Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa

Oyinza okuba nga wali otulabyeko nga tubuulira. Era oyinza okuba nga wali osomyeko ebitukwatako mu mawulire oba nga wali owulidde abantu abalala nga balina bye batwogerako. Naye ddala omanyi bulungi ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa?

Era laba: Biki Abajulirwa ba Yakuwa bye Bakkiriza?

Bye Tukkiririzaamu ne Bye Tukola

Ebibuuzo Abantu Bye Batera Okwebuuza ku Bajulirwa ba Yakuwa

Funa eby’okuddamu mu bibuuzo abantu bye batera okwebuuza.

Ebyokulabirako Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa

Yiga engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bafuba okulaba nti bye balowooza, bye boogera ne bye bakola byesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, Bayibuli.

Enteekateeka ey'Okuyigirizibwa Bayibuli ku Bwereere

Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?—vidiyo Empanvuko

Bayibuli eyambye abantu bangi nnyo okwetooloola ensi yonna okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye beebuuza. Naawe wandyagadde okumanya Bayibuli ky’eyigiriza?

Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli?

Okwetooloola ensi yonna, Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa ng’abantu abayigiriza abalala Bayibuli ku bwereere. Laba engeri gye bakikolamu.

Saba Omuntu Akukyalire

Mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekikwata ku Bayibuli oba yiga ebisingawo ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa.

Enkuŋŋaana n'Ebyaliwo

Baawo mu Nkuŋŋaana Zaffe

Manya ebikwata ku nkuŋŋaana zaffe. Noonya ekifo ekikuli okumpi awabeera enkuŋŋaana zaffe.

Okujjukira Okufa kwa Yesu

Buli mwaka, abantu bukadde na bukadde bakuŋŋaana okujjukira okufa kwa Yesu. Tukwaniriza okubaawo omanye engeri omukolo guno omukulu ennyo gye gukukwatako.

Ofiisi z'Amatabi

Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?

Abajulirwa ba Yakuwa basangibwa mu nsi yonna, bava mu bika eby’enjawulo era ne mu mawanga ga njawulo. Kiki ekiyambye ekibiina kino ekinene okuba obumu?

Ebikwata ku mulimu gwaffe mu Nsi Yonna

  • Ensi Omuli Abajulirwa ba Yakuwa​—239

  • Abajulirwa ba Yakuwa​—8,816,562

  • Abaayigirizibwa Bayibuli​—7,281,212

  • Abaaliwo ku Kijjukizo​—20,461,767

  • Ebibiina​—118,177