Buuka ogende ku bubaka obulimu

Okusaba kw’Omukazi Omuzibe Kwaddibwamu

Okusaba kw’Omukazi Omuzibe Kwaddibwamu

 Yanmei, Omujulirwa wa Yakuwa abeera mu Asiya, yayamba omukazi omuzibe ayitibwa Mingjie okusala ekkubo. a Mingjie yamwebaza nnyo, era n’amugamba nti: “Katonda akuwe omukisa!” Oluvannyuma, Yanmei yabuuza Mingjie obanga yandyagadde baddemu okusisinkana bakubaganye ebirowoozo ku Bayibuli. Oluvannyuma Mingjie yagamba nti yali asaba buli lunaku asobole okuzuula ekibiina kya Katonda eky’amazima. Lwaki yasabanga bw’atyo?

 Mingjie yagamba nti mu 2008, mukwano gwe omuzibe yamuyita agende asabireko mu kkanisa eyamba abaliko obulemu. Oluvannyuma lw’okuwuliriza enjiri, Mingjie yabuuza omubuulizi ekitabo kye yali aggyeemu ebyo bye yali ayigirizza. Omubuulizi yamuddamu nti yali abiggye mu Bayibuli, Ekigambo kya Katonda eky’amazima. Mingjie yawulira ng’ayagala nnyo okusoma Bayibuli. Bwe kityo yafuna Bayibuli y’Olukyayina eri mu lulimi lwa bamuzibe, era yasoma emizingo gyayo 32 mu myezi nga mukaaga. Mingjie bwe yeeyongera okusoma Bayibuli, yakizuula nti enjigiriza ey’obusatu eyali eyigirizibwa mu kkanisa gye yali asabiramu ya bulimba era nti Katonda alina erinnya, Yakuwa.

 Oluvannyuma lw’ekiseera, Mingjie yaggwaamu amaanyi olw’engeri abantu b’omu kkanisa gye yali asabiramu gye baali beeyisaamu. Ate era yakiraba nti engeri gye baali beeyisaamu yali tetuukagana n’ebyo bye yali asoma mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, bamuzibe baaweebwanga emmere eyabanga effisseewo. Ekyo kyayisanga bubi nnyo Mingjie, era n’atandika okunoonya amakanisa amalala mu kitundu mwe yali abeera. Eyo ye nsonga lwaki Mingjie yasabanga asobole okuzuula ekibiina Ekikristaayo eky’amazima.

 Ekyo Yanmei kye yamukolera kyamukwatako nnyo, era n’akkiriza okuyiga Bayibuli. Oluvannyuma, Mingjie yagenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa omulundi gwe ogwasooka. Mingjie agamba nti: “Siryerabira lukuŋŋaana lwe nnasooka okubaamu. Ab’oluganda bonna bansanyukira, era bambuuza. Ekyo kyankwatako nnyo. Wadde nga ndi muzibe, nnakiraba nti balina okwagala okwa nnamaddala.”

 Mingjie yeeyongera okuyiga Bayibuli era n’atandika okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa obutayosa. Yanyumirwanga nnyo ennyimba z’Obwakabaka, naye tezamwanguyiranga kuyimba kubanga tezaali mu lulimu lwa bamuzibe lwe yali amanyi okusoma. Ng’ayambibwako ab’oluganda mu kibiina, Mingjie yeekolera ekitabo ky’ennyimba mu lulimi lwa bamuzibe. Kyamutwalira essaawa 22 okuwandiika ennyimba zonna 151! Mu Apuli 2018, Mingjie yatandika okubuulira era oluvannyuma yamalanga essaawa 30 ng’abuulira buli mwezi.

Azza ekitabo mu lulimi lwa bamuzibe mulimu munene nnyo

 Okusobola okuyambako Mingjie okweteekerateekera okubatizibwa, Yanmei yamukwatira amaloboozi g’ebibuuzo n’ebyawandiikibwa okuva mu katabo Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala. Mu Jjulaayi 2018, Mingjie yabatizibwa. Agamba nti: “Nnakwatibwako nnyo olw’okwagala ab’oluganda kwe bandaga ku lukuŋŋaana olwo. Amaziga gampitamu olw’essanyu olw’okuba nnali nzudde ekibiina kya Katonda eky’amazima.” (Yokaana 13:34, 35) Mingjie mumalirivu okulaga abalala okwagala okwamulagibwa, era kati aweereza ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna.

a Amannya gakyusiddwa.