Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

KYAJJAWO KYOKKA?

Ekibala Ekya Bbulu Ekiyitibwa Pollia

Ekibala Ekya Bbulu Ekiyitibwa Pollia

EKIBALA ky’ekimera ekiyitibwa Pollia condensata ekisangibwa mu bitundu bingi ebya Afirika kirina langi eya bbulu omukwafu ennyo okusinga ebibala ebirala byonna ebimanyiddwa. Naye ekyewuunyisa kiri nti ekibala ekyo tekiriimu nsaano ya bbulu. Kati olwo langi yakyo eva wa?

Lowooza ku kino: Obutoffaali bw’ekikuta kyakyo eky’okungulu bulimu obuwuzi obusirikitu obusengekeddwa mu nnyiriri. Obuwuzi obwo bukola obububi era ensengeka y’obububi obwo efaananako nga koyiro. Obuwuzi obwo si bwa bbulu. Langi eya bbulu eva ku ngeri obuwuzi obwo gye bupangiddwamu so si ku kuba nti munda mu kibala ekyo mulimu ensaano eya bbulu. Obutoffaali obusinga bulabika ng’obwa bbulu. Naye bw’obutunuulira ng’osinziira ku njuyi endala, obumu bulabika ng’obwa kiragala, obwa pinka, oba obwa kyenvu. Ekyo kiva ku kuba nti wabaawo enkyukakyuka mu ngeri obuwuzi obwo gye buba bupangiddwamu. Ate era bwe weetegereza langi ezo, ziba ng’obutolobojjo.

Okuva bwe kiri nti langi y’ebibala ebyo teva ku nsaano ekola langi, bisigaza langi yaabyo n’oluvannyuma lw’okukongoka ku kimera kwe bibala. Mu butuufu ebimu ku bibala ebyo ebyanogebwa emyaka nga kikumi emabega langi yaabyo ekyali nga bwe yali nga byakanogebwa! Wadde ng’ebibala ebyo birimu nsigo njereere era ng’ebinyonyi tebirina kye bisobola kubiryako, bisikiriza nnyo ebinyonyi.

Bannassaayansi balowooza nti bwe bakoppa enkula ya Pollia basobola okukola engoye ezirina langi ezitasiiwuuka n’empapula ezitasobola kucupulwa.

Olowooza otya? Langi ya bbulu eya Pollia yajjawo yokka oba waliwo eyagikola?