7:9-13.