ZUUKUKA Na. 1 2020 | Okukendeeza ku Kweraliikirira

Abantu beeyongedde okuba abeeraliikirivu. Naye waliwo by’osobola okukola okukendeeza ku kweraliikirira.

Olina Ebikweraliikiriza?

Waliwo bingi by’osobola okukola oleme kweraliikirira ekisukkiridde.

Biki Ebiviirako Abantu Okweraliikirira?

Laba ebimu ku ebyo ebiviirako abantu okweraliikirira olabe obanga waliwo ekimu ku byo ekikukwatako.

Okweraliikirira Kye Ki?

Kya bulijjo okweraliikirira. Laba engeri okweraliikirira gye kuyinza okukosaamu omubiri gwo.

Okwaŋŋanga Ebitweraliikiriza

Laba agamu ku magezi agasobola okukuyamba okwaŋŋanga okweraliikirira oboolyawo n’okukukendeeza.

Kisoboka Okuba mu Bulamu Obutaliimu Kweraliikirira

Mu maanyi gaffe, tetusobola kumalawo bintu bitweraliikiriza. Naye Yakuwa asobola.

“Omutima Omukkakkamu Guwa Omubiri Obulamu”

Ebigambo ebyo ebiri mu Engero 14:30, biraga nti amagezi agali mu Bayibuli tegava ku mulembe.