Buuka ogende ku bubaka obulimu

“Alufa ne Omega” Bitegeeza Ki?

“Alufa ne Omega” Bitegeeza Ki?

Bayibuli ky’egamba

 Yakuwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna y’ayogerwako nga “Alufa ne Omega.” Ebigambo ebyo bikozesebwa emirundi esatu mu Bayibuli.—Okubikkulirwa 1:8; 21:6; 22:13. a

Lwaki Katonda yeeyita “Alufa ne Omega”?

 Mu walifu y’Oluyonaani, olulimi olwakozesebwa okuwandiika ekitundu kya Bayibuli ekitera okuyitibwa Endagaano Empya, omuli n’ekitabo ky’Okubikkulirwa, alufa ye nnukuta esooka ate omega ye nnukuta esembayo. Ennukuta ezo zikozesebwa okulaga nti Yakuwa yekka y’asooka era y’asembayo. (Okubikkulirwa 21:6) Ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna okuva edda n’edda, era y’ajja okuba Katonda Omuyinza w’Ebintu byonna emirembe n’emirembe. Ye yekka abaddewo “okuva emirembe gyonna okutuusa emirembe gyonna.”—Zabbuli 90:2.

“Ow’olubereberye era ow’enkomerero” y’ani?

 Mu Bayibuli, ebigambo ebyo byogerwa ku Yakuwa Katonda n’Omwana we Yesu naye ng’amakulu ga njawulo. Lowooza ku byokulabirako bino ebibiri.

  •   Mu Isaaya 44:6, Yakuwa agamba nti: “Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero. Teri Katonda mulala wabula nze.” Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima emirembe gyonna; teri Katonda mulala okuggyako ye. (Ekyamateeka 4:35, 39) Mu kyawandiikibwa ekyo ebigambo “ow’olubereberye era ow’enkomerero” birina amakulu ge gamu n’ebigambo “Alufa ne Omega.”

  •   Ate era ebigambo “ow’Olubereberye [pro’tos, si alufa] ne ow’Enkomerero [e’skha·tos, si omega]” ebisangibwa mu Okubikkulirwa 1:17, 18 ne 2:8 byogera ku oyo eyafa era oluvannyuma n’azuukira. N’olwekyo, ennyiriri ezo teziyinza kuba nga zoogera ku Katonda kubanga tafangako. (Kaabakuuku 1:12) Kyokka, Yesu yafa oluvannyuma n’azuukizibwa. (Ebikolwa 3:13-15) Ye muntu eyasooka okuzuukizibwa n’aweebwa obulamu obw’omu ggulu obutasobola kuzikirizibwa, era eyo gy’ajja okubeera “emirembe n’emirembe.” (Okubikkulirwa 1:18; Abakkolosaayi 1:18) Oluvannyuma lw’ekyo, okuzuukira kwonna okwaddirira kwakolebwa okuyitira mu Yesu. (Yokaana 6:40, 44) N’olwekyo, Yesu ye yasembayo okuzuukizibwa Yakuwa kennyini. (Ebikolwa 10:40) Mu ngeri eyo, Yesu asobola okuyitibwa “ow’Olubereberye era ow’Enkomerero.”

Ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 22:13 biraga nti Yesu ye “Alufa ne Omega”?

 Nedda. Ayogera ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 22:13 talagibwa, ate nga mu ssuula eyo mulimu aboogera bangi. Profesa William Barclay bwe yali ayogera ku ssuula eyo yagamba nti: “Ensonga tezaawandiikibwa nga ziddiriŋŋana; . . . era kizibu okumanya ani yali ayogera.” (Ekitabo ekiyitibwa The Revelation of John, Volume 2, Revised Edition, olupapula 223) N’olwekyo, “Alufa ne Omega” ayogerwako mu Okubikkulirwa 22:13 ayinza okuba nga ye Yakuwa Katonda aweebwa ekitiibwa ekyo mu bitundu ebirala mu kitabo ky’Okubikkulirwa.

a Omulundi ogw’okuna bisangibwa mu Okubikkulirwa 1:11 mu nkyusa ya King James Version. Kyokka, ebigambo ebyo tebisangibwa mu nkyusa za Bayibuli ezisinga obungi eziriwo leero, kubanga tebisangibwa mu biwandiiko bya Bayibuli ebisingayo obukadde. Abakoppolozi b’Ebyawandiikibwa be baabyongeramu oluvannyuma.