Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ZUUKUKA Na. 3 2020 | Waliwo Ekiyinza Okumalawo Obusosoze?

Bangi ku ffe tulaba obusosoze mu balala. Naye kiyinza obutatubeerera kyangu kwerabamu busosoze.

Magazini eno eraga amagezi agasobola okutuyamba okukendeeza ku busosoze obutulimu.

 

Obusosoze​—Obulina?

Ebimu ku bintu ebirala nti tulimu obusosoze bye biruwa?

Manya Ekituufu

Obutamanya kituufu kiyinza okwonoona endowooza gye tulina ku balala. Laba engeri ebyo ebikwata ku musajja omu eyaliko omusirikale gye biragamu ekyo.

Lumirirwa Abalala

Obutalumirirwa balala kiyinza okuba nga kiraga ki?

Manya Obusobozi bw’Abalala

Omuntu okwetwala okuba ow’ekitalo kimuleetera okusosola abalala. Kiki ekiyinza okuyamba omuntu ng’oyo?

Kola Emikwano N’abantu Ab’enjawulo

Laba emiganyulo gy’okuba n’ab’emikwano ab’enjawulo ku ggwe.

Laga Okwagala

Okulaga okwagala kiyamba okweggyamu obusosoze. Laba engeri gye tuyinza okulagamu okwagala.

Ekijja Okumalirawo Ddala Obusosoze

Bintu ki ebina Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukola okumalirawo ddala obusosoze?

Baasobola Okweggyamu Obusosoze

Laba vidiyo ssatu eziraga engeri abantu basatu gye baasobola okweggyamu obusosoze.