Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ebikwata ku Mateeka by’Olina Okumanya

Ebikwata ku Mateeka by’Olina Okumanya

Copyright

© 2014 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania, Inc. All rights reserved.

Omukutu guno gwateekebwawo aba Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc. (“Watchtower”). Okuggyako nga kiragiddwa bulala, ebintu byonna ebiri ku mukutu guno aba Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania, Inc. be babirinako obwannannyini.

Obubonero

Adobe n’akafaananyi ka Adobe, Acrobat n’akafaananyi ka Acrobat bubonero obumanyiddwa mu mateeka obukozesebwa aba Adobe Systems Incorporated. iTunes ne iPod bubonero obumanyiddwa mu mateeka obukozesebwa aba kampuni ya Apple Inc. Obubonero obulala bwonna obumanyiddwa mu mateeka obw’engeri eyo nabwo buliko bannannyini bwo.

Obukwakkulizo era n’Olukusa olw’Okukozesa Omukutu Guno

Buno bwe Bukwakkulizo obukwata ku ngeri gy’osaanidde okukozesaamu omukutu guno. Bw’okozesa omukutu guno, kiba kiraga nti okkirizza okugondera Obukwakkulizo Buno bwonna. Bw’oba nga tokkiriziganya nabwo bwonna oba obumu ku bwo, tosaanidde kukozesa mukutu guno.

Engeri entuufu ey’okukozesaamu omukutu guno y’eruwa? Osobola okulaba, okuwanula oba okuprintinga ebifaananyi, ebitabo, ennyimba, vidiyo (“Ebiri ku Mukutu Guno”) n’obikozesa ggwe ku bubwo kasita oba nga tolina na kamu ku Bukwakkulizo obwo obulagiddwa wammanga k’omenye. Bwe kityo nno, tokkirizibwa:

  • Kuggya Ebiri ku Mukutu Guno n’obiteeka ku mukutu omulala ogwa Intaneti (ka gubeere gwa ngeri ki);

  • Kukoppolola Bintu ku mukutu guno n’Oddamu n’Obifulumiza awalala wonna;

  • Kukoppa oba Kukoppolola ebiri ku mukutu guno olw’ekigendererwa eky’okubitunda oba okubifunamu ssente (ka kibe nti tolina magoba gonna g’ofunamu); kino era kitegeeza nti tokkirizibwa kubunyisa eri abalala programu (applications) za kompyuta z’osanze ku mukutu guno;

  • Kujja ku mukutu guno ng’olina ekigendererwa eky’okufunako source code oba okukuŋŋaanya data ali ku mukutu guno;

  • Kukozesa bubi mukutu guno oba ebiguliko, gamba ng’okutaataaganya ebiri ku mukutu guno oba okugutuukako ng’okozesa enkola etali emu ku ezo ezirambikiddwa waggulu;

  • Kukozesa mukutu guno mu ngeri yonna eguviirako okwonooneka oba esobola okuguviirako okwonooneka oba okuba nti tegukyasobola kukozesebwa balala; era tokkirizibwa kugukozesa mu ngeri emenya amateeka oba ekontana n’amateeka oba ey’akabi mu ngeri yonna;

  • Kukozesa mukutu guno mu ngeri yonna eyeekuusa ku by’obusuubuzi.

Obukwakkulizo Bwe Bumenyebwa

Nga kino tekikontana na buyinza obulala aba Watchtower bwe balina okusinziira ku Bukwakkulizo Buno, singa obaako Akakwakkulizo konna ku buno k’omenya, aba Watchtower bajja kubaako kye bakolawo, era nga kino kisobola okuzingiramu obutaddamu kukukkiriza kukozesa mukutu guno, okuziyiza kompyuta eziriko endagiriro yo eya IP, okusaba kampuni ekutuusaako intaneeti obutakuganya kutuuka ku mukutu guno oba okukutwala mu mbuga z’amateeka.

Obukwakkulizo Obuba Bukyuseemu

Oluvannyuma lw’ekiseera aba Watchtower bayinza okukyusaamu mu Bukwakkulizo buno. Obukwakkulizo obuba bukyusiddwa butandika okukola okuva ku lunaku olwo lwennyini lwe buba bukyusiddwa ku mukutu gwaffe. Osabibwa okukebera ku muko guno buli luvannyuma lwa kiseera osobole okuba ng’omanyi bulungi obuba buliwo mu kiseera ekyo.

Amateeka n’Obuyinza bwa Kkooti

Obukwakkulizo buno bujja kutaputibwanga okusinziira ku mateeka agafuga Essaza lya New York, U.S.A. Ensonga yonna eyeetaaga okugenda mu mbuga z’amateeka nga yeekuusa ku Bukwakkulizo buno erina kutwalibwa mu emu ku kkooti eziri mu Ssaza lya New York, U.S.A.

Kkooti ky’Emenyawo

Singa kkooti esalawo okufiisa akamu ku Bukwakkulizo obwo waggulu oba okugamba nti oyo akamenye tayinza kuvunaanibwa, obukwakkulizo obulala busigala bukola. Aba Watchtower bwe balemererwa okukwasisa mu mateeka akamu ku Bukwakkulizo obwo kiba tekitegeeza nti akakwakkulizo ako kaggiddwawo oba nti baggiddwako obuyinza obw’okukateekawo.

Endagaano

Obukwakkulizo Buno ye ndagaano eriwo wakati wo n’aba Watchtower ku bikwata ku ngeri gy’osaanidde okukozesaamu omukutu guno, era buzze mu kifo ky’endagaano endala zonna ezibaddewo wakati wo naffe ku bikwata ku ngeri gy’osaanidde okukozesaamu omukutu guno.