Buuka ogende ku bubaka obulimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

“Nnasulanga ku Nguudo”

“Nnasulanga ku Nguudo”
  • Yazaalibwa: 1955

  • Ensi: Sipeyini

  • Ebyafaayo: Yakozesanga Ebiragalalagala, Yeekatankiranga Omwenge, era Yakolanga Ebikolwa eby’Obukambwe

OBULAMU BWANGE BWE BWALI

 Abantu abamu balwawo okuyigira ku bizibu bye bafuna. Nange bw’entyo bwe nnali. Nnazaalibwa mu Barcelona, ekibuga ekikwata eky’okubiri mu bunene mu Sipeyini, era eyo gye nnakulira. Twali tubeera mu kitundu ekiyitibwa Somorrostro, ekitundu ekisinga obunene ku biici y’omu kibuga Barcelona. Ekitundu ekyo kyali kimanyiddwa okubaamu obumenyi bw’amateeka n’okutunda ebiragalalagala.

 Twazaalibwa abaana mwenda era nze nnali omukulu. Olw’okuba twali baavu nnyo taata wange yanfunira omulimu ogw’okuweereza butena mu tiimu ya tena eyali mu kitundu ekyo. Nnalina emyaka 10 era nnakolanga essaawa 10 buli lunaku. Era saasobolanga kugenda ku ssomero ng’abaana ab’emyaka gyange bwe baakolanga. Bwe nnaweza emyaka 14, nnatandika okukola ogwa makanika.

Mu 1975, nnayingira eggye eriyitibwa Spanish Foreign Legion mu Afirika ow’Ebukiikakkono era ne nnyambala yunifoomu yalyo eyali ey’enjawulo

 Mu 1975, nnayitibwa okuyingira amagye olw’okuba kyali kya tteeka mu Sipeyini. Nnali njagala okukolawo ekintu eky’enjawulo mu bulamu bwange, n’olwekyo nnasalawo okuyingira eggye eriyitibwa Spanish Foreign Legion mu Melilla, ensi eri mu matwale ga Sipeyini naye ng’esangibwa mu Bukiikakkono bwa Afirika. Mu kiseera ekyo, nnatandika okukozesa ebiragalalagala era n’okwekatankira omwenge.

 Bwe nnava mu magye, nnaddayo e Barcelona era ne nkola ekibinja ky’abayaaye. Twabbanga buli kintu kye twagwangako. Oluvannyuma twabitundanga ne tufuna ssente ez’okugula ebiragalalagala. Nnatandika okunywa enjaga eyali ey’amaanyi, era nneeyongera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, okwekatankira omwenge, n’okukuba zzaala. Obulamu obwo bwandeetera okweyongera okuba omukambwe ennyo. Buli kiseera nnatambulanga n’akambe, embazzi, oba ejjambiya era saatyanga ku bikozesa bwe kyabanga kyetaagisa.

 Lumu nze ne bannange twabba emmotoka era abasirikale ne batugoba. Embeera eyo yali nga firimu. Twavuga emmotoka gye twali tubbye ebbanga lya kiromita nga 30 (mayiro 20), okutuusa abasirikale lwe baatandika okutwolekeza amasasi. Oluvannyuma, eyali avuga emmotoka yagitomeza era ffenna ne tudduka. Taata wange bwe yamanya ebyali bibaddewo, yangoba ewaka.

 Emyaka etaano egyaddirira, nnasulanga ku nguudo. Nnasulanga ku miryango, mu bimotoka, mu paaka, ne mu malaalo. Ate era nnasulako ne mu mpuku okumala akaseera. Obulamu bwange tebwalina kigendererwa n’akamu, era nnali sifaayo oba mba mulamu oba nedda. Nzijukira lumu bwe nnali nkozesezza ebiragalalagala nneesala ebiseke n’emikono. Nkyalina enkovu n’okutuusa leero.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE

 Bwe nnali wa myaka 28, maama wange yajja n’anoonya era n’ansaba nzireyo eka. Nnakiriza era ne mmusuubiza nti nja kutereeza obulamu bwange, naye ekyo kyantwalira ekiseera okukituukiriza.

 Lumu olweggulo, Abajulirwa ba Yakuwa babiri baakonkona ku luggi lwaffe. Bwe nnali mbawuliriza, taata wange eyali mu nnyumba yamboggolera n’aŋŋamba nti nzigalewo oluggi. Olw’okuba saayagalanga kundagira, nnasalawo okubawuliriza. Bampa obutabo obutono busatu era ne mbutwala. Nnababuuza we bakuŋŋaanira, era oluvannyuma lw’ennaku ntono, nnagenda ku Kizimbe ky’Obwakabaka.

 Ekintu kye nnasooka okwetegereza kwe kuba nti abantu bonna baali bambadde bulungi. Okwawukana ku bo, nze nnalina enviiri mpanvu, nga sisaze bulungi birevu, era nga sambadde bulungi. Nnakiraba nti nnali sibaggyamu, bw’entyo ne nsalawo okusigala wabweru w’ekizimbe. Naye nneewuunya okulaba Juan, gwe nnali mmanyi, eyaliko mu kibinja ky’abayaaye ng’ayambadde essuuti. Oluvannyuma nnakitegeera nti yali yafuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa omwaka gumu emabega. Bwe nnamulaba kyampa obuvumu okuyingira munda. Eyo ye yali entandikwa y’obulamu bwange okukyuka.

 Nnakiriza okuyigirizibwa Bayibuli era amangu ddala nnakitegeererawo nti okusobola okusanyusa Katonda, nnalina okulekayo ebikolwa eby’obukambwe n’ebikolwa eby’obugwenyufu. Tekyali kyangu kukola nkyukakyuka ezo. Nnayiga nti okusobola okusanyusa Yakuwa Katonda, nnali nneetaaga ‘okukyusibwa ne nfuna endowooza empya.’ (Abaruumi 12:2) Obusaasizi Katonda bwe yandaga bwankwatako nnyo. Wadde nga nnali nkoze ensobi nnyingi, nnakiraba nti yali ampadde omukisa okutandika obulamu obuggya. Bye nnayiga ku Yakuwa Katonda byantuuka ku mutima. Nnakitegeera nti waliwo Omutonzi anfaako.—1 Peetero 5:6, 7.

 Ekyo kyandeetera okutandika okukola enkyukakyuka. Ng’ekyokulabirako, bwe twali tusoma ne twogera ku kunywa taaba, nneegamba nti, ‘Bwe kiba nti Yakuwa Katonda ayagala mbeere muyonjo mu mbeera zonna, nnina okweggyako ssigala ono!’ (2 Abakkolinso 7:1) Era ne musuula mu kasasiro!

 Ate era, nnalina okulekera awo okukozesa ebiragalalagala era n’okubitunda. Ekyo kyali kineetaagisa okufuba ennyo. Okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyange, nnalina okulekera awo okukolagana ne mikwano gyange. Baali tebannyamba kukulaakulana mu by’omwoyo. Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera, nnatandika okwesiga Katonda era n’okwesiga emikwano emipya gye nnali nfunye mu kibiina. Okwagala kwe bandaga n’okuba nti banfaako nnyo, nnali sibirabangako. Emyezi bwe gyagenda giyitawo nnatandika okulekera awo okukozesa ebiragalalagala era ne ‘nnyambala omuntu omuggya,’ eyandinnyambye okusiimibwa Katonda. (Abeefeso 4:24) Mu Agusito 1985, nnabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU

 Bayibuli yannyamba okuddamu okuba n’obulamu obulungi. Yannyamba okwekutula ku mize emibi egyali gyonoona omubiri gwange era egyali gimpeebuula. Mu butuufu, abamu ku abo abaali mikwano gyange abassuka mu 30 baafa siriimu ku myaka emito, oba endwadde endala eziva ku kukozesa ebiragalalagala. Ndi musanyufu nnyo olw’okukolera ku magezi agali mu Bayibuli agannyamba okwewala ebizibu ng’ebyo.

 Si kyatambula na bwambe na mbazzi nga bwe nnakolanga emabega nga nkyali muvubuka omukambwe. Nnali sikirowoozangako nti ndi tambulanga ne Bayibuli ne ngikozesa okuyamba abantu. Leero, nze ne mukyala wange tuli babuulizi ab’ekiseera kyonna Abajulirwa ba Yakuwa.

 Bazadde bange tebaafuuka Bajulirwa ba Yakuwa, naye baasanyuka nnyo olw’enkyukakyuka ze nnakola olw’okuyiga Bayibuli. Mu butuufu, ne taata wange yawolereza Abajulirwa ba Yakuwa bwe yali ne mikwano gye. Yali akirabye nti eddiini gye nnali ŋŋenzeemu ye yali ennyambye okukola enkyukakyuka ezo ennungi. Maama wange yagambanga nti, kale singa wayiga Bayibuli nga bukyali. Kye yagamba kyali kituufu!

 Bye mpiseemu mu bulamu binnyambye okukiraba nti, tekiba kya magezi okulowooza nti okukozesa ebiragalalagala n’okwenyigira mu mize emirala emibi bijja kutuyamba okuba abasanyufu. Kati essanyu erya nnamaddala ndigya mu kuyigiriza abalala Ekigambo kya Katonda—ekyannyamba okuwonyaawo obulamu bwange.