Buuka ogende ku bubaka obulimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

“Sikyali Musajja Mukambwe”

“Sikyali Musajja Mukambwe”
  • Yazaalibwa: 1973

  • Ensi: Uganda

  • Ebyafaayo: Yeenyigiranga mu bikolwa eby’obukambwe, ebikolwa eby’obugwenyufu, era yali mutamiivu

OBULAMU BWANGE BWE BWALI

 Nnazaalibwa mu Uganda mu disitulikiti ye Gomba. Abantu baayo abasinga obungi baali baavu nnyo. Mu kabuga kaffe temwalimu masannyalaze, n’olwekyo, ekiro twakozesanga ttaala za mafuta.

 Bazadde bange, abaali abalimi, baali baava e Rwanda ne basengukira mu Uganda. Baalimanga emwanyi n’embidde era mu mbidde baakolangamu omwenge oguyitibwa walagi. Ate era, bazadde bange baalundanga enkoko, embuzi, embizzi, n’ente. Obuwangwa bwe nnakuliramu bwandeetera okulowooza nti omukazi alina okugondera omwami we ekiseera kyonna era nti talina kuwa ndowooza ye.

 Bwe nnali wa myaka 23, nnasengukira mu Rwanda, era bwe nnali eyo nnagendanga mu ndongo ne mikwano gyange ab’emyaka gyange. Waliwo ekifo ekimu kye nnagendangamu ennyo, era eyali akulira ekifo ekyo, yampa kaadi eyansobozesanga okuyingira awatali kusasula. Ate era, nnanyumirwanga nnyo okulaba firimu ezaabeerangamu okulwana n’ebikolwa eby’obukambwe. Embeera gye nnalimu, n’eby’okwesanyusaamu bye nnalondangawo, byandeetera okubeera omuntu omukambwe, omutamiivu, era n’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.

 Mu 2000, nnatandika okubeera n’omuwala ayitibwa Skolastique Kabagwira, era twazaala abaana basatu. Nnali musuubira okunfukaamirira ng’ambuuza oba ng’aliko ky’ansaba, kubanga ekyo kye nnali maanyi okuva obuto. Ate era nnalowoozanga nti ebintu byonna bye twalina byali byange, era nga nsobola okubikozesa nga bwe njagala. Nnateranga okuva awaka ekiro ne nkomangawo essaawa nga mwenda ez’ekiro nga ntamidde. Nnakonkonanga ku luggi, era Skolastique bwe yalwangawo okuggulawo nnamukubanga.

 Mu kiseera ekyo, nnali nkola mu kitongole ky’eby’okwerinda, era nga nfuna omusaala omulungi. Skolastique yagezaako okunsendasenda mwegatteko mu ddiini ye ey’abalokole ng’alowooza nti ekyo kijja ku nkyusa. Naye nnali saagala kugenda mu ddiini ye. Mu kifo ky’ekyo, nnafunayo omukazi omulala. Olw’okuba nnali mukambwe era nga nneenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, Skolastique yasalawo okunviira era n’agenda okubeera ne bazadde be era yagenda n’abaana baffe abasatu.

 Mukwano gwange eyali omukulu mu myaka yayogerako nange ku ngeri gye nnali nneeyisaamu. Yankubiriza okuddamu okubeera ne Skolastique. Yaŋŋamba nti, abaana bange abalabika obulungi tebasaanidde kwawukana na kitaabwe. N’olwekyo mu 2005, nnalekera awo okunywa omwenge, ne ndeka omukazi omulala gwe nnali mbeera naye, ne nziramu okubeera ne Skolastique. Mu 2006, twagattibwa. Kyokka, nnali nkyali mukambwe era nga mpisa bubi mukazi wange.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE

 Mu 2008, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ayitibwa Joël yatukyalira mu maka gaffe, era ne mpuliriza obubaka bwe yali abuulira. Okumala emyezi egiwera ye n’Omujulirwa wa Yakuwa omulala ayitibwa, Bonaventure, bankyaliranga obutayosa, era twakubaganyanga ebirowoozo ku Bayibuli. Nnabuuza ebibuuzo bingi, nnaddala ebikwata ku kitabo ky’Okubikkulirwa. Nnali ngezaako okulaga Abajulirwa ba Yakuwa nti bakyamu. Ng’ekyokulabirako, nnababuuza ensonga lwaki bagamba nti “ekibiina ekinene” ekyogerwako mu Okubikkulirwa 7:9 bajja kubeera ku nsi, ng’ate olunyiriri lulaga nti baali “bayimiridde mu maaso g’entebe [ya Katonda] ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga,” Yesu Kristo. Joël yaddamu ebibuuzo byange n’obugumiikiriza. Ng’ekyokulabirako, yandaga Isaaya 66:1, Katonda waayogerera ku nsi ‘ng’ente y’ebigere bye.’ N’olwekyo, ekibiina ekinene kiyimiridde ku nsi mu maaso g’entebe ya Katonda. Ate era nnasoma Zabbuli 37:29, awalaga nti abatuukirivu bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna.

 Oluvannyuma, nnakkiriza okuyigirizibwa Bayibuli. N’olwekyo, Bonaventure yatuyigiriza Bayibuli nze ne Skolastique. Bwe tweyongera okuyiga Bayibuli, kyandeetera okwagala okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange. Nnayiga okuwa mukyala wange ekitiibwa. Nnalekera awo okulowooza nti alina okunfukaamirira ng’ambuuza oba ng’alina ky’ansaba, era nnalekera awo okulowooza nti buli kimu kye twalina kyali kyange. Ate era, nnalekera awo okulaba firimu ezirimu ebikolwa eby’obukambwe. Tekyali kyangu kukola nkyukakyuka ezo era kyali kinneetaagisa okwefuga ennyo n’okuba omwetowaaze.

Bayibuli yannyamba okufuuka omwami omulungi

 Emyaka mitono emabega, nnali nnatwala mutabani waffe omukulu, Christian, mu Uganda abeere n’ab’eŋŋanda zaffe. Naye oluvannyuma lw’okusoma Ekyamateeka 6:4-7, nnakiraba nti nze ne mukyala wange, Katonda atwetaagisa okulabirira abaana baffe, nga kizingiramu okubayigiriza ebyo Katonda by’ayagala. Ffenna twasanyuka nnyo bwe yakomawo okubeera naffe!

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU

 Nnayiga nti Yakuwa Katonda musaasizi, era nnina okukkiriza nti yansonyiwa ebibi byonna bye nnakola mu biseera eby’emabega. Ndi musanyufu okuba nti Skolastique ya nneegattako mu kuyiga Bayibuli. Ffembi twewaayo eri Yakuwa era ne tubatizibwa nga Ddesemba 4, 2010. Kati ffenna twesigaŋŋana era kituleetera essanyu okukolera ku magezi agali mu Bayibuli mu maka gaffe. Mukyala wange musanyufu nnyo, olw’okuba bwe nva ku mulimu nkomawo butereevu awaka. Ate era, musanyufu olw’okuba muwa ekitiibwa, nti nnasalawo okuva ku mwenge, era n’okuba nti sikyali musajja mukambwe. Mu 2015, nnalondebwa okuweereza ng’omukadde mu kibiina kyaffe. Basatu ku baana baffe abataano babatize.

 Bwe nnatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, sakkirizanga bukkiriza ebyo bye banjigirizanga. Naye kyankwatako nnyo okuba nti baakozesa Bayibuli okuddamu ebibuuzo byange. Nze ne Skolastique twakiraba nti abo abagamba nti baweereza Katonda ow’amazima balina okukolera ku mitindo gye gyonna, so si egyo gyokka egibanguyira. Ndi musanyufu nnyo okuba nti Yakuwa yannyamba okuba n’enkolagana ennungi naye era n’okuba omu ku b’omu maka ge ag’eby’omwoyo. Bwe ndowooza ku bulamu bwange obw’emabega, ndi mukakafu nti Yakuwa asobola okuyamba omuntu yenna okukola enkyukakyuka ezeetagisa okusobola okumusanyusa.