Buuka ogende ku bubaka obulimu

Okukozesa Ebikwata ku Muntu—Uganda

Okukozesa Ebikwata ku Muntu—Uganda

Omuntu bwafuuka omubuulizi, akkiriza nti ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa eky’ensi yonna (“Abajulirwa ba Yakuwa”)—nga mw’otwalidde n’ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa eky’omu kitundu, ofiisi y’etabbi ey’omu kitundu ekyo, n’ebitongole ebirala ebikozesebwa Abajulirwa ba Yakuwa—bikosesa ebintu ebimukwatako okutuukiriza ebigendererwa byakyo eby’eddiini. Ababuulirizi bawaayo kyeyagalire ebibakwatako nga bwe kiragibwa mu kitabo, Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala basobole okwenyigira mu mirimu egimu egy’eddiini egikwatagana n’okusinza kwabwe era n’okufuna obuyambi mu by’omwoyo.—1 Peetero 5:2.

Ebikwata ku muntu bizingiramu erinnya lye, ennaku z’omwezi lwe yazaalibwa, ekikula kye, olunaku lwe yabatizibwa, essimu ye oba email ye, awamu n’ebikwata ku mbeera ye ey’eby’omwoyo, ku kubuulira kwe, n’obuvunaanyizibwa bw’alina mu Bajulirwa ba Yakuwa, oba n’ebirala ababuulizi bye bawaayo nga beenyigira mu mirimu emirala egy’ekibiina. Ebikwata ku mubuulizi era bizingiramu ebyo by’akkiririzaamu n’ebirala eby’ekyama ebimukwatako ng’omuntu kinnoomu. Okukozesa ebintu ebyo ebikwata ku muntu kiyinza okwetaagisa okubikuŋŋaanya, okubiwandiika, okubiteekateeka, okubitereka, awamu n’okubikozesa mu ngeri endala yonna

Etteeka Erikuuma Ebikwata ku Muntu mu nsi eno lye lino wammanga:

The Data Protection and Privacy Act, 2019.

Nga basinziira ku tteeka lino Erikuuma Ebintu Ebikwata ku Muntu, Abajulirwa ba Yakuwa bakozesa ebikwata ku babuulizi ku nsonga z’eby’eddiini nga mw’otwalidde na bino wammanga:

  • okukuuma n’okutuukiriza ebiruubirirwa by’eddiini y’Abajulirwa ba Yakuwa

  • okwenyigira mu nkuŋŋaana z’ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa eky’omu kitundu ne mu mirimu egy’obwannakyewa

  • okusalawo okwenyigira mu lukuŋŋaana lw’ekibiina, olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu oba olukuŋŋaana olw’ennaku essatu olukwatibwa ku lutambi era ne lukozesebwa okuyigiriza Abajulirwa ba Yakuwa abalala mu nsi yonna

  • okutuukiriza obuvunaanyizibwa obuba buweereddwa oba okwenyigira mu mirimu emirala egy’ekibiina

  • okujjuzaamu n’okutereka kaadi eyitibwa Congregation’s Publisher Record

  • okusobozesa abakadde b’ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa okukyalira abooluganda okubazzaamu amaanyi (Ebikolwa 20:28; Yakobo 5:14, 15)

  • okutereka essimu ne e-mail ez’okukozesa singa wagwaawo embeera erina okukolebwako mu bwangu

Ebikwata ku muntu bikuumibwa kasita biba nga bikyetaagisa okutuukiriza ebimenyeddwa waggulu oba n’ebirala ebituukirawo. Singa omubuulizi asabibwa okuwaayo ebimukwatako, kyokka n’asalawo obutabiwaayo, oba n’agaana bikozesebwe mu ngeri eyogeddwako waggulu, oba singa omuzadde oba omukuza w’omwana asabibwa okussa omukono ku foomu eyitibwa Notice and Consent for Use of Personal Data, kyokka n’agaana, Abajulirwa ba Yakuwa bayinza obutamanya obanga omubuulizi oyo alina obusobozi obw’okukola emirimu egimu mu kibiina oba okwenyigira mu mirimu emirala egy’eddiini.

Emirimu gya Abajulirwa ba Yakuwa gikolebwa mu nsi yonna. Bwe kityo ebikwata ku mubuulizi biyinza okuweerezebwa oba n’okuterekebwa mu ggwanga eddala ly’aba alimu. Kino kizingiramu n’amawanga agalina amateeka agakwata ku kukuuma ebikwata ku muntu ag’enjawulo ku ggwanga ly’abeeramu. Abajulirwa ba Yakuwa bavunaanyizibwa okukuuma obulungi byonna ebikwata ku muntu ebiyinza okutwalibwa oba okukozesebwa mu ggwanga eddala. Kino kiyinza n’okwetaagisa okukola endagaano. Abajulirwa ba Yakuwa abafuna ebikwata ku babuulizi, babikozesa nga bagoberera Amateeka g’Abajulirwa ba Yakuwa ag’Ensi Yonna Agakwata ku Kukuuma Ebikwata ku Muntu.

Ababuulizi balina eddembe okumanya n’okulaba ebibakwatako, era bayinza okusaba bisangulwe, ne babiteekako obukwakulizo, ne bagaana bikozesebwe, era ne batereeza ensobi eziri mu bibakwatako Abajulirwa ba Yakuwa bye balina. Omubuulizi ne bw’aba akkiriza ebimukwatako okukozesebwa mu ngeri emu, alina eddembe okukyusa n’agaana bikozesebwe mu ngeri yonna. Omubuulizi bw’agaana ebimukwatako okukozesebwa oba bw’asaba bisangulwe oba biteekebweko obukwakulizo, Abajulirwa ba Yakuwa bayinza okweyongera okukozesa ebimu ku byo nga bagoberera amateeka agatuukana n’ebiruubirirwa by’eddiini yaabwe oba mu ngeri endala ekkirizibwa mu Tteeka Erikuuma Ebikwata ku Muntu. Ababuulizi bakimanyi nti balina eddembe okwemulugunya eri ab’obuyinza abalina obuvunaanyizibwa okulaba nti etteeka erikuuma ebikwata ku bantu mu nsi gye babeeramu ligobererwa.

Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera amateeka n’obukwakulizo bwonna obukwata ku kukuuma ebikwata ku muntu nga bwe kirambikibiddwa mu Tteeka Erikwata ku Kukuuuma Ebikwata ku Muntu. Ababuulizi balina okukimanyi nti bantu batono nnyo abalina olukusa okumanya ebibakwatako basobole okukola ku nsonga ezoogeddwako waggulu.

Bw’oba oyagala okwebuuza ku muntu avunaanyizibwa ku kukuuma ebikwata ku bantu, oyinza okukozesa endagiriro eno wammanga:

DataProtectionOfficer.UG@jw.org

Ababuulizi basobola okufuna endagiriro y’ow’obuyinza avunaanyizibwa ku kukuuma ebikwata kubantu, bwe kiba kisoboka, n’ey’oyo amukiikirira, ku ndagiriro eno eri ku mukutu jw.org. Genda ku Data Protection Contacts.

Engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakozesaamu ebikwata ku bantu eyinza okukyuka buli luvannyuma lwa kiseera olw’enkyukakyuka ezibaawo mu mirimu gyabwe, mu mateeka g’ensi, oba ne mu nkozesa ya tekinologiya. Bwe kiba kyetaagisa okukola enkyukyuka mu ebyo ebikwata ku bantu ebiri ku mukutu gwaffe, enkyukakyuka ezo zijja kuteekebwa mu kitundu kino ekiri ku mukutu guno ababuulizi bamanye bintu ki ebibakwatako ebikuŋŋaanyizibwa n’engeri gye bikozesebwamu. Osabibwa okukebera ku mukutu guno buli luvannyuma lwa kiseera omanye enkyukakyuka eziba zikoleddwa.